Abaggalatiya
Essuula 1
Pawulo omutume (ataava mu bantu newakubadde okuyita eri omuntu, wabula eri Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu),
2 n'ab'oluganda bonna abali nange tubawandiikidde ekkanisa ez'e Ggalatiya:
3 ekisa kibenga gye muli n'emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe, ne Mukama waffe Yesu Kristo,
4 eyeewaayo olw'ebibi byaffe, alyoke atuggye mu mirembe gino egiriwo emibi nga bwe yayagala Katonda era Kitaffe:
5 aweebwenga ekitiibwa emirembe n'emirembe. Amiina.
6 Nneewuunya kubanga musenguka mangu bwe muti eyabayita mu kisa kya Kristo okugenda eri enjiri efaanana obulala;
7 si ndala, wabula abantu ababateganya, abaagala okukyusiza ddala enjiri ya Kristo.
8 Naye oba nga ffe oba malayika ava mu ggulu bw'abuuliranga enjiri wabula nga bwe twababuulira, akolimirwenga.
9 Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo bwe njogera kaakano nate nti Omuntu bw'ababuuliranga enjiri wabula nga bwe mwaweebwa, akolimirwenga.
10 Kubanga kaakano mpembera bantu nantiki Katonda? Nantiki nsala amagezi okusiimibwa abantu? Singa nnali nga nkyasiimibwa abantu, ssandibadde muddu wa Kristo.
11 Kubanga mbategeeza, ab'oluganda, nti enjiri eyabuulirwa nze si ya buntu:
12 kubanga nange ssaagiweebwa muntu so siyigirizibwanga, wabula mu kubikkulirwa kwa Yesu Kristo.
13 Kubanga mwawulira bwe nnabanga edda mu mpisa z'Ekiyudaaya, nga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda awatali kigera ne nginyaga,
14 ne mpitirizanga mu mpisa z'Ekiyudaaya okusinga bangi bwe twakula mu ggwanga lyaffe, nga mbakiranga okubeera n'obuggya obungi ennyo mu mpisa ze nnaweebwa bajjajjange.
15 Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n'ampita olw'ekisa kye,
16 okubikkulira Omwana we mu nze, ndyoke mmubuulirenga mu b'amawanga; amangu ago ssaateesa na mubiri wadde na musaayi:
17 so ssaayambuka Yerusaalemi eri abo abansooka okubeera abatume: naye nagenda mu Buwalabu, ne nkomawo nate mu Ddamasiko.
18 Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne nnyambuka e Yerusaalemi okulaba Keefa, ne mmalayo gy'ali ennaku kkumi na ttaano.
19 Naye ssaalaba mulala ku batume wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe.
20 Kale, bye mpandiika, laba, mu maaso ga Katonda ssirimba.
21 Awo ne ŋŋenda mu njuyi ez'e Busuuli ne Kirukiya.
22 Ne mba nga sinnaba kutegeerebwa mu maaso g'ekkanisa ez'e Buyudaaya eziri mu Kristo:
23 naye ne bawuliranga buwulizi nti Eyatuyigganyanga edda kaakano abuulira okukkiriza kwe yanyaganga edda.
24 ne bagulumiza Katonda ku lwange.