Yoswa
Essuula 14
Ne buno bwe busika abaana ba Isiraeri bwe baalya mu nsi ya Kanani, Eriyazaali kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuni, n'emitwe gy'ennyumba eza bakitaabwe ez'ebika eby'abaana ba Isiraeri bwe baabagabira,
2 mu kalulu ak'obusika bwabwe, nga Mukama bwe yalagira mu mukono gwa Musa, eri ebika omwenda n'ekitundu eky'ekika.
3 Kubanga Musa yali ng'agabye obusika obw'ebika bibiri n'ekitundu eky'ekika emitala wa Yoludaani: naye Abaleevi teyabagabira busika mu bo.
4 Kubanga abaana ba Yusufu baali ebika bibiri, Manase ne Efulayimu: ne batabawa mugabo mu nsi Abaleevi, wabula ebibuga eby'okutuulamu, n'ebyalo ebyali biriraanye, ettale ery'okulundiramu ente zaabwe n'ebintu byabwe.
5 Nga Mukama bwe yalagira Musa, abaana ba Isiraeri bwe baakola bwe batyo, ne bagabana ensi.
6 Abaana ba Yuda ne balyoka bajja eri Yoswa mu Girugaali: ne Kalebu, omwana wa Yefune Omukenizi, n'amugamba nti Omanyi ekigambo Mukama kye yagamba Musa ku nze ne ku ggwe mu Kadesubanea.
7 Nali naakamala emyaka amakumi ana. Musa omuweereza wa Mukama bwe yantuma okuva mu Kadesubanea okuketta ensi; ne mmuleetera ebigambo nga bwe kyali mu mutima gwange.
8 Naye baganda bange abaalinnya nange ne basaanuusa omutima gw'abantu: naye nze nagobererera ddala Mukama Katonda wange:
9 Musa n'alayira ku lunaku luli, ng'ayogera nti Mazima ensi gy'olinnyeemu ekigere kyo eriba busika eri ggwe n'eri abaana bo emirembe gyonna, kubanga ogobereredde ddala Mukama Katonda wange.
10 Ne kaakano, laba, Mukama ampangaazizza, nga bwe yayogera, emyaka gino amakumi ana mu etaano, okuva ku biro biri Mukama lwe yakigamba Musa ekigambo ekyo, Isiraeri bwe yatambuliranga mu ddungu: ne kaakano, laba, leero naakamala emyaka kinaana mu etaano.
11 Okutuusa kaakano nnina amaanyi leero nga bwe nnalina ku lunaku luli Musa lwe yantuma: ng'amaanyi gange bwe gaali mu biro biri, amaanyi gange bwe gali kaakano bwe gatyo, okulwana n'okufuluma n'okuyingira.
12 Kale kaakano mpa olusozi luno, Mukama lwe yayogerako ku lunaku luli; kubanga wawulira ku lunaku luli nga Abanaki mwe baali, n'ebibuga ebinene ebiriko ebigo: wozzi Mukama alibeera nange, nange ndibagoba, nga Mukama bwe yayogera.
13 Yoswa n'amusabira omukisa; n'amuwa Kalebu omwana wa Yefune Kebbulooni okuba obusika.
14 Kebbulooni kye lwava lubeera obusika bwa Kalebu omwana wa Yefune Omukenizi, ne kaakano; kubanga yagobererera ddala Mukama Katonda wa Isiraeri.
15 N'erinnya lya Kebbulooni edda lyali Kiriasualuba; Aluba oyo yali mukulu mu Banaki. Ensi n'ewummula okulwana.