1 Abakkolinso
Essuula 13
Bwe njogera n'ennimi z'abantu n’eza bamalayika, naye ne ssiba na kwagala, nga nfuuse ekikomo ekivuga n'ebitaasa ebisaala.
2 Era bwe mba ne bunnabbi ne ntegeera ebyama byonna n'okutegeera kwonna; era bwe mba n'okukkiriza kwonna, n'okuggyawo ne nzigyawo ensozi; naye ne ssiba na kwagala, nga ssiri kintu.
3 Era bwe ngabira abaavu bye nnina byonna okubaliisanga, era bwe mpaayo omubiri gwange okwokebwa, naye ne ssiba na kwagala, nga ssiriiko kye ngasizza.
4 Okwagala kugumiikiriza, kulina ekisa; okwagala tekuba na buggya; okwagala tekwekulumbaza, tekwegulumiza
5 tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga, tekusiba bubi ku mwoyo;
6 tekusanyukira bitali bya butuukirivu, naye kusanyukira wamu n'amazima;
7 kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna.
8 Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna: naye oba bunnabbi, bulivaawo; oba ennimi, zirikoma; oba okutegeera, kulivaawo.
9 Kubanga tutegeerako kitundu, era tulagulako kitundu:
10 naye ebituukirivu bwe birijja, eby'ekitundu birivaawo.
11 Bwe nnali omuto, nnayogeranga ng'omuto, nnategeeranga ng'omuto, nnalowoozanga ng'omuto: bwe nnakula, ne ndeka eby'obuto.
12 Kubanga kaakano tulabira mu ndabirwamu ebitalabika bulungi; naye mu biro biri tulitunulagana n'amaaso: kaakano ntegeerako kitundu; naye mu biro biri nditegeerera ddala era nga bwe nnategeererwa ddala.
13 Naye kaakano waliwo okukkiriza, okusuubira, okwagala, ebyo byonsatule; naye ku ebyo ekisinga obukulu kwagala.