2 Bassekabaka

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25

0:00
0:00

Essuula 11

Awo Asaliya nnyina Akaziya bwe yalaba omwana we ng'afudde, n'agolokoka n'azikiriza ezzadde lyonna erya kabaka.
2 Naye Yekoseba muwala wa kabaka Yolaamu mwannyina Akaziya n'atwala Yowaasi mutabani wa Akaziya n'amubba n’amuggya mu baana ba kabaka abattibwa, ye n'omulezi we n'abateeka mu kisenge eky'okusulamu; ne bamukweka Asaliya, aleme okuttibwa.
3 Awo n'abeera naye ng'akwekeddwa mu nnyumba ya Mukama n'amala emyaka mukaaga: Asaliya n’afuga ensi.
4 Awo mu mwaka ogw'omusanvu Yekoyaada n'atuma n'akima abaami b'ebikumi ab'oku Bakali n'abambowa, n'abaleeta gy'ali mu nnyumba ya Mukama; n'alagaana nabo endagaano n'abalayiza ekirayiro mu nnyumba ya Mukama, n'abalaga omwana wa kabaka.
5 Awo n'abalagira ng'ayogera nti Ekigambo kino kye muba mukola: ekitundu kyammwe eky'okusatu abaayingira ku ssabbiiti banaaba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya kabaka;
6 n'ekitundu eky'okusatu banaaba ku mulyango Suuli: n'ekitundu eky'okusatu banaaba ku mulyango ennyuma w'abambowa: bwe mutyo bwe munaaba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba, ne muba lukomera.
7 N'ebibiina byammwe ebibiri, bonna abaafuluma ku ssabbiiti, muliba n'omulimu ogw'okukuuma ennyumba ya Mukama okwetooloola kabaka.
8 Era muneetooloola kabaka enjuyi zonna, buli muntu ng'akutte ebyokulwaanyisa bye mu mukono gwe; n'oyo anaayingira mu nnyiriri attibwe: era mubenga ne kabaka bw'anaafulumanga era bw'anaayingiranga.
9 Abaami b'ebikumi ne bakola nga byonna bwe biri Yekoyaada kabona by'alagidde: ne batwala buli muntu abasajja be, ab'okuyingira ku ssabbiiti wamu n'ab'okufuluma ku ssabbiiti, ne bajja eri Yekoyaada kabona.
10 Awo kabona n'abawa abaami b'ebikumi amafumu n'engabo ebyali ebya kabaka Dawudi, ebyali mu nnyumba ya Mukama.
11 Awo abambowa ne bayimirira, buli muntu ng'akutte ebyokulwanyisa bye, okuva ku luuyi lw'ennyumba olwa ddyo okutuuka ku luuyi lw'ennyumba olwa kkono, okuliraana ekyoto n'ennyumba awali kabaka enjuyi zonna.
12 Awo n'afulumya omwana wa kabaka n'amutikkira engule ey'obwakabaka n’amuwa obujulirwa; ne bamufuula kabaka ne bamufukako amafuta; ne bakuba mu ngalo ne boogera nti Kabaka, abe mulamu.
13 Awo Asaliya bwe yawulira oluyoogaano lw'abambowa n'olw'abantu, n’ajja eri abantu mu nnyumba ya Mukama:
14 n'atunula, kale, laba, kabaka ng'ayimiridde awali empagi ng'engeri bwe yabanga, n'abaami n'amakondeere nga baliraanye kabaka; n'abantu bonna ab'ensi ne basanyuka ne bafuuwa amakondeere. Awo Asaliya n'ayuza ebyambalo bye n'ayogerera waggulu nti Bujeemu, bujeemu.
15 Awo Yekoyaada kabona n'alagira abaami b'ebikumi abaateekebwawo ku ggye, n'abagamba nti Mumufulumye wakati w'ennyiriri; n'oyo anaamugoberera mumutte n'ekitala: kubanga kabona yayogera nti Aleme okuttirwa mu nnyumba ya Mukama.
16 Awo ne bamusegulira; n'ayita mu kkubo embalaasi we ziyingirira mu nnyumba ya kabaka: n'attirwa eyo.
17 Awo Yekoyaada n'alagaana endagaano eri Mukama ne kabaka n'abantu, babeere abantu ba Mukama; era eri kabaka n'abantu.
18 Awo abantu bonna ab'omu nsi ne bagenda mu nnyumba ya Baali, ne bagimenyamenya; ebyoto bye n'ebifaananyi bye ne babimenyera ddala, ne battira Matani kabona wa Baali mu maaso g'ebyoto. Awo kabona n'assaawo abaami ab'oku nnyumba ya Mukama.
19 N'atwala abaami b'ebikumi n'Abakali, n'abambowa n'abantu bonna ab'omu nsi omwo; ne baserengesa kabaka nga bamuggya mu nnyumba ya Mukama, ne bajja nga bafuluma mu kkubo ery'omulyango gw'abambowa eri ennyumba ya kabaka.
20 Awo abantu bonna ab'omu nsi ne basanyuka, ekibuga ne kitereera: ne battira Asaliya n'ekitala awali ennyumba ya kabaka.
21 Yekoyaasi yali yaakamaze emyaka musanvu bwe yatanula okufuga.