1 Abakkolinso
Essuula 11
Mungobererenga nze, nga nange bwe ngoberera Kristo.
2 Mbatendereza kubanga munjijukira mu byonna, era munyweza bye mwaweebwa nga bwe nnabibawa.
3 Naye njagala mmwe okumanya ng'omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n'omutwe gw'omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.
4 Buli musajja bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga gubikkiddwako, aswaza omutwe gwe.
5 Naye buli mukazi bw'asaba oba bw'abuulira, omutwe gwe nga tegubikkiddwako, aswaza omutwe gwe: kubanga bwe bumu ddala ng'amwereddwa.
6 Kuba oba ng'omukazi tabikkibwako, era asalibwenga enviiri: naye oba nga kya nsonyi omukazi okusalibwanga enviiri oba okumwebwanga, abikkibwengako.
7 Kubanga omusajja tekimugwanira kubikkibwanga ku mutwe, kubanga oyo kye kifaananyi n'ekitiibwa kya Katonda: naye omukazi kye kitiibwa ky'omusajja.
8 Kubanga omusajja teyava mu mukazi; wabula omukazi ye yava mu musajja:
9 era kubanga omusajja teyatondebwa lwa mukazi; wabula omukazi olw'omusajja:
10 kyekiva kigwanira omukazi okubangako akabonero ak'okufugibwa ku mutwe gwe olwa bamalayika.
11 Era naye omukazi tabeerawo awatali musajja, era omusajja tabeerawo awatali mukazi, mu Mukama waffe.
12 Kuba omukazi nga bwe yava mu musajja, era n'omusajja bw'atyo azaalibwa omukazi; naye byonna biva eri Katonda:
13 Musale omusango nammwe mwekka: kisaana omukazi asabenga Katonda nga tabikkiddwako?
14 Obuzaaliranwa bwokka tebubayigiriza nga omusajja bw'akuza enviiri zimuswaza?
15 Naye omukazi bw'akuza enviiri; kye kitiibwa gy'ali: kubanga yaweebwa enviiri ze mu kifo ky'ekyambalo.
16 Naye omuntu yenna bw'aba ng'ayagala okuleeta empaka, ffe tetulina mpisa ng'eyo, newakubadde ekkanisa za Katonda.
17 Naye bwe mbalagira kino ssibatendereza, kubanga temukuŋŋaana lwa bulungi wabula olw'obubi.
18 Kubanga eky'olubereberye, bwe mukuŋŋaanira mu kkanisa, mpulira nga waliwo okwawukana mu mmwe; era nkikkirizaamu.
19 Kubanga era n'okwesalamu kikugwanira okubanga mu mmwe, abasiimibwa balyoke balabikenga mu mmwe.
20 Kale bwe mukuŋŋaanira awamu, tekiyinzika kulya mmere ya Mukama waffe:
21 kubanga mu kulya kwammwe buli muntu asooka munne okutoola emmere ye yekka; n'omulala alumwa enjala, n'omulala atamiira.
22 Kiki ekyo? temulina nnyumba za kuliirangamu n'okunywerangamu? oba munyooma ekkanisa ya Katonda, ne muswaza abatalina nnyumba? Nnaabagamba ntya? nnaabatendereza olw'ekyo? Ssibatendereza.
23 Kubanga nze nnaweebwa eri Mukama waffe era ekyo kye nnabawa mmwe, nga Mukama waffe Yesu mu kiro kiri kye yaliirwamu olukwe yatoola omugaati;
24 ne yeebaza, n'agumenyamu, n'ayogera nti Guno gwe mubiri gwange oguli ku lwammwe: mukolenga bwe mutyo olw'okunjijukiranga nze.
25 Era n'ekikompe bw'atyo bwe baamala okulya, ng'ayogera nti Ekikompe kino ye ndagaano empya mu musaayi gwange: mukolenga bwe mutyo buli lwe munaanywangako, olw'okunjijukiranga nze.
26 Kubanga buli lwe munaalyanga ku mugaati guno ne lwe munaanywanga ku kikompe, munaayolesanga okufa kwa Mukama waffe okutuusa lw'alijja.
27 Kyanaavanga azza omusango ogw'omubiri n'omusaayi gwa Mukama waffe buli anaalyanga ku mugaati aba anaanywanga ku kikompe kya Mukama waffe nga tasaanidde.
28 Naye omuntu yeekeberenga yekka alyoke alyenga ku mugaati bw'atyo, era anywenga ne ku kikompe.
29 Kubanga alya era anywa, alya era anywa musango gwe ye, bw'atayawula mubiri.
30 Mu mmwe kyemuvudde mubeeramu abangi abanafu n'abalwadde, era bangiko abeebaka:
31 Naye singa twesalira omusango ffekka, tetwandisaliddwa musango.
32 Naye bwe tusalirwa omusango, tubuulirirwa Mukama waffe, tuleme okusingibwa omusango awamu n’ensi.
33 Kale, baganda bange, bwe mukuŋŋaananga okulya, mulindaganenga.
34 Omuntu bw'alumwanga enjala, alyenga eka; okukuŋŋaana kwammwe kulemenga okuba okw'ensobi. N'ebirala ndibirongoosa, we ndijjira wonna.