Koseya
Essuula 1
Ekigambo kya Mukama ekyajjira Koseya mutabani wa Beeri mu mirembe gya Uzziya, Yosamu, Akazi, ne Keezeekiya, bassekabaka ba Yuda, ne mu mirembe gya Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi, kabaka wa Isiraeri.
2 Mukama bwe yasooka okwogerera mu Koseya, Mukama n'agamba Koseya nti Genda owase omukazi ow'obwenzi n'abaana ab'obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obungi, ng'eva ku Mukama.
3 Awo n'agenda n'awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu; n'aba olubuto n'amuzaalira omwana wa bulenzi.
4 Mukama n'amugamba nti Mutuume erinnya lye Yezuleeri; kubanga ekyasigaddeyo ekiseera kitono mpalane omusaayi gwa Yezuleeri ku nnyumba ya Yeeku, era ndikomya obwakabaka obw'ennyumba ya Isiraeri.
5 Awo olulituuka ku lunaku olwo ndimenyera omutego gwa Isiraeri mu kiwonvu kya Yezuleeri.
6 Awo n'aba olubuto nate n'azaala omwana wa buwala. Awo Mukama n'amugamba nti Mutuume erinnya lye Lolukama: kubanga sikyakwatirwa kisa ennyumba ya Isiraeri, mbasonyiwe n'akatono.
7 Naye ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Yuda, era ndibalokola ne Mukama Katonda waabwe, so siribalokola na mutego newakubadde ekitala newakubadde olutalo newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde.
8 Awo bwe yamala okuggya Lolukama ku mabeere, n'aba olubuto n’azaala omwana wa bulenzi.
9 Mukama n'ayogera nti Mumutuume erinnya Lowami: kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siriba Katonda wammwe.
10 Era naye omuwendo gw'abaana ba Isiraeri guliba ng'omusenyu ogw'ennyanja ogutayinzika kupimibwa newakubadde okubalibwa; kale olulituuka mu kifo mwe baagambirwa nti Mmwe temuli bantu bange, we baligambirwa nti Mmwe muli baana ba Katonda omulamu.
11 Awo abaana ba Yuda n'abaana ba Isiraeri balikuŋŋaanyizibwa, era balyerondera omutwe gumu, ne bambuka okuva mu nsi: kubanga olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.