Koseya
Essuula 13
Efulayimu bwe yayogera, ne wabaawo okukankana; yeegulumiza mu Isiraeri: naye bwe yayonoona olwa Baali, n'afa.
2 Awo kaakano beeyongerayongera okwonoona, era beekoledde ebifaananyi ebisaanuuse ne ffeeza yaabwe, esanamu ng'amagezi gaabwe bo bwe gali, zonna mulimu gwa mukozi: bazoogerako nti Abasajja abasala ssaddaaka banywegere ennyana.
3 Kyebaliva babeera ng'ekire eky'enkya, era ng'omusulo oguggwaako nga bukyali, ng'ebisusunku embuyaga ez'akazimu bye zitwala okubiggya mu gguuliro, era ng'omukka oguva mu kituli ogufuluma.
4 Era naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; so naawe tolimanya Katonda mulala wabula nze, so tewali mulokozi wazira nze.
5 Nakumanyira mu ddungu, mu nsi ey'ennyonta ennyingi.
6 Ng'eddundiro lyabwe bwe lyabanga, bwe bakkutanga bwe batyo; bakkuta, omutima gwabwe ne gwegulumiza; kyebavudde banneerabira nze.
7 Kyenvudde mbeera gye bali ng'empologoma: ng'engo nditeegera mu kkubo:
8 ndisisinkana nabo ng'eddubu enyagiddwako abaana baayo, era ndiyuza olubiko olw'oku mutima gwabwe: era ndibaliira eyo ng'empologoma; ensolo ey'omu nsiko eribataagula.
9 Kwe kuzikirira kwo, ai Isiraeri, kubanga oli mulabe wange, omulabe w'omubeezi wo.
10 Kabaka wo nno ali ludda wa, akulokole mu bibuga byo byonna? n'abalamuzi bo be wayogerako nti Mpa kabaka n'abakungu?
11 Nkuwadde kabaka nga ndiko obusungu, era mmuggyeewo nga ndiko ekiruyi.
12 Obutali butuukirivu bwa Efulayimu busibiddwa; ekibi kye kiterekeddwa.
13 Obubalagaze bw'omukazi alumwa okuzaala bulimutuukako: ye mwana atalina magezi; kubanga ekiseera kituuse aleme okulwa mu kifo omuyita abaana nga bazaalibwa.
14 Ndibanunula eri amaanyi ag'amagombe; ndibagula okuva eri okufa: ggwe okufa, ebibonoobono byo biri ludda wa? ggwe entaana, okuzikiriza kwo kuli ludda wa? okwenenya kulikwekebwa amaaso gange.
15 Newakubadde ng'alina ebibala bingi mu baganda be, embuyaga ez'ebuvanjuba zirijja, omukka gwa Mukama ogulinnya okuva mu ddungu, oluzzi lwe ne lukalira, ensulo ye n'eggwaawo: alinyaga ebibya byonna ebisanyusa ebyaterekebwa.
16 Samaliya alibaako omusango gwe; kubanga ajeemedde Katonda we: baligwa n'ekitala; abaana baabwe abawere balitandaggirwa, n'abakazi baabwe abali embuto balibaagibwa.