Yoswa

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 15

N'akalulu ak'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali kaatuuka ku nsalo ya Edomu, ku lukoola lwa Zini, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, ku nkomerero ey'obukiika obwo.
2 N'ensalo yaabwe ey'obukiika obwo yava ennyanja ey'omunnyo gy'eva, ku kikono ekiraba mu bukiika obwa ddyo:
3 n'ebuna ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olw'ekkubo eririnnya ku Akulabbimu, n'eyita n'etuuka ku Zini, n'erinnya ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo olwa Kadesubanea, n'eyita kumpi ne Kezulooni, n'erinnya ku Addali, n'ekyamira ku Kaluka:
4 n'eyita ku Azumoni, n'ekoma ku mugga ogw'e Misiri; n'enkomerero ez'ensalo zaali ku nnyanja: eyo y'eribeera ensalo yammwe ey'obukiika obwa ddyo.
5 N'ensalo ey'ebuvanjuba yali nnyanja ya munnyo, okutuuka Yoludaani we gufukira. N'ensalo ey'oluuyi olw'obukiika obwa kkono yava ku kikono eky'ennyanja Yoludaani we gufukira:
6 n'ensalo n'erinnya ku Besukogula, n'eyita ku luuyi olw'obukiika obwa kkono olwa Besualaba; n'ensalo n'erinnya n'etuuka ku jjinja lya Bokani omwana wa Lewubeeni:
7 n'ensalo n'erinnya ku Debiri ng'eva mu kiwonvu Akoli, n'egenda ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, n'eraba e Girugaali, ye mitala w'ekkubo eririnnya ku Adummimu, oluli emitala w'omugga ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: n'ensalo n'eyita n'etuuka ku mazzi ag'e Ensemesi, n'enkomerero yaayo yali ku Enerogeri:
8 ensalo n'erinnya mu kiwonvu eky'omwana wa Kinomu n'etuuka ku muyegooyego ogw'omu Yebusi ku luuyi olw obukiika obwa ddyo (ye Yerusaalemi): ensalo n'erinnya ku ntikko ku lusozi oluli awakkirwa mu kiwonvu kya Kinomu ku luuyi olw'ebugwanjuba, ekyali mu nkomerero ey'ekiwonvu kya Lefayimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono:
9 ensalo n'ereetebwa okuva ku ntikko ey'olusozi okutuuka ku luzzi olw'amazzi ga Nefutoa, n'ebuna ebibuga eby'oku lusozi Efuloni; ensalo n'ereetebwa ku Baala (ye Kiriyasuyalimu):
10 ensalo n'ekyama ng'eva e Baala ku luuyi olw'ebugwanjuba eri olusozi Seyiri, n'eyita n'etuuka ku mabbali ag'olusozi Yealimu ku luuyi olw'obukiika obwa kkono (lwe Kyesaloni), n'ekka ku Besusemesi, n'eyita ku mabbali ag'e Timuna:
11 ensalo n'ebuna amabbali ag'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono: ensalo n'ereetebwa ku Sikkeroni, n'eyita n’etuuka ku lusozi Baala, n'ekoma ku Yabuneeri; n'enkomerero z'ensalo zaali ku nayanja.
12 N'ensalo ey'ebugwanjuba yatuuka ku nnyanja ennene, n’ensalo yaayo. Eyo ye nsalo ey'abaana ba Yuda ku njuyi zonna ng'enda zaabwe bwe zaali.
13 Ne Kalebu omwana wa Yefune n'amuwa omugabo mu baana ba Yuda, nga Mukama bwe yalagira Yoswa, ye Kiriasualuba, Aluba oyo yali kitaawe wa Anaki (ye Kebbulooni).
14 Kalebu n'agobamu abaana abasatu aba Anaki, Sesayi, ne Akimaani, ne Talumaayi, abaana ba Anaki.
15 N'ava eyo, n'alinnya okulwanyisa abaali mu Debiri: n'erinnya lya Debiri edda lyali Kiriasuseferi.
16 Kalebu n'ayogera nti Anaakuba Kiriasuseferi n'akimenya, oyo naamuwa omuwala wange Akusa okumuwasa.
17 Osunieri omwana wa Kenazi, muganda wa Kalebu, n’akimenya: n'amuwa Akusa muwala we okumuwasa.
18 Awo, bwe yajja gy'ali, n'asabisa kitaawe olusuku: n'ava ku ndogoyi ye; Kalebu n'amugamba nti Oyagala ki?
19 N'ayogera nti Mpa omukisa; kubanga ontadde mu nsi ey'obukiika obwa ddyo, era mpa n'enzizi ez'amazzi. N'amuwa enzizi ez'engulu n'ez'emmanga.
