Koseya
Essuula 14
Ai Isiraeri, komawo eri Mukama Katonda wo; kubanga ogudde olw'obutali butuukirivu bwo.
2 Mutwale ebigambo wamu nammwe, mukomewo eri Mukama: mumugambe nti Ggyawo obutali butuukirivu bwonna, okkirizeeko ebirungi: bwe tutyo tunaasasula ekiweebwayo eky'omu mimwa gyaffe, ng'ente ennume.
3 Asuli talituwonya; tetulyebagala embalaasi: so tetuligamba nate mulimu gwa mikono gyaffe nti Mmwe muli bakatonda baffe: kubanga eri ggwe atalina kitaawe gy'alabira okusaasirwa.
4 Ndiwonya okudda kwabwe ennyuma, ndibaagala ku bwange: kubanga obusungu bwange bukyuse okumuvaako.
5 Ndiba eri Isiraeri ng'omusulo: alimulisa ng'eddanga, era alisimba emizi gye nga Lebanooni.
6 Amatabi ge galiranda, n'obulungi bwe buliba ng'omuzeyituuni, n'akaloosa ke nga Lebanooni.
7 Ababeera wansi w'ekisiikirize kye balikomawo; balirama ng'eŋŋaano, ne bamulisa ng'omuzabbibu: akawoowo ke kaliba ng'omwenge ogwa Lebanooni.
8 Efulayimu alyogera nti Nkyafaayo ki eri ebifaananyi? Nze njitabye, era ndissaayo omwoyo eri ye: nninga omuberosi omugimu; ebibala byo birabika okuva gye ndi.
9 Ani alina amagezi n'ategeera bino? ani alina obukabakaba n'abimanya? kubanga amakubo ga Mukama ga nsonga, n'abatuukirivu banaagatambulirangamu; naye abasobya banaagwanga omwo.