Abaebbulaniya
Essuula 6
Kale tuleke okwogera ku bigambo eby'olubereberye ebya Kristo, tuyitirire okutuuka mu bukulu; obutateekawo mulundi gwa kubiri musingi, kwe kwenenya ebikolwa ebifu, n'okukkiriza eri Katonda,
2 okuyigiriza okw'okubatiza, n'okuteekako emikono, n'okuzuukira kw'abafu, n'omusango ogutaggwaawo.
3 Era bwe tunaakola bwe tutyo Katonda bw'anaayagala.
4 Kubanga abo abamala okwakirwa, ne balega ku kirabo eky'omu ggulu, ne bafuuka abassa ekimu mu Mwoyo Omutukuvu,
5 ne balega ku kigambo ekirungi ekya Katonda ne ku maanyi ag'emirembe egigenda okujja,
6 ne bagwa okubivaamu, tekiyinzika bo okubazza obuggya olw'okwenenya; nga beekomererera bokka omulundi ogw'okubiri Omwana wa Katonda, ne bamukwasa ensonyi mu lwatu.
7 Kubanga ensi enywa enkuba egitonnyako emirundi emingi, n'ebala enva ezibasaanira abo b'erimirwa, efuna omugabo gw'omukisa eri Katonda:
8 naye bw'ebala amaggwa ne ssere, tesiimibwa era eri kumpi n'okukolimirwa; enkomerero yaayo kwokebwa.
9 Naye, abaagalwa, twetegerezza ku mmwe ebigambo ebisinga ebyo obulungi era ebiri okumpi n'obulokozi, newakubadde nga twogedde bwe tutyo:
10 kubanga Katonda mutuukirivu tayinza kwerabira mulimu gwammwe n'okwagala kwe mwalaga eri erinnya lye, bwe mwaweereza abatukuvu, era mukyaweereza.
11 Era twagala nnyo buli muntu ku mmwe okulaganga obunyiikivu obwo olw'okwetegerereza ddala essuubi eryo okutuusa ku nkomerero:
12 mulemenga okubeera abagayaavu, naye abagoberera abo olw'okukkiriza n'okugumiikiriza abasikira ebyasuubizibwa.
13 Kubanga, Katonda bwe yasuubiza Ibulayimu, bwe watali gw'ayinza kulayira amusinga obukulu, ne yeerayira yekka
14 ng'ayogera nti Mazima okuwa omukisa nnaakuwanga omukisa, n'okwaza nnaakwazanga.
15 Bw'atyo bwe yamala okugumiikiriza n'aweebwa ekyasuubizibwa.
16 Kubanga abantu balayira asinga obukulu: ne mu mpaka zaabwe zonna ekirayiro kye kisalawo okukakasa.
17 Katonda kyeyava ateeka wakati ekirayiro, ng'ayagala okubooleseza ddala ennyo abasika ab'ekyasuubizibwa okuteesa kwe bwe kutajjulukuka:
18 olw'ebigambo ebibiri ebitajjulukuka, Katonda by'atayinza kulimbiramu, tulyoke tubeerenga n'ekitugumya ekinywevu ffe abadduka okunoonya ekyekwekero okunyweza essuubi eryateekebwa mu maaso gaffe;
19 lye tulina ng'essika ery'obulamu, essuubi eritabuusibwabuusibwa era erinywevu era eriyingira munda w'eggigi.
20 Yesu mwe yayingira omukulembeze ku lwaffe, bwe yafuuka kabona asinga obukulu emirembe gyonna ng'engeri ya Merukizeddeeki bw'eri.