Abaebbulaniya
Essuula 9
Era n'endagaano ey'olubereberye yalina empisa ezaalagirwa ez'okusinzanga Katonda, n'ekifo ekitukuvu, eky'omu nsi.
2 Kubanga eweema yakolwa, ey'olubereberye eyalimu ekikondo ky'ettabaaza n'emmeeza n'emigaati egy'okulaga; awaayitibwa Awatukuvu.
3 Era ennyuma w'eggigi ery'okubiri yaliyo eweema eyitibwa Entukuvu ennyo;
4 eyalimu ekyoterezo ekya zaabu; n'essanduuko ey'endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emaanu, n'omuggo gwa Alooni ogwaloka, n'ebipande eby'endagaano;
5 ne kungulu ku yo bakerubi ab'ekitiibwa nga basiikiriza entebe ey'okusaasira; bye tutayinza kwogerako kaakano kinnakimu.
6 Naye ebyo bwe byakolebwa bwe bityo, bakabona bayingira mu weema ey'olubereberye obutayosa, nga batuukiriza emirimu egy'okuweereza;
7 naye mu eri ey'okubiri ayingiramu kabona asinga obukulu yekka, omulundi gumu buli mwaka, si awatali musaayi, gw'awaayo ku lulwe ye n'olw'obutamanya bw'a bantu.
8 Omwoyo Omutukuvu ng'ategeeza kino, ng'ekkubo eritwala mu kifo ekitukuvu terinnalabisibwa, ng'eweema ey'olubereberye ekyayimiriddewo;
9 eyo kye kifaananyi olw'ebiro ebiriwo; ekirimu ebirabo era ne ssaddaaka ebiweebwayo ebitayinza kumutuukiriza oyo aweereza mu bigambo by'omwoyo,
10 kubanga ze mpisa ezaalagirwa ez'omubiri obubiri (era awamu n'ez'okulya n'ez'okunywa n'ez'okunaaba okutali kumu) ezaateekebwawo okutuusa ku biro eby'okudda obuggya.
11 Naye Kristo bwe yajja kabona asinga obukulu ow'ebigambo ebirungi ebigenda okujja, n'ayita mu weema esinga obukulu n'okutuukirira, etaakolebwa na mikono, amakulu, etali ya mu nsi muno,
12 so si lwa musaayi gwa mbuzi n'ennyana, naye lwa musaayi gwe ye, n'ayingirira ddala omulundi gumu mu watukuvu, bwe yamala okufuna okununula okutaggwaawo.
13 Kuba oba ng'omusaayi gw'embuzi n'ente ennume n'evvu ly'ente enduusi, ebimansirwa ku abo abalina empitambi, bitukuza okunaaza omubiri;
14 omusaayi gwa Kristo, eyeewaayo yekka olw'Omwoyo ataggwaawo eri Katonda nga taliiko bulema, tegulisinga nnyo okunaaza omwoyo gwammwe mu bikolwa ebifu okuweereza Katonda omulamu?
15 Era ye kyava abeera omubaka w'endagaano empya, okufa bwe kwabeerawo olw'okununula mu byonoono eby'omu ndagaano ey'olubereberye, abayitibwa balyoke baweebwe okusuubiza kw'obusika obutaggwaawo.
16 Kubanga awaba endagaano ey'obusika, kigwana okubaawo okufa kw'oyo eyagiragaana.
17 Kubanga endagaano ey'obusika enywerera awaba okufa: kubanga yali etuukirizza ekyagiragaanyisa eyagiragaana ng'akyali mulamu?
18 Era n'endagaano ey'olubereberye kyeyava erema okusookebwa awatali musaayi.
19 Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okwogerwa Musa eri abantu bonna ng'amateeka bwe gali, n'atwalanga omusaayi gw'ennyana n'embuzi, wamu n'amazzi n'ebyoya by'endiga ebimyufu n'ezoobu, n'amansiranga ku kitabo kyennyini, era ne ku bantu bonna,
20 ng'ayogera nti Guno gwe musaayi gw'endagaano Katonda gye yabalagira.
21 Era nate eweema n'ebintu byonna eby'okuweereza n'abimansirangako omusaayi bw'atyo.
22 Era mu mateeka kubulako katono ebintu byonna okunaazibwa omusaayi, era awataba kuyiwa musaayi tewabaawo kusonyiyibwa.
23 Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu kyabigwanira okunaazibwa n'ebyo, naye eby'omu ggulu byennyini okunaazibwa ne ssaddaaka ezisinga ezo.
24 Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n'emikono ekyafaanana ng'ekyo eky'amazima naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda, ku lwaffe:
25 so si kwewangayo mirundi mingi; nga kabona asinga obukulu bw'ayingira mu kifo ekitukuvu buli mwaka n'omusaayi ogutali gugwe;
26 kubanga kyandimugwanidde okubonaabonanga emirundi emingi okuva ku kutondebwa kw'ensi: naye kaakano omulundi gumu ku nkomerero y'emirembe alabise okuggyawo ekibi olw'okwewaayo yennyini.
27 Era ng'abantu bwe baterekerwa okufa omulundi ogumu, oluvannyuma lw'okwo musango;
28 era ne Kristo bw'atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi, alirabika omulundi ogw'okubiri awatali kibi eri abo abamulindirira, olw'obulokozi.