2 Bassekabaka

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24 25

0:00
0:00

Essuula 3

Awo Yekolaamu mutabani wa Akabu n'atanula okufuga Isiraeri mu Samaliya mu mwaka ogw'ekkumi mu munaana ogwa Yekosafaati kabaka wa Yuda, n'afugira emyaka kkumi n'ebiri.
2 N'akola ebyali mu maaso ga Mukama ebibi; naye obutafaanana kitaawe n'okufaanana nnyina: kubanga yaggyawo empagi ya Baali kitaawe gye yakola.
3 Naye ne yeegatta n'ebibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati bye yayonoonyesa Isiraeri; teyabivaamu.
4 Era Mesa kabaka wa Mowaabu yali musumba wa ndiga; n'awangayo eri kabaka wa Isiraeri ebyoya by'abaana b'endiga kasiriivu n'eby'endiga ennume kasiriivu.
5 Naye olwatuuka Akabu bwe yafa kabaka wa Mowaabu n'ajeemera kabaka wa Isiraeri.
6 Kabaka Yekolaamu n'ava mu Samaliya mu biro ebyo, n'ayolesa Isiraeri yenna.
7 Awo n'agenda n'atumira Yekosafaati kabaka wa Yuda ng'ayogera nti Kabaka wa Mowaabu anjeemedde: onootabaala Mowaabu wamu nange? N'ayogera nti Naayambuka: nze nninga ggwe bw'oli, abantu bange ng'abantu bo, embalaasi zange ng'embalaasi zo.
8 N'ayogera nti Tunaayambuka mu kkubo ki? N'addamu nti Mu kkubo ery'omu ddungu erya Edomu.
9 Awo kabaka wa Isiraeri n'agenda ne kabaka wa Yuda ne kabaka wa Edomu: ne beetooloola olugendo lwa nnaku musanvu: so nga tewaali mazzi ga ggye newakubadde ag'ensolo ez'abagoberera.
10 Awo kabaka wa Isiraeri n'ayogera nti Zitusanze! kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.
11 Naye Yekosafaati n'ayogera nti Tewali wano nnabbi wa Mukama tubuulize mu ye eri Mukama? Awo omu ku baddu ba kabaka wa Isiraeri n'addamu n'ayogera nti Erisa mutabani wa Safati wano eyafukiriranga amazzi mu ngalo za Eriya.
12 Awo Yekosafaati n'ayogera nti Ekigambo kya Mukama kiri naye. Awo kabaka wa Isiraeri ne Yekosafaati ne kabaka wa Edomu ne baserengeta gy'ali.
13 Erisa n'agamba kabaka wa Isiraeri nti Nfaayo ki eri ggwe? genda eri bannabbi ba kitaawo n'eri bannabbi ba nnyoko. Kabaka wa Isiraeri n'amugamba nti Nedda: kubanga Mukama ayise bakabaka bano abasatu okukuŋŋaana okubagabula mu mukono gwa Mowaabu.
14 Erisa n'ayogera nti Nga Mukama w'eggye bw'ali omulamu gwe nnyimirira mu maaso ge, mazima singa sirowooza Yekosafaati kabaka wa Yuda okubaawo, sandikutunuulidde so sandikulabye.
15 Naye nno ndeetera omukubi w'ennanga. Awo olwatuuka omukubi w'ennanga bwe yakuba, omukono gwa Mukama ne gumujjako.
16 N'ayogera nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Mujjuze ekiwonvu kino ensalosalo.
17 Kubanga bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Temuulabe mbuyaga so temuulabe nkuba, naye ekiwonvu ekyo kinajjula amazzi: nammwe munaanywa, mmwe n'ebisibo byammwe n'ensolo zammwe.
18 Era kino kigambo kitono so si kikulu mu maaso ga Mukama: era aligabula n'Abamowaabu mu mukono gwammwe.
19 Era mulimenya buli kibuga ekiriko enkomera na buli kibuga ekironde ne mutema buli muti omulungi ne muziba enzizi zonna ez'amazzi ne mwonoona buli musiri omulungi n'amayinja.
20 Awo olwatuuka enkya mu kiseera eky'okuwaayo ekitone, kale, laba, amazzi ne gajja nga gafuluma mu kkubo ery'e Edomu, ensi n'ejjula amazzi.
21 Awo Abamowaabu bonna bwe baawulira bakabaka nga bambuse okulwana nabo, ne bakuŋŋaana bonna abaayinza okwambala ebyokulwanyisa n'okukirawo, ne bayimirira ku mpero.
22 Awo ne bagolokoka enkya mu makya, enjuba n'eyaka ku mazzi, Abamowaabu ne balaba amazzi agaboolekedde nga gamyuse ng'omusaayi:
23 awo ne boogera nti Guno gwe musaayi: bakabaka tebalemye kuzikirizibwa, era basse buli muntu munne: kale nno, Mowaabu, mugwe ku munyago.
24 Awo bwe baatuka mu lusiisira lwa Isiraeri, Abaisiraeri ne bagolokoka ne bakuba Abamowaabu n'okudduka ne badduka mu maaso gaabwe: ne beeyongerayo mu nsi nga bakuba Abamowaabu.
25 Ne bamenyamenya ebibuga; n'awali omusiri omulungi ogw'ettaka ne bakasuka buli muntu ejjinja lye ne wajjula; ne baziba enzizi zonna ez'amazzi, ne batema emiti gyonna emirungi okutuusa lwe baasigazaawo mu Kirukalesesi amayinja gamu gokka; naye ab'envuumuulo ne batambulatambula mu nsi ne bagikuba.
26 Awo kabaka wa Mowaabu bwe yalaba olutalo nga lumuyingiridde, n'atwala abasajja lusanvu abaasowolanga ebitala, okuwaguza okutuuka eri kabaka w’e Edomu: naye ne batayinza.
27 Awo n'addira mutabani we omubereberye eyandifuze mu kifo kye, n'amuwaayo okuba ekiweebwayo ekyokebwa ku bbugwe. Ne waba obusungu bungi eri Isiraeri: ne bamuvaako ne baddayo mu nsi yaabwe.