1 Abakkolinso

Essuula : 1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16

0:00
0:00

Essuula 15

Kale mbategeeza, ab'oluganda, enjiri gye nnababuulira, era gye mwaweebwa, era gye munywereramu,
2 era gye mulokokeramu; mbategeeza ebigambo bye nnagibuuliriramu, oba nga muginyweza, wabula nga mwakkiririza bwