Abaggalatiya
Essuula 5
Mu ddembe Kristo yatufuula ba ddembe: kale munywere, mulemenga okusibibwa nate mu kikoligo ky'obuddu.
2 Laba, nze Pawulo mbagamba nti bwe munaakomolebwanga, Kristo talibaako ky'alibagasa.
3 Era nate ntegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja ery'okukolanga eby'amateeka byonna.
4 Mwawuliddwa eri Kristo, mmwe abaagala okuweebwa obutuukirivu mu mateeka; mugudde okuva mu kisa.
5 Kubanga ffe ku bw'Omwoyo olw'okukkiriza tulindirira essuubi ery'obutuukirivu.
6 Kubanga mu Kristo Yesu okukomolebwa tekulina maanyi newakubadde obutakomolebwa, wabula okukkiriza okukola olw'okwagala.
7 Mwali mutambula bulungi; ani eyabaziyiza okugonderanga amazima?
8 Okuwemba okwo tekwava eri oyo abayita.
9 Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna.
10 Mbeesiga mmwe mu Mukama waffe, nti temulirowooza kigambo kirala: naye oyo abateganya alibaako omusango gwe, ne bw'aliba ani.
11 Naye nze, ab'oluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, kiki ekikyanjigganyisa? kale enkonge ey'omusalaba ng'evuddewo.
12 Nnandyagadde bali abababuguutanya n'okweyawula beeyawule.
13 Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwayitibwa lwa ddembe; naye eddembe lyammwe liremenga okubeera omubiri kwe guyima, naye olw'okwagala muweerezaganenga mwekka na mwekka.
14 Kubanga amateeka gonna gatuukirira mu kigambo kimu, mu kino nti Oyagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.
15 Naye bwe mulumagana, bwe mulyaŋŋana, mwegenderezenga mulemenga okwemalawo mwekka na mwekka.
16 Naye njogera nti Mutambulirenga mu Mwoyo, kale temuutuukirizenga kwegomba kwa mubiri.
17 Kubanga omubiri gwegomba nga guwakana n'Omwoyo, n'Omwoyo nga guwakana n'omubiri; kubanga ebyo byolekanye, mulemenga okukola ebyo bye mwagala.
18 Naye bwemuluŋŋamizibwa Omwoyo, nga temufugibwa mateeka.
19 Naye ebikolwa by'omubiri bya lwatu, bye bino, obwenzi, empitambi, obukaba,
20 okusinza ebifaananyi, okuloga; obulabe, okuyomba; obuggya; obusungu, empaka, okweyawula, okwesalamu,
21 ettima, obutamiivu, ebinyumu, n'ebiri ng'ebyo: nsooka okubabuulira ku ebyo, nga bye nnasooka okubabuulira, nti bali abakola ebiri ng'ebyo tebalisikira bwakabaka bwa Katonda.
22 Naye ebibala by'Omwoyo kwe kwagala, okusanyuka, emirembe, okugumiikiriza, ekisa, obulungi, okukkiriza,
23 obuwombeefu, okwegendereza: ku biri ng'ebyo tewali mateeka.
24 N'abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri wamu n'okukwatibwa n'okwegomba kwagwo.
25 Bwe tuba abalamu ku bw'Omwoyo, era tutambulenga ku bw'Omwoyo.
26 Tuleme okwenyumiririzanga obwereere, nga twesunguwaza fekka na fekka, nga tukwatibwa obuggya fekka na fekka.