1 Abakkolinso
Essuula 4
Omuntu atulowoozenga bw'ati, nga tuli baweereza ba Kristo era abawanika b'ebyama bya Katonda:
2 Era wano kigwanira abawanika, omuntu okulabikanga nga mwesigwa.
3 Naye ku nze kigambo kitono nnyo mmwe okunsalira omusango, oba omuntu yenna: era nange nzekka sseesalira musango:
4 Kubanga sseemanyiiko kigambo; naye ekyo tekimpeesa butuukirivu: naye ansalira omusango ye Mukama waffe.
5 Kale temusalanga musango gwa kigambo kyonna, ebiro nga tebinnatuuka, okutuusa Mukama waffe lw'alijja, alimulisa ebikwekebwa eby'omu kizikiza, era alirabisa okuteesa okw'omu mitima; buli muntu n'alyoka aweebwa ettendo lye eri Katonda.
6 Naye ebyo, ab'oluganda, mbigeredde ku nze ne Apolo ku lwammwe; mulyoke muyigire ku ffe obutasukkanga ku byawandiikibwa; omuntu yenna alemenga okwegulumiza olw'omu okusinga omulala.
7 Kubanga akwawula ye ani? era olina ki ky'otaaweebwa? naye okuweebwa oba nga waweebwa, kiki ekikwenyumirizisa ng'ataaweebwa?
8 Mumaze okukkuta, mumaze okugaggawala, mwafuga nga bakabaka awatali ffe: era mubeera kufuga nandyagadde, era naffe tulyoke tufugire wamu nammwe.
9 Kubanga ndowooza nga Katonda ffe abatume yatwolesa enkomerero ng'abataaleme kufa: kubanga twafuuka ekyerolerwa ensi ne bamalayika n'abantu.
10 Ffe tuli basirusiru ku bwa Kristo, naye mmwe muli bagezigezi mu Kristo; ffe tuli banafu, naye mmwe muli ba maanyi; mmwe muli ba kitiibwa, ffe tuli ba kunyoomebwa.
11 Era n'okutuusa ekiseera kino, tulumwa enjala era n'ennyonta, era tuba bwereere, era tukubibwa ebikonde, era tetuliiko waffe;
12 era tukola emirimu nga tutegana n'emikono gyaffe: bwe tuvumibwa, tubasabira omukisa; bwe tuyigganyizibwa, tugumiikiriza;
13 bwe tuwaayirizibwa, twegayirira: twafuuka ng'ebisasiro eby'ensi; empitambi eza byonna, okutuusa kaakano.
14 Ebyo ssibiwandiika kubakwasa nsonyi, wabula okubabuulirira ng'abaana bange abaagalwa.
15 Kuba newakubadde nga mulina abayigiriza kakumi mu Kristo, naye temulina bakitammwe bangi; kubanga nze nabazaaza enjiri mu Kristo Yesu:
16 Kyenva mbeegayirira okungobereranga:
17 Kyenva ntuma Timoseewo gye muli ye mwana wange omwagalwa omwesigwa mu Mukama waffe, alibajjukiza amakubo gange agali mu Kristo, nga bwe njigiriza yonna yonna mu buli kkanisa.
18 Naye waliwo abalala abeegulumiza nga balowooza nga nze sigenda kujja gye muli.
19 Naye ndijja gye muli mangu, Mukama waffe bw'alyagala; era ndimanya amaanyi gaabwe abeegulumiza so si kigambo kyabwe.
20 Kubanga obwakabaka bwa Katonda tebuli mu kigambo, wabula mu maanyi.
21 Mwagalako ki? njije gye muli n'omuggo, oba mu kwagala ne mu mwoyo ogw'obuwombeefu?