20 Obwo bwe busika obw'ekika eky'abaana ba Yuda ng'enda zaabwe bwe zaali.
21 N'ebibuga eby'enkomerero eby'ekika eky'abaana ba Yuda, eri ensalo ey'e Domu ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo, byali Kabuzeeri, ne Ederi, ne Yaguli;
22 ne Kina, ne Dimona, ne Adada;
23 ne Kedesi, ne Kazoli, ne Isunani;
24 Zifu, ne Teremu, ne Bealosi;
25 ne Kazolukadatta, ne Keriosukezulooni (ye Kazoli);
26 Amamu, ne Sema, ne Molada;
27 ne Kazalugadda, ne Kesumoni, ne Besupereti;
28 ne Kazalusuali, ne Beeruseba, ne Biziosia:
29 Baala, ne Yimu, ne Ezemu;
30 ne Erutoladi, ne Kyesiri, ne Koluma;
31 ne Zikulagi, ne Madumanna, ne Samusanna;
32 ne Lebaosi, ne Sirukimu, ne Ayini, ne Limmoni: ebibuga byonna biri amakumi abiri mu mwenda, n'ebyalo byabyo.
33 Mu nsi ey'ensenyi, Esutaoli, ne Zola, ne Asa;
34 ne Zanowa, ne Engannimu, Tappua, ne Enamu;
35 Yalamusi, ne Adulamu, Soko, ne Azeka;
36 ne Saalayimu, ne Adisaimu, ne Gedera, ne Gederosaimu; ebibuga kkumi n'ebina n'ebyalo byabyo.
37 Zenani, ne Kadasa, ne Migudalugadi;
38 ne Dirani, ne Mizupe, ne Yokuseeri;
39 Lalusi, ne Bozukasi, ne Eguloni;
40 ne Kabboni, ne Lamamu, ne Kitulisi;
41 ne Gederosi, Besudagoni, ne Naama, ne Makkeda; ebibuga kkumi na mukaaga n'ebyalo byabyo:
42 Libuna ne Eseri, ne Asani;
43 ne Ifuta, ne Asuna, ne Nezibu;
44 ne Keira, ne Akuzibu, ne Malesa; ebibuga mwenda n'ebyalo byabyo.
45 Ekuloni n'ebibuga byamu n'ebyalo byakyo:
46 okuva ku Ekuloni okutuuka ku nnyanja, byonna ebiriraanye Asudodi, n'ebyalo byabyo.
47 Asudodi, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo; Gaza, ebibuga byakyo n'ebyalo byakyo: okutuuka ku mugga ogw'e Misiri, n'ennyanja ennene, n'ensalo yaayo.
48 Ne mu nsi ey'ensozi, Samiri, ne Yattiri, ne Soko;
49 ne Danna, ne Kiriasusanna (ye Debiri);
50 ne Anabu, ne Esutemo, ne Animu;
51 ne Goseni, ne Koloni, ne Giro; ebibuga kkumi n'ekimu n'ebyalo byabyo.
52 Alabu, ne Duma, ne Esani;
53 ne Yanimu, ne Besutappua, ne Afeka;
54 ne Kumuta, ne Kiriasualuba (ye Kebbulooni), ne Zioli; ebibuga mwenda n'ebyalo byabyo.
55 Mawoni, Kalumeeri, ne Zifu, ne Yuta;
56 ne Yezuleeri, ne Yokudeamu, ne Zanoa;
57 Kaini, Gibea, ne Timuna; ebibuga kkumi n'ebyalo byabyo.
58 Kalukuli, Besuzuli, ne Gedoli;
59 ne Maalasi, ne Besuanosi, ne Erutekoni; ebibuga mukaaga n'ebyalo byabyo.
60 Kiriasubaali (ye Kiriyasuyalimu), ne Labba; ebibuga bibiri n'ebyalo byabyo.
61 Mu ddungu, Besualaba, Middini, ne Sekaka;
62 ne Nibusani, n'ekibuga eky'Omunnyo, ne Engedi; ebibuga mukaaga n'ebyalo byabyo.
63 Era Abayebusi, be baali mu Yerusaalemi, abaana ba Yuda ne batayinza kubagobamu: naye Abayebusi ne babeera wamu n'abaana ba Yuda mu Yerusaalemi, ne kaakano.