Yoswa

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 16

N'akalulu ak'abaana ba Yusufu kaava ku Yoludaani Yeriko we kiri, ku mazzi ag'e Yeriko ku luuyi olw'ebuvanjuba, lye ddungu eririnnya nga liva ku Yeriko ne liyita mu nsi ey'ensozi ne lituuka ku Beseri;
2 ne kava mu Beseri ne kabuna Eruzi, ne kayita ku nsalo ey'Abaluki mu Atalosi;
3 ne kakka ku luuyi olw'ebugwanjuba ku nsalo ey'Abayafuleti, ku nsalo ey'e Besukolooni eky'emmanga, ku Gezeri; n'enkomerero zaako zaali ku nnyanja.
4 N'abaana ba Yusufu, Manase ne Efulayimu, ne batwala obusika bwabwe:
5 N'ensalo ey'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali yali bw'eti: ensalo ey'obusika bwabwe ku luuyi olw'ebuvanjuba yali Atalosuaddali, okutuuka ku Besukolooni eky'engulu;
6 ensalo n'ekoma ku luuyi olw'ebugwanjuba ku Mikumesasi ku luuyi olw'obukiika obwa kkono; ensalo ne yeetooloola ku luuyi olw'ebuvanjuba ku Taanasusuro, n'ekiyitako ku luuyi olw'ebuvanjuba olw'e Yanoa;
7 n'eva mu Yanoa n'ekka ku Atalosi, ne ku Naala, n'etuuka ku Yeriko, n'ekoma ku Yoludaani:
8 Okuva mu Tappua ensalo n'eyita ku luuyi olw'ebugwanjuba n'etuuka ku mugga Kana n'enkomerero zaayo zaali ku nnyanja. Buno bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Efulayimu ng'enda zaabwe bwe zaali;
9 wamu n'ebibuga ebyaterekerwa abaana ba Efulayimu wakati mu busika obw'abaana ba Manase, ebibuga byonna n'ebyalo byabyo.
10 Ne batagoba Bakanani abaali mu Gezeri: naye Abakanani ne babeera wakati mu Efulayimu, ne kaakano, ne bafuuka abaddu okukola emirimu emiragire.