2 Bassekabaka
Essuula 13
Mu mwaka ogw’amakumi abiri mu esatu ogwa Yowaasi mutabani wa Akaziya kabaka wa Yuda Yekoyakaazi mutabani wa Yeeku n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya n'afugira emyaka kkumi na musanvu.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi n'agoberera ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri; teyabivaamu.
3 Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira Isiraeri, n'ebagabula mu mukono gwa Kazayeeri kabaka w'e Busuuli ne mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ennaku zonna.
4 Awo Yekoyakaazi n'amwegayirira Mukama, Mukama n'amuwulira: kubanga yalaba okujoogebwa kwa Isiraeri kabaka w'e Busuuli bwe yabajooga.
5 (Awo Mukama n'awa Isiraeri omulokozi n'okuva ne bava wansi w'omukono gw'Abasuuli: abaana ba Isiraeri ne babeera mu weema zaabwe ng'olubereberye.
6 Naye ne batava mu bibi by'ennyumba ya Yerobowaamu bye yayonoonyesa Isiraeri, naye ne batambulira omwo: ne Baasera ne basigala mu Samaliya.)
7 Kubanga teyalekera Yekoyakaazi ku bantu wabula abasajja abeebagala embalaasi amakumi ataano n'amagaali kkumi n'abatambula n'ebigere kakumi; kubanga kabaka w'e Busuuli yabazikiriza, n'abafuula ng'enfuufu ey'omu gguuliro.
8 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yekoyakaazi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
9 Yekoyakaazi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; ne bamuziika mu Samaliya: Yowaasi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
10 Mu mwaka ogw'amakumi asatu mu musanvu ogwa Yowaasi kabaka wa Yuda Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya, n'afugira emyaka kkumi na mukaaga.
11 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; teyava mu bibi byonna ebya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri: naye n'atambulira omwo.
12 Era ebikolwa ebirala byonna ebya Yowaasi ne byonna bye yakola n'amaanyi ge ge yalwanyisa ne Amaziya kabaka wa Yuda tebyawandiikibwa mu kitabo eky'eby'omu mirembe gya bassekabaka ba Isiraeri?
13 Yowaasi ne yeebakira wamu ne bajjajjaabe; Yerobowaamu n'atuula ku ntebe ye: Yowaasi n'aziikirwa mu Samaliya wamu ne bassekabaka ba Isiraeri.
14 Awo Erisa yali alwadde endwadde ye eyamutta: Yowaasi kabaka wa Isiraeri n'aserengeta gy'ali n'amukaabira amaziga n'ayogera nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'abasajja be abeebagala embalaasi!
15 Erisa n'amugamba nti Ddira omutego n'obusaale: n’addira omutego n'obusaale.
16 N'agamba kabaka wa Isiraeri nti Teeka omukono gwo ku mutego: n'aguteekako omukono. Erisa n'ateeka emikono gye ku mikono gya kabaka.
17 N'ayogera nti Ggulawo eddirisa ery'ebuvanjuba: n'aliggulawo. Awo Erisa n'ayogera nti Lasa: n'alasa. N'ayogera nti Akasaale ka Mukama ak'obulokozi, ke kasaale ak'obulokozi eri Obusuuli: kubanga olikuba Abasuuli mu Afeki okutuusa lw'olibamalawo.
18 N'ayogera nti Ddira obusaale: n'abuddira. N'agamba kabaka wa Isiraeri nti Kuba ku ttaka: n'akuba emirundi esatu n'alekera awo.
19 Omusajja wa Katonda n'amusunguwalira n'ayogera nti Wandikubye emirundi etaano oba mukaaga; kale wandikubye Obusuuli okutuusa lwe wandibuzikirizza: naye kaakano olikuba Obusuuli emirundi esatu gyokka.
20 Awo Erisa n'afa ne bamuziika. Era ebibiina by'Abamowaabu ne bazindanga ensi omwaka bwe gwayingiranga.
21 Awo olwatuuka bwe baali nga baziika omusajja, kale, laba, ne balaba ekibiina; ne basuula omusajja mu ntaana ya Erisa: awo omusajja nga kyajje akome ku magumba ga Erisa, n'alamuka n'ayimirira n'ebigere.
22 Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'ajoogera Isiraeri emirembe gyonna egya Yekoyakaazi.
23 Naye Mukama n'abakwatirwa ekisa n'abasaasira n'assaayo omwoyo eri bo, olw'endagaano ye gye yalagaana ne Ibulayimu ne Isaaka ne Yakobo, n'atayagala kubazikiriza, wadde okubagoba mu maaso ge mu biro ebyo.
24 Awo Kazayeeri kabaka w'e Busuuli n'afa; Benikadadi mutabani we n'afuga mu kifo kye.
25 Awo Yekoyaasi mutabani wa Yekoyakaazi n'aggya nate mu mukono gwa Benikadadi mutabani wa Kazayeeri ebibuga bye yali aggye mu mukono gwa Yekoyakaazi kitaawe ng'alwana. Yowaasi n'amukuba emirundi esatu, n'akomyawo ebibuga bya Isiraeri.