Koseya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14

0:00
0:00

Essuula 2

Mugambe baganda bammwe nti Ami: era mugambe bannyammwe nti Lukama.
2 Muwoze ne nnyammwe, muwoze: kubanga si mukazi wange, so nange siri bba: era aggyewo obwenzi bwe okuva mu maaso ge, n'obukaba bwe okuva wakati w'amabeere ge;
3 nneme okumwambulira ddala, ne mmuteekawo nga bwe yali ku lunaku kwe yazaalirwa, ne mmufuula ng'eddungu, ne mmuteekawo ng'ensi enkalu, ne mmussa ennyonta;
4 weewaawo, abaana be siribasaasira; kubanga baana ba bwenzi.
5 Kubanga nnyaabwe yeefuula omwenzi: eyabazaala yawemuka: kubanga yayogera nti Ndigoberera baganzi bange abampa emmere yange n'amazzi gange, ebyoya byange n'obugoogwa bwange, amafuta gange n'ebyange ebyokunywa.
6 Kale, laba, ndiziba ekkubo lyo n'amaggwa, era ndimukomera olukomera aleme okulaba empitiro ze.
7 Era aligoberera baganzi be, naye talibatuukako; era alibanoonya, naye talibalaba; kale n'alyoka ayogera nti Naagenda ne nzirayo eri baze eyasooka; kubanga mu biro ebyo nabanga bulungi okusinga kaakano.
8 Kubanga teyamanya nga nze namuwanga eŋŋaano n'omwenge n'amafuta, ne mmwongerako ffeeza ne zaabu bye baaweerezesa Baali.
9 Kyendiva nkomyawo eŋŋaano yange mu ntuuko zaayo, n'omwenge gwange mu kiseera kyagwo, ne nziyawo ebyoya byange n'obugoogwa bwange, ebyandibisse ku nsonyi ze.
10 Awo kaakano naayolesa obukaba bwe baganzi be nga balaba, so tewaliba alimuwonya mu mukono gwange.
11 Era ndikomya ebinyumu bye byonna, embaga ze, emyezi gye egyakaboneka, ne ssabbiiti ze, n'okukuŋŋaana kwe kwonna okutukuvu.
12 Era ndizisa emizabbibu gye n'emitiini gye, gye yayogerako nti Gino ye mpeera yange baganzi bange gye bampadde: era ndigifuula ekibira, n'ensolo ez'omu nsiko zirigirya.
13 Era ndimubonereza olw'ennaku za Babaali be yayoterezanga obubaane; bwe yeeyonja n'empeta ze ez'omu matu n'eby'obuyonjo bwe n'agoberera baganzi be, ne yeerabira nze, bw'ayogera Mukama.
14 Kale, laba, ndimusendasenda, ne mmuleeta mu ddungu, ne mmugamba ebigambo ebisanyusa.
15 Era ndimuwa ensuku ze ez'emizabbibu nga nnyima eyo, n'ekiwonvu kya Akoli okuba oluggi olw'okusuubira: era aliyima eyo okuddamu nga mu nnaku ez'obuto bwe, era nga mu nnaku lwe yalinnya okuva mu nsi y'e Misiri.
16 Awo olulituuka ku lunaku olwo, bw'ayogera Mukama, olimpita Isi; so tokyampita Baali.
17 Kubanga ndiggya mu kamwa ke amannya ga Babaali, era nga tebakyayatulwa amannya gaabwe.
18 Awo ku lunaku olwo ndibalagaanira, endagaano n'ensolo ez'omu nsiko n'ennyonyi ez'omu bbanga n'ebintu eby'ettaka ebyewalula: era ndimenya omutego n'ekitala n'olutalo okuva mu nsi, era ndibagalamiza mirembe.
19 Era ndikwogerereza ennaku zonna; weewaawo, ndikwogereza mu butuukirivu ne mu musango ne mu kisa ne mu kusaasira.
20 Ndikwogereza mu bwesigwa: era olimanya Mukama.
21 Awo olulituuka ku lunaku olwo ndiyitaba, bw'ayogera Mukama, ndiyitaba eggulu, nalyo liriyitaba ensi;
22 n'ensi eriyitaba eŋŋano n'omwenge n'amafuta; nabyo biriyitaba Yezuleeri.
23 Era ndimusiga gye ndi mu nsi; era ndisaasira oyo ataasaasirwa; era ndigamba abo abataali bantu bange nti Mmwe muli bantu bange; nabo balyogera nti Ggwe oli Katonda wange.