Abaebbulaniya

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13

0:00
0:00

Essuula 12

Kale naffe, bwe tulina olufu lw'abajulirwa olwenkana awo olutwetoolodde, twambulenga buli ekizitowa n'ekibi ekyegatta naffe, tuddukenga n'okugumiikiriza okuwakana okuteekeddwa mu maaso gaffe,
2 nga tutunuulira Yesu yekka omukulu w'okukkiriza kwaffe era omutuukiriza waakwo, olw'essanyu eryateekebwa mu maaso ge eyagumiikiriza omusalaba, ng'anyooma ensonyi, n'atuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ya Katonda.
3 Kubanga mumulowooze oyo eyagumiikiriza empaka embi ezenkana awo ez'abakola ebibi ku bo bennyini, mulemenga okukoowa, nga muddirira mu mmeeme zammwe.
4 Temunnawakana okutuusa ku musaayi nga mulwana n'ekibi:
5 era mwerabidde ekigambo ekibuulirira, ekyogera nammwe ng'abaana nti Mwana wange, tonyoomanga kukangavvula kwa Mukama, So toddiriranga bw'akunenyanga;
6 Kubanga Mukama gw'ayagala amukangavvula, Era akuba buli mwana gw'akkiriza.
7 Olw'okukangavvulwa kyemunaavanga mugumiikiriza; Katonda abakola ng'abaana; kuba mwana ki kitaawe gw'atakangavvula?
8 Naye bwe munaabeeranga awatali kukangavvulwa, okugwana okututuukako fenna, muli beebolereze, so si baana.
9 Nate twalina bakitaffe ab'omubiri gwaffe abaatukangavvulanga, ne tubassangamu ekitiibwa: tetulisinga nnyo okugonderanga Kitaawe w'emyoyo, ne tuba abalamu?
10 Kubanga bo baatukangavvuliranga ennaku si nnyingi olw'okwegasa bo; naye oyo atukangavvula olw'okutugasa, tulyoke tufune omugabo ku butukuvu bwe.
11 Okukakangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu wabula kwa nnaku: naye oluvannyuma kubala ebibala eby'emirembe eri abo abayigirizibwa mu kwo; bye by'obutuukirivu.
12 Kale mugololenga emikono egirengejja, n'amaviivi agakozimba;
13 era mukubirenga ebigere byammwe ama kubo amagolokofu, awenyera alemenga okugavaamu, naye awonenga buwonyi.
14 Mugobererenga emirembe eri abantu bonna, n'obutukuvu, awatali obwo siwali aliraba Mukama:
15 nga mutunuulira nnyo walemenga okuba omuntu yenna aweebuuka mu kisa kya Katonda; ekikolo kyonna eky'okukaawa kiremenga okuloka n'okubeeraliikiriza, era ne kigwagwawaza abangi;
16 walemenga okubeera omwenzi, oba atatya Katonda, nga Esawu, eyatunda obusika bwe olw'akawumbo k'emmere akamu.
17 Kubanga mumanyi nga era oluvannyuma bwe yayagala okusikira omukisa, n'agaanibwa (kubanga teyalaba bbanga lya kwenenyezaamu), newakubadde nga yagunoonya nnyo n'amaziga.
18 Kubanga temuzze ku lusozi olukwatibwako era olwaka n'omuliro, n'eri ekizikiza ekikutte zzigizigi, ne kibuyaga,
19 n'okuvuga kw'ekkondeere, n'eddoboozi ly'ebigambo; abaaliwulira ne beegayirira obutayongerwako kigambo lwa kubiri:
20 kubanga tebaakiyinza ekyalagirwa nti Newakubadde n'ekisolo bwe kikoma ku lusozi, kirikubibwa amayinja:
21 n'ebyalabika byali bya ntiisa bwe biti Musa n'okugamba n'agamba nti Ntidde nnyo era nkankanye:
22 naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne ku kibuga kya Katonda omulamu, Yerusaalemi eky'omu ggulu, n'eri obukumi bwa bamalayika,
23 eri ekkuŋŋaaniro eddene era ekkanisa ey'ababereberye abaawandiikibwa mu ggulu, n'eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n'eri emyoyo gy'abatuukirivu abaatuukirizibwa,
24 n'eri Yesu omubaka w'endagaano empya, n'eri omusaayi ogw'okumansira ogwogera ebirungi okusinga ogwa Abbeeri.
25 Mwekuume obutagaananga ayogera. Kubanga bali bwe bataalokoka, bwe baamugaana oyo eyabalabula ng'ayima mu nsi, ffe abakuba oyo atulabula ng'ayima mu ggulu tulisinga nnyo obutalokoka:
26 eyakankanya ensi n'eddoboozi lye mu biro biri: naye kaakano yasuubiza, ng'ayogera nti Ekyasigadde omulundi gumu ndinyeenya, si nsi yokka, naye era n'eggulu.
27 N'ekyo, nti Ekyasigadde omulundi gumu, kitegeeza okuggibwawo kw'ebyo ebikankanyizibwa, ng'ebyakolebwa, ebitakankanyizibwa biryoke bibeerewo.
28 Kale, bwe tuweebwa obwakabaka obutakankanyizibwa, tubenga n'ekisa, kituweerezese okuweereza okusiimibwa Katonda n'okwegendereza n'okutya:
29 kubanga Katonda waffe gwe muliro ogwokya.