Abaebbulaniya
Essuula 11
Okukkiriza kye kinyweza ebisuubirwa kye kitegeereza ddala ebigambo ebitalabika.
2 Kubanga abakadde baategeerezebwa mu okwo.
3 Olw'okukkiriza tutegeera ng'ebintu byonna byakolebwa kigambo kya Katonda, era ekirabika kyekyava kirema okukolebwa okuva mu birabika.
4 Olw'okukkiriza Abiri yawa Katonda ssaddaaka esinga obulungi okukira eya Kayini, eyamutegeezesa okuba n'obutuukirivu, Katonda bwe yategeereza ku birabo bye: era olw'okwo newakubadde nga yafa akyayogera.
5 Olw'okukkiriza, Enoka yatwalibwa obutalaba kufa; n'atalabika kubanga Katonda yamutwala: kubanga bwe yali nga tannatwalibwa yategeezebwa okusumibwa Katonda:
6 era awataba kukkiriza tekiyinzika kusiimibwa: kubanga ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nga Katonda waali, era nga ye mugabi w'empeera eri abo abamunoonya.
7 Olw'okukkiriza Nuuwa, bwe yalabulwa Katonda ku bigambo ebyali bitannalabika, n'atya bulungi n'asiba eryato olw'okulokola ennyumba ye; kyeyava asalira ensi omusango, n'afuuka omusika w'obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
8 Olw'okukkiriza Ibulayimu, bwe yayitibwa, n'awulira n'okugenda n'agenda mu kifo kye yali agenda okuweebwa okuba obusika; n'avaayo nga tamanyi gy'agenda.
9 Olw'okukkiriza n'abeeranga omugenyi mu nsi eyasuubizibwa, ng'etali yiye, ng'asula mu weema wamu ne Isaaka ne Yakobo, basika banne ab'okusuubizibwa okwo:
10 kubanga yalindirira ekibuga kiri ekirina emisingi, Katonda kye yakuba kye yazimba.
11 Olw'okukkiriza era ne Saala yennyini n'aweebwa amaanyi okuba olubuto newakubadde nga yali ayitiridde mu myaka, kubanga oyo eyasuubiza yamulowooza nga mwesigwa:
12 era kyebaava bazaalibwa oyo omu era eyali ng'afudde, abali ng'emmunyeenye ez'omu ggulu obungi, era ng'omusenyu oguli ku ttale ly'ennyanja ogutabalika.
13 Abo bonna baafiiira mu kukkiriza, nga tebaweereddwa ebyasuubizibwa, naye nga babirengerera wala, era nga babiramusa, era nga baatula nga bagenyi era abatambuze ku nsi.
14 Kubanga aboogera bwe batyo boolesa nga banoonya ensi ey'obutaka.
15 Era singa bajjukira ensi eri gye baavaamu, bandibadde n'ebbanga okuddayo.
16 Naye kaakano beegomba ensi esinga obulungi, ye y'omu ggulu; Katonda kyava alema okukwatibwa ensonyi ku lw'abo, okuyitibwanga Katonda waabwe: kubanga yabateekerateekera ekibuga.
17 Olw'okukkiriza Ibulayimu; bwe yakemebwa, n'awaayo Isaaka; era eyaweebwa ebyasuubizibwa n'essanyu yali agenda okuwaayo omwana we eyazaalibwa omu yekka;
18 eyagambibwa nti Mu Isaaka ezzadde lyo mwe linaayitirwanga:
19 bwe yalowooza nga Katonda ayinza okuzuukiza mu bafu era; era mwe yamuweerwa mu kifaananyi.
20 Olw'okukkiriza Isaaka yasabira omukisa Yakobo ne Esawu, era mu bigambo ebyali bigenda okujja.
21 Olw'okukkiriza Yakobo, bwe yali agenda okufa, yasabira omukisa abaana ba Yusufu bombiriri; n'asinza ng'akutamye ku musa gw'omuggo gwe.
22 Olw'okukkiriza Yusufu, bwe yali ng'anaatera okufa, n'ayogera ku kuvaayo kw'abaana ba Isiraeri; n'alagira eby'amagumba ge.
23 Olw'okukkiriza Musa, bwe yazaalibwa, abazadde be ne bamukwekera emyezi esatu, kubanga baamulaba nga mulungi; ne batatya kiragiro kya kabaka.
24 Olw'okukkiriza Musa, bwe yakula, n'agaana okuyitibwanga omwana wa muwala wa Falaawo;
25 ng'asinga okwagala okukolebwanga obubi awamu n'abantu ba Katonda okukira okubanga n'okwesiima okw'ekibi okuggwaawo amangu;
26 ng'alowooza ekivume kya Kristo okuba obugagga obusinga ebintu by'e Misiri: kubanga yeekaliriza empeera eyo.
27 Olw'okukkiriza n'aleka Misiri, nga tatya busungu bwa kabaka: kubanga yagumiikiriza ng'alaba oyo atalabika.
28 Olw'okukkiriza yakola Okuyitako n'okumansira omusaayi, eyazikiriza ababereberye aleme okubakomako.
29 Olw'okukkiriza ne bayita mu Nnyanja Emmyufu nga ku lukalu: Abamisiri bwe baagezaako okukola bwe batyo ne basaanyizibwawo.
30 Olw'okukkiriza bbugwe wa Yeriko n'agwa, nga kimaze okwebungululirwa ennaku musanvu.
31 Olw'okukkiriza Lakabu omwenzi oyo teyazikiririra wamu n'abo abataagonda, bwe yasembeza abakessi emirembe.
32 Njogere ki nate? Kubanga ebbanga linanzigwako bwe nnaayogera ku Gidiyooni, Balaki, Samusooni, Yefusa; ku Dawudi ne Samwiri ne bannabbi:
33 olw'okukkiriza abo be baawangula obwakabaka, be baakola eby'obutuukirivu, be baafuna ebyasuubizibwa, be baabuniza obumwa bw'empologoma,
34 be baazikiza amaanyi g'omuliro, be badduka obwogi bw'ekitala, be baaweebwa amaanyi okuva mu bunafu, be baafuuka abazira mu ntalo, be baagoba eggye ly'ab'amawanga.
35 Abakazi ne baweebwa abafu baabwe mu kuzuukira: n'abalala ne bayigganyizibwa, nga tebaganya kununulibwa, balyoke baweebwe okuzuukira okusinga obulungi:
36 n'abalala ne bakemebwa nga baduulirwa era nga bakubibwa, era nate nga basibibwa ne bateekebwa mu kkomera:
37 baakubibwa amayinja, baasalibwamu n'emisumeeno, baakemebwa, battibwa n'ekitala: baatambulanga nga bambadde amaliba g'endiga n'ag'embuzi; nga tebalina kantu, nga babonyaabonyezebwa, nga bakolwa obubi
38 (ensi beetaasaanira), nga bakyamira mu malungu ne ku nsozi ne mu mpuku ne mu bunnya obw'ensi.
39 N'abo bonna bwe baamala okutegeezebwa olw'okukkiriza kwabwe, ne batafuna ekyasuubizibwa,
40 Katonda bwe yatulabira edda ffe ekisinga obulungi, bo baleme okutuukirizibwa ffe nga tetuliiwo.