Yoswa
Essuula 13
Yoswa yali ng'akaddiye nga yaakamala emyaka mingi; Mukama n'amugamba nti Okaddiye, waakamala emyaka mingi, naye wasigaddewo ensi nnyingi nnyo okuliibwa.
2 Eno ye nsi esigaddewo: ebifo byonna eby'Abafirisuuti n'Abagesuli bonna;
3 okuva ku Sikoli, oguliraanye e Misiri, okutuuka ku nsalo ey'e Ekuloni ku luuyi olw'obukiika obwa kkono, ebalirwa Abakanani; abaami abataano ab'Abafirisuuti; Abagaza, n'Abasudodi, n'Abasukuloni, Abagitti, n'Abekuloni;
4 era n'abavi, ku luuyi olw'obukiika obwa ddyo: ensi yonna ey'Abakanani, ne Meala ekyali ekya Basidoni, okutuuka ku Afiki, ku nsalo ey'Abamoli:
5 n'ensi ey'Abagebali, ne Lebanooni yonna, ku luuyi olw'ebuvanjuba, okuva ku Baalugadi wansi w'olusozi Kerumooni okutuuka ku Kamasi awayingirirwa:
6 abali mu nsi ey'ensozi bonna okuva ku Lebanooni okutuuka ku Misurefosumayimu, be Basidoni bonna; abo ndibagoba mu maaso g'abaana ba Isiraeri; kyokka ogigabire Isiraeri okuba obusika, nga bwe nnakulagira.
7 Kale kaakano ensi eno ogigabe okuba obusika eri ebika omwenda, n'ekitundu eky'ekika kya Manase.
8 Awamu n'oyo Abalewubeeni n'Abagaadi baaweebwa obusika bwabwe, Musa bwe yabawa, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba, nga Musa omuweereza wa Mukama bwe yabawa;
9 okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna olwa Medeba okutuuka ku Diboni;
10 n'ebibuga byonna ebya Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, okutuuka ku nsalo ey'abaana ba Amoni;
11 ne Gireyaadi, n'ensalo ey'Abagesuli n'Abamaakasi, n'olusozi lwonna Kerumooni, ne Basani yonna okutuuka ku Saleka:
12 obwakabaka bwonna obwa Ogi mu Basani, eyafuga mu Asutaloosi ne mu Ederei (oyo ye yasigalawo mu Balefa abaasigalawo); kubanga abo Musa yabakuba, n'abagoba.
13 Naye abaana ba Isiraeri tebaagoba Abagesuli newakubadde Abamaakasi: naye Gesuli ne Maakasi ne babeera wakati mu Isiraeri, ne kaakano.
14 Ekika kya Leevi kyokka teyakiwa busika; ebiweebwayo ebikolebwa n'omuliro eri Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwe, nga bwe yamugamba.
15 Musa n'akiwa ekika eky'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali.
16 N'ensalo yaabwe yava ku Aloweri, ekiri ku mabbali g'ekiwonvu eky'Alunoni, n'ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n'olusenyi lwonna oluliraanye Medeba;
17 Kesuboni, n'ebibuga byakyo byonna ebiri mu lusenyi; Diboni, ne Bamosubaali, ne Besubaalumyoni:
18 ne Yakazi, ne Kedemosi, ne Mefaasi;
19 ne Kiriyasayimu, ne Sibuma, ne Zeresusakali ku lusozi olw'omu kiwonvu;
20 ne Besupyoli, ne Pisuga awakkirwa, ne Besuyesimosi;
21 n'ebibuga byonna eby'olusenyi, n'obwakabaka bwonna obwa Sikoni kabaka w'Abamoli, eyafuga mu Kesuboni, Musa gwe yakuba awamu n'abaami ab'e Midiyaani Evi, ne Lekemu, ne Zuuli, ne Kuli ne Leba, abakungu ba Sikoni, abaabeera mu nsi.
22 Era ne Balamu, omwana wa Byoli, omulaguzi, abaana ba Isiraeri ne bamutta n'ekitala awamu n’abalala abattibwa.
23 N'ensalo ey'abaana ba Lewubeeni Yoludaani n'ensalo yaagwo. Obwo bwe bwali obusika bw'abaana ba Lewubeeni ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
24 Musa n'akiwa ekika kya Gaadi, be baana ba Gaadi, ng'enda zaabwe bwe zaali.
25 N'ensalo yaabwe Yazeri, n'ebibuga byonna ebya Gireyaadi, n'ekitundu eky'ensi ey'abaana ba Amoni, okutuuka ku Aloweri ekyolekedde Labba;
26 era okuva ku Kesuboni okutuuka ku Lamaumizupe, ne Betonimu; era okuva ku Makanayimu okutuuka ku nsalo ey'e Debiri;
27 ne mu kiwonvu, Besukalamu, ne Besunimira, ne Sukkosi, ne Zafoni, ekitundu ekyasigalawo eky'obwakabaka bwa Sikoni kabaka ow'e Kesuboni, Yoludaani n'ensalo yaagwo, okutuuka ku lubalama lw'ennyanja ey'e Kinneresi emitala wa Yoludaani ku luuyi olw'ebuvanjuba.
28 Obwo bwe busika bw'abaana ba Gaadi ng'enda zaabwe bwe zaali, ebibuga n'ebyalo byamu.
29 Musa n'agabira ekitundu eky'ekika kya Manase: n'omugabo gwali gwa kitundu eky'ekika ky'abaana ba Manase ng'enda zaabwe bwe zaali.
30 N'ensalo yaabwe yava ku Makanayimu, e Basani yonna, obwakabaka bwonna obwa Ogi kabaka w’e Basani, n'ebibuga byonna bya Yayiri, ebiri mu Basani; ebibuga nkaaga:
31 n'ekitundu ekimu eky'e Gireyaadi, ne Asutaloosi, ne Ederei, ebibuga eby'obwakabaka bwa Ogi mu Basani, byali bya baana ba Makiri omwana wa Manase, kye kitundu eky'abaana ba Makiri ng'enda zaabwe bwe zaali.
32 Obwo bwe busika Musa bwe yagaba mu nsenyi eza Mowaabu, emitala wa Yoludaani ku Yeriko, ku luuyi olw'ebuvanjuba.
33 Naye ekika kya Leevi Musa teyakiwa busika: Mukama, Katonda wa Isiraeri, bwe busika bwabwe, nga bwe yabagamba.