Abaggalatiya
Essuula 4
Naye njogera nti omusika ng'akyali muto tayawulwa na muddu n'akatono, newakubadde nga ye mukama wa byonna;
2 naye afugibwa abasigire n'abawanika okutuusa entuuko kitaawe ze yalagira edda.
3 Bwe tutyo naffe, bwe twabanga abato, twabanga baddu nga tufugibwa eby'olubereberye eby'omu nsi:
4 naye okutuukirira kw'ebiro bwe kwatuuka, Katonda n'atuma Omwana we eyazaalibwa omukazi, eyazaalibwa ng'afugibwa amateeka,
5 alyoke abanunule abaafugibwa amateeka, tulyoke tuweebwe okufuuka abaana.
6 Era kubanga muli baana, Katonda yatuma Omwoyo gw'Omwana we mu mitima gyaffe; ng'akaaba nti Aba, Kitaffe.
7 Bwe kityo naawe tokyali muddu, naye mwana; oba ng'oli mwana, era oli musika ku bwa Katonda.
8 Naye mu nnaku ziri bwe mutaamanyanga Katonda, mwabanga baddu ba bali abatali bakatonda mu buwangwa:
9 naye kaakano bwe mutegedde Katonda, oba ekisinga bwe mutegeddwa Katonda, mukyuka mutya ennyuma mu bigambo eby'olubereberye ebitalina maanyi ebinafu, ate bye mwagala okufugibwa omulundi ogw'okubiri?
10 Mukwata ennaku n'emyezi n'ebiro n'emyaka.
11 Mbakeŋŋentererwa okutegana kwange gye muli okuba okw'obwereere.
12 Mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe, ab'oluganda mbeegayiridde. Temunnyonoonanga:
13 naye mumanyi ng'olw'obunafu bw'omubiri nnababuulira enjiri omulundi ogw'olubereberye:
14 era okukemebwa kwammwe okw'omu mubiri gwange temwakunyooma so temwakulondoola, naye mwanzikiriza nga malayika owa Katonda, nga Kristo Yesu.
15 Kale okwetenda kwammwe kuli luuyi wa? kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, singa kyali kiyinzika, mwandiggyeemu amaaso gammwe ne mugawa nze.
16 Kale nfuuse mulabe wammwe nga mbabuulira amazima?
17 Beegonza gye muli naye si bulungi; naye kye baagala kwe kubaggalira ebweru, mmwe mulyoke mwegonzenga gye bali:
18 Naye kirungi abantu okwegonzanga mu bulungi ennaku zonna, naye si nze lwe mbeera nammwe lwokka.
19 Abaana bange abato, abannuma nate okutuusa Kristo lw'alibumbibwa mu mmwe,
20 era nnandyagadde okubeera nammwe kaakano, n'okuwaanyisa eddoboozi lyange, kubanga mbuusabuusa olw'ebigambo byammwe.
21 Mumbuulire mmwe abaagala okufugibwa amateeka, temuwulira mateeka?
22 Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yalina abaana babiri, omu wa muzaana, omu wa wa ddembe.
23 Naye ow'omuzaana yazaalibwa lwa mubiri; naye ow'ow'eddembe lwa kusuubiza.
24 Ebyo bya lugero: kubanga abakazi abo ze ndagaano bbiri; emu eva ku lusozi Sinaayi, ezaala olw'obuddu, eyo ye Agali.
25 Agali oyo lwe lusozi Sinaayi, oluli mu Buwalabu, era yenkanankana ne Yerusaalemi ekya kaakano: kubanga muddu wamu n'abaana be.
26 Naye Yerusaalemi eky'omu ggulu kye ky'eddembe, ye nnyaffe.
27 Kubanga kyawandiikibwa nti Sanyuka, omugumba atazaala; Baguka okwogerera waggulu, atalumwa: Kubanga abaana b'oyo eyalekebwayo bangi okusinga ab'oyo alina omusajja:
28 Naye ffe, ab'oluganda, tuli baana ba kusuubiza nga Isaaka bwe yali.
29 Naye nga mu biro biri eyazaalibwa olw'omubiri nga bwe yayigganya eyazaalibwa olw'Omwoyo, bwe kityo ne kaakano.
30 Naye ebyawandiikibwa byogera bitya? nti Goba omuzaana n'omwana we: kubanga omwana w’omuzaana talisikira wamu n'omwana w'ow'eddembe.
31 Kale, ab'oluganda, ffe tetuli ba muzaana, naye ba wa ddembe.