Abaggalatiya
Essuula 3
Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi, ani eyabaloga, so nga Yesu Kristo yakomererwa nga mulaba?
2 Kino kyokka kye njagala mmwe okuntegeeza nti Mwaweebwa Omwoyo lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza?
3 Bwe mutyo bwe mutalina magezi? Abaasookera mu Mwoyo, kaakati mutuukiririzibwa mu mubiri?
4 Mwabonyaabonyezebwa ebyenkana awo bya bwereere? so nga ddala si bwereere.
5 Abawa Omwoyo, akola eby'amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa bya mateeka nantiki lwa kuwulira kwa ku kkiriza?
6 Nga Ibulayimu bwe yakkiriza Katonda, ne kumubalirwa okubeera obutuukirivu.
7 Kale mutegeere ng'abayima mu kukkiriza be baana ba Ibulayimu.
8 N'ekyawandiikibwa bwe kyalaba edda Katonda bw'aliwa amawanga obutuukirivu olw’okukkiriza, ne kibuulira olubereberye Ibulayimu enjiri nti Mu ggwe amawanga gonna mmwe galiweerwa omukisa.
9 Bwe kityo abayima mu kukkiriza baweerwa omukisa awamu ne Ibulayimu eyalina okukkiriza.
10 Kubanga bonna abayima mu bikolwa by'amateeka, bafugibwa kikolimo: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli ataabinyiikirira byonna ebyawandiikibwa mu kitabo ky'amateeka, okubikolanga.
11 Era kimanyiddwa nga mu mateeka tewali aweebwa butuukirivu eri Katonda: kubanga nti Abatuukirivu baanabeeranga balamu lwa kukkiriza;
12 naye amateeka tegayima mu kukkiriza; naye nti Omuntu agakola anaabeeranga mulamu mu go.
13 Kristo yatununula mu kikolimo ky'amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe: kubanga kyawandiikibwa nti Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti:
14 omukisa gwa Ibulayimu gulyoke gutuuke eri amawanga mu Kristo Yesu; tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky'Omwoyo olw'okukkiriza.
15 Ab'oluganda, njogera mu buntu: endagaano newakubadde nga ya muntu buntu bw'emala okunywera tewali agiggyawo newakubadde agyongerako.
16 Ebyasuubizibwa byagambibwa Ibulayimu n'omuzzukulu we. Tayogera nti N'eri abazzukulu, nga bangi, naye ng'omu nti N'eri omuzzukulu wo, ye Kristo.
17 Kino kye njogera nti Endagaano eyasooka okunywezebwa Katonda, amateeka agajja nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu tegagiggyaawo n'okudibya ekyasuubizibwa.
18 Kuba oba ng'obusika buva mu mateeka, nga tebuva nate mu kusuubiza: naye Katonda yabuwa Ibulayimu olw'okusuubiza,
19 Kale amateeka kiki? Gassibwawo lwa kwonoona okutuusa w'alijjira omuzzukulu eyasuubizibwa, gaalagirwa bamalayika mu mikono gy'omutabaganya.
20 Naye omutabaganya si w'omu; naye Katonda ye omu.
21 Kale amateeka tegatabagana n'ebyasuubizibwa Katonda? Kitalo: kuba singa amateeka gaaweebwa nga ge gayinza okuleeta obulamu, ddala obutuukirivu bwandibadde mu mateeka.
22 Naye ebyawandiikibwa byabisiba byonna mu bufuge bw'ekibi, abakkiriza balyoke baweebwe ekyasuubizibwa ekiva mu kukkiriza Yesu Kristo.
23 Naye okukkiriza nga tekunnaba kujja, twakuumirwanga mu bufuge bwa mateeka, nga tusibibwa olw'okukkiriza okugenda okubikkulwa.
24 Bwe kityo amateeka yali mutwazi waffe eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw'okukkiriza.
25 Naye okukkiriza bwe kumaze okujja, tetukyali mu bufuge bwa mutwazi.
26 Kubanga mmwe mwenna muli baana ba Katonda olw'okukkiriza, mu Kristo Yesu.
27 Kubanga mwenna abaabatizibwa okuyingira mu Kristo, mwayambala Kristo.
28 Tewali Muyudaaya, newakubadde Omuyonaani, tewali muddu newakubadde ow'eddembe, tewali musajja na mukazi: kubanga mmwe mwenna muli omu mu Kristo Yesu.
29 Era mmwe bwe muli aba Kristo, kale muli zzadde lya Ibulayimu, era muli basika ng'okusuubiza bwe kwali.