Koseya
Essuula 12
Efulayimu alya mpewo, era agoberera empewo ez'ebuvanjuba: tata kwongera bya bulimba na kuziika; era balagaana endagaano n'Obwasuli, n'amafuta gatwalibwa mu Misiri.
2 Era Mukama alina empaka ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng'amakubo ge bwe gali; alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri.
3 Mu lubuto yamukwata muganda we ku kisinziiro; era bwe yakula n'aba n'obuyinza eri Katonda:
4 weewaawo, yabanga n'obuyinza ku malayika n'awangula: yakaaba amaziga n'amwegayirira: yamulaba e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe;
5 Mukama Katonda ow'eggye; Mukama kye kijjukizo kye.
6 Kale kyukira Katonda wo: okwatanga okusaasira n'omusango, omulindiriranga Katonda wo ennaku zonna.
7 Musuubuzi, minzaani ey'obulimba eri mu mukono gwe: ayagala okujooga.
8 Efulayimu n'ayogera nti Mazima ngaggawadde, nneefunidde ebintu: mu kutegana kwange kwonna tebalindabako butali butuukirivu bwonna obwandibadde ekibi.
9 Naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; oliboolyawo ne nkutuuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ey'okwewombeekerako.
10 Era nayogeranga ne bannabbi, era nnyongedde okwolesebwa; era nagereranga engero mu mukono gwa bannabbi.
11 Gireyaadi butali butuukirivu? bo butaliimu bwereere; mu Girugaali gye basalira ente okuba ssaddaaka: weewaawo, ebyoto byabwe biri ng'ebifunvu mu mbibiro z'ennimiro:
12 Awo Yakobo n'addukira mu nnimiro ya Alamu, Isiraeri n'aweereza omukazi, era n'alundira omukazi.
13 Era Mukama n'aggya Isiraeri mu Misiri ku bwa nnabbi, era nnabbi ye yamuwonya.
14 Efulayimu asunguwazizza nnyo nnyini: omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, n'ekivume kye Mukama we alikimusasula.