2 Bassekabaka

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25

0:00
0:00

Essuula 6

Awo abaana ba bannabbi ne bagamba Erisa nti Laba nno ekifo kye tubeeramu mu maaso go kituyinze obutono.
2 Tukwegayiridde tugende ku Yoludaani tuggyeyo buli muntu omuti, twekolere eyo ekifo eky'okubeeramu. N'adamu nti Mugende.
3 Awo ne waba ayogera nti Nkwegayiridde, kkiriza ogende n'abaddu bo. N'addamu nti Naagenda.
4 Awo n'agenda nabo. Awo bwe baatuuka ku Yoludaani, ne batema emiti.
5 Naye omu bwe yali atema omuti, embazzi n'egwa mu mazzi: n'akaaba n'ayogera nti Zinsanze, mukama wange! kubanga ebadde nneeyazike.
6 Omusajja wa Katonda n'ayogera nti Egudde wa? N'amulaga ekifo. N'atema omuti n'agusuulawo n'abbulukusa ekyuma.
7 N'ayogera nti Gironde. N'agolola omukono gwe n'agikwata.
8 Awo kabaka w’e Busuuli n'alwana ne Isiraeri; n'ateesa n'abaddu be ng'ayogera nti Egindi ye eriba olusiisira lwange.
9 Omusajja wa Katonda n'atumira kabaka wa Isiraeri ng'ayogera nti Weekuume oleme okuyita egindi; kubanga eyo Abasuuli gye baserengese.
10 Kabaka wa Isiraeri n'atuma mu kifo ekyo omusajja wa Katonda ky'amubuulidde ng'amulabula: n'awonera eyo omulundi si gumu so si ebiri.
11 Awo omutima gwa kabaka w'e Busuuli ne gweraliikirira nnyo olw'ekigambo ekyo; n'ayita abaddu be n'abagamba nti Temuntegeeze bw'ali ku ffe ali ku lwa kabaka wa Isiraeri?
12 Omu ku baddu be n'ayogera nti Nedda, mukama wange, ai kabaka; naye Erisa nnabbi ali mu Isiraeri ye abuulira kabaka wa Isiraeri ebigambo by'oyogerera mu nju yo gy'osulamu.
13 N'ayogera nti Mugende mulabe gy'ali, ntume mmukime. Ne bamubuulira nti Laba, ali mu Dosani.
14 Awo n'atumayo embalaasi n'amagaali n'eggye lingi: ne bajja ekiro ne bazingiza ekibuga.
15 Awo omuddu w'omusajja wa Katonda bwe yagolokoka enkya n'afuluma, laba, eggye n'embalaasi n'amagaali nga bazingizizza ekibuga. omuddu we n'amugamba nti Zitusanze, mukama wange! tunaakola tutya?
16 N'addamu nti Totya: kubanga abali naffe bangi okusinga abali nabo.
17 Erisa n'asaba n’ayogera nti Mukama wange, nkwegayiridde, omuzibule amaaso ge alabe. Awo Mukama n'azibula amaaso g'omulenzi; n'alaba: awo; laba, olusozi nga lujjudde embalaasi n'amagaali ag'omuliro ageetoolodde Erisa.
18 Awo bwe baaserengeta gy'ali Erisa n'asaba Mukama n'ayogera nti Nkwegayiridde, ziba amaaso g'abantu bano. N'aziba amaaso gaabwe ng'ekigambo kya Erisa bwe kyali.
19 Erisa n'abagamba nti Lino si lye kkubo so ne kino si kye kibuga: mungoberere nange n'abatuusa eri omusajja gwe munoonya. N'abatwala e Samaliya.
20 Awo alwatuuka bwe baatuuka mu Samaliya, Erisa n'ayogera nti Mukama wange, zibula amaaso g'abantu bano balabe. Awo Mukama n'azibula amaaso gaabwe ne balaba; kale laba, nga bali mu Samaliya wakati
21 Awo kabaka wa Isiraeri n'agamba Erisa bwe yabalaba nti Kitange mbakube? mbakube?
22 N'addamu nti Tobakuba: oyagala okukuba abo b'owambye n'ekitala kyo n'omutego gwo? teeka emmere n'amazzi mu maaso gaabwe balye banywe badde eri mukama waabwe.
23 N'abateekerateekera bingi: awo bwe baamala okulya n'okunywa n'abasindika ne bagenda eri mukama waabwe. Awo ebibiina eby'e Busuuli nga tebikyajja nate mu nsi ya Isiraeri.
24 Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n'akuŋŋaanya eggye lye lyonna, n'ayambuka n'azingiza Samaliya.
25 Awo mu Samaliya nga mulimu enjala nnyingi: kale, laba ne bakizingiza okutuusa lwe baatunda omutwe gw'endogoyi olw'ebitundu eby'effeeza kinaana, n'ekitundu eky'okuna eky'ekibya eky'obusa bw'amayiba nga babutunda olw'ebitundu by'effeeza bitaano.
26 Awo kabaka wa Isiraeri bwe yali ng'ayitawo ku bbugwe, omukazi n'amukaabirira ng'ayogera nti Mbeera, mukama wange, ai kabaka.
27 N'ayogera nti Mukama bw'ataakuyambe, nze naggya wa eby'okukuyamba? mu gguuliro nantiki mu ssogolero?
28 Kabaka n'amugamba nti Obadde ki? N'addamu nti Omukazi ono yaŋŋamba nti Waayo omwana wo ow'obulenzi tumulye leero era tunaalya omwana wange ow'obulenzi enkya.
29 Awo ne tufumba omwana wange ne tumulya ne mmugamba ku lunaku olw'okubiri nti Waayo omwana wo tumulye naye omwana we amukwese.
30 Awo olwatuuka kabaka bwe yawulira ebigambo by'omukazi n'ayuza ebyambalo bye; (era yali ng'ayitawo ku bbugwe;) abantu ne batunula, kale, laba, ng'ayambadde ebibukutu munda ku mubiri gwe.
31 Awo n'ayogera nti Katonda ankole bw'atyo n'okukirawo, omutwe gwa Erisa mutabani wa Safati bwe gunaabera ku ye leero.
32 Naye Erisa n'atuula mu nnyumba ye n'abakadde ne batuula naye; kabaka n'atuma omusajja okuva gy'ali: naye omubaka nga tannatuuka gy'ali n'agamba abakadde nti Mulabye ono omwana w'omussi bw'atumye okunziyako omutwe? kale omubaka bw'anajja, muggaleewo oluggi munyigirize oluggi ku ye: enswagiro z'ebigere bya mukama we teziri nnyuma we?
33 Awo ng'akyayogera nabo, laba, omubaka n'aserengeta gy'ali: n'ayogera nti Laba, akabi kano kavudde eri Mukama; kiki ekinaaba kinnindiriza nate Mukama?