2 Bassekabaka
Essuula 2
Awo olwatuuka Mukama bwe yayagala okulinnyisa Eriya n'embuyaga ez'omuzimu mu ggulu, Eriya n'agenda ne Erisa ng'ava e Girugaali.
2 Awo Eriya n'agamba Erisa nti Beera wano, nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Beseri. Erisa n'ayogera nti Nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne baserengeta ne bajja e Beseri.
3 Awo abaana ba bannabbi abaali e Beseri ne bafuluma eri Erisa, ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'ayogera nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.
4 Awo Eriya n'amugamba nti Erisa, beera wano. nkwegayiridde; kubanga Mukama antumye e Yeriko. N'ayogera nti Nga Mukama bw’ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo ne bajja e Yeriko.
5 Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko ne bafuluma eri Erisa, ne basemberera Erisa ne bamugamba nti Omanyi nga Mukama anaggya mukama wo ku mutwe gwo leero? N'addamu nti Weewaawo, mmanyi; mmwe musirike.
6 Awo Eriya n'amugamba nti Nkwegayiridde, beera wano; kubanga Mukama antumye e Yoludaani. N'ayogera nti nga Mukama bw'ali omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu, sijja kukuleka. Awo abo bombi ne batambula.
7 Awo abasajja amakumi ataano ab'oku baana ba bannabbi ne bagenda ne bayimirira okuboolekera wala nabo; abo bombi ne bayimirira ku Yoludaani.
8 Awo Eriya n'addira omunagiro gwe n'aguzinga wamu n'akuba amazzi ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi n'okuyita ne bayita bombi ku lukalu.
9 Awo olwatuuka bwe baamala okusomoka Eriya n'agamba Erisa nti Saba kye nnaakukolera nga sinnaba kukuggibwako. Erisa n'ayogera nti Nkwegayiridde emigabo ebiri egy'omwoyo gwo gibere ku nze.
10 N'ayogera nti Osabye kizibu: naye bw'onondaba bwe nnaakuggibwako kinaaba bwe kityo gy'oli; naye bw'otondabe tekiibe bwe kityo.
11 Awo olwatuuka nga bakyatambula nga boogera, laba, ne walabika eggaali ery'omuliro n'embalaasi ez'omuliro ne zibaawula bombi; Eriya n'alinnya mu ggulu n'embuyaga ez'omuzimu.
12 Era Erisa n'akiraba n'ayogerera waggulu nti Kitange, kitange, amagaali ga Isiraeri n'embalaasi ze! N'atambula nate: n'akwata ebyambalo bye n'abiyuzaamu ebitundu bibiri.
13 Era n'alonda n'ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'addayo n'ayimirira ku lubalama lwa Yoludaani.
14 N'addira ekyambalo kya Eriya ky'asudde, n'akuba amazzi n'ayogera nti Ali luuyi wa Mukama Katonda wa Eriya? awo ng'amaze okukuba amazzi naye, ne gaawulibwamu eruuyi n'eruuyi: Erisa n'asomoka.
15 Awo abaana ba bannabbi abaali e Yeriko okumwolekera bwe baamulaba, ne boogera nti Omwoyo gwa Eriya gutuula ku Erisa. Ne bajja okumusisinkana, ne bavuunama mu maaso ge.
16 Awo ne bamugamba nti Laba nno waliwo abasajja amakumi ataano ab'amaanyi wamu n'abaddu bo; tukwegayiridde bagende banoonye mukama wo: mpozzi omwoyo gwa Mukama gumusitudde ne gumusuula ku lusozi oba mu kiwonvu; N'ayogera nti Temutuma.
17 Awo bwe baamutayirira okutuusa ensonyi lwe zaamukwata, n'ayogera nti Mutume. Awo ne batuma abasajja amakumi ataano; ne banoonyeza ennaku ssatu naye ne batamulaba.
18 Awo ne bakomawo gy'ali ng'akyalinda e Yeriko; n'abagamba nti Saabagamba nti Temugenda?
19 Awo abasajja ab'omu kibuga ne bagamba Erisa nti Laba, tukwegayiridde, awali ekibuga kino walungi nga mukama wange bw'alaba: naye amazzi tegaliiko kye gagasa, n'ensi tekuza mmere.
20 N'ayogera nti Mundeetere akasumbi akaggya, muteeke omwo omunnyo. Ne bakaleeta gy'ali.
21 N'afuluma n'ajja awali ensulo y'amazzi, n'asuula omwo omunnyo n'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mponyezza amazzi gano; temukyavaamu nate lumbe newakubadde obutakuza mmere.
22 Awo amazzi ne gawona ne leero ng'ekigambo bwe kyali ekya Erisa kye yayogera.
23 Awo n'avaayo n'ayambuka n'agenda e Beseri: awo ng'ali mu kkubo ng'ayambuka abaana abato ne bava mu kibuga ne bamuduulira ne bamugamba nti Yambuka, ggwe ow'ekiwalaata; yambuka, ggwe ow'ekiwalaata.
24 N'akebuka n'abalaba n'abakolimira mu linnya lya Mukama. Eddubu bbiri enkazi ne ziva mu kibira ne zitaagula abaana amakumi ana mu babiri ku bo.
25 Awo n'avaayo n'agenda eri olusozi Kalumeeri, n'avaayo n'akomawo e Samaliya.