Yoswa

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 2

Yoswa omwana wa Nuni n'atuma abantu babiri nkiso okuva mu Sittimu okuketta, ng'ayogera nti Mugende, mukebere ensi ne Yeriko. Ne bagenda, ne bayingira mu nnyumba ey'omwenzi, erinnya lye Lakabu, ne basulayo.
2 Kabaka w'e Yeriko ne bamubuulira, nga boogera nti Laba, wayingidde muno ekiro ku baana ba Isiraeri okuketta ensi.
3 Kabaka w'e Yeriko n'atumira Lakabu, ng'ayogera nti Goba abantu abazze gy'oli, abaayingidde mu nnyumba yo: kubanga bazze okuketta ensi yonna.
4 Omukazi n'abatwala bombi, n'abakisa; n'ayogera nti Weewaawo, abantu bazze gye ndi, naye nabadde simanyi gye bavudde.
5 awo obudde bwe bwatuuse okuggalawo wankaaki, ng'enzikiza ekutte, abantu ne bagenda: abantu gye bazze simanyi: mubagoberere mangu; kubanga munaabatuukako.
6 Naye yali abalinnyisizza ku kasolya, n'ababikkako emiti egy'obugoogwa, gye yali ateeseteese obulungi ku kasolya.
7 Abantu ne babagoberera mu kkubo erya Yoludaani okutuuka ku musomoko: abaabagoberera bwe baamala okuvaayo, ne balyoka baggalawo wankaaki.
8 Bo nga tebanneebaka; n'alinnya gye bali ku kasolya;
9 n'agamba abantu nti Mmanyi nga Mukama abawadde ensi, era ng'entiisa yammwe etukutte, era ng'abali mu nsi bonna basaanuuka mu maaso gammwe.
10 Kubanga twawulira Mukama bwe yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwava mu Misiri; era kye mwakola bakabaka ababiri ab'Abamoli abaali emitala wa Yoludaani, Sikoni ne Ogi; be mwazikiririza ddala.
11 Naffe bwe twakiwulira emitima gyaffe ne giryoka gisaanuuka; so tewali muntu asigalamu omwoyo gwonna ku lwammwe: kubanga Mukama Katonda wammwe, oyo ye Katonda waggulu mu ggulu, era wansi ku nsi.
12 Kale kaakano, mbeegayiridde, mundayirire Mukama, kubanga mbakoze bulungi nammwe okugikola obulungi ennyumba ya kitange, era mumpe akabonero ak'amazima:
13 era n'okuwonya kitange ne mmange ne bannyinaze ne baganda bange ne byonna bye balina, n'okulokola obulamu bwaffe mu kufa.
14 Abantu ne bamugamba nti Obulamu bwaffe buligatta obulamu bwammwe, bwe mutalibuulira bigambo byaffe bino awo Mukama bw'alituwa ensi, ne tulyoka tukukolera ekisa n'amazima.
15 Awo n'abassa n'omugwa ng'abayisa mu ddirisa; kubanga ennyumba ye yali ekwatanye ku bbugwe ow'ekibuga, naye yabeera ku bbugwe.
16 N'abagamba nti Mugende ku lusozi, abaabagoberedde baleme okubasanga: era mwekwekereyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberedde lwe balikomawo; oluvannyuma muliyinza okugenda.
17 Abantu ne bamugamba nti Tetulizza musango ku kirayiro kyo kino ky'otulayizizza.
18 Laba, bwe tulijja mu nsi, olisiba akagwa kano akamyufu mu ddirisa ly'otuyisizzaamu: era olikuŋŋaanyiza mu nnyumba gy'oli kitaawo ne nnyoko ne baganda bo, n'ennyumba yonna eya kitaawo.
19 Bwe kityo, omuntu yenna aliva mu miryango egy'ennyumba yo ku luguudo, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwe, naffe tetulizza musango: era omuntu yenna alibeera naawe mu nnyumba, omusaayi gwe guliba ku mutwe gwaffe, bw'alikwatibwa omukono gwonna:
20 Naye bw'olibuulira ebigambo byaffe bino tetulizza musango olw'ekirayiro kyo ky'otulayizizza.
21 N'ayogera nti Wabe ng'ebigambo byammwe bwe biri. N'abasindika, ne bagenda n'asiba akagwa akamyufu mu ddirisa.
22 Ne bagenda ne batuuka ku lusozi, ne babeera eyo ennaku ssatu, okutuusa abaabagoberera lwe baamala okukomawo abaabagoberera baabanoonya mu kkubo lyonna, ne batabalaba:
23 Awo abantu ababiri ne bakomawo, ne baserengeta ku lusozi, ne basomoka, ne bajja eri Yoswa omwana wa Nuni; ne bamubuulira byonna ebyababaako.
24 Ne bamugamba Yoswa nti Mazima Mukama atuwadde mu mikono gyaffe ensi yonna; era nate abali mu nsi bonna basaanuukira ddala mu maaso gaffe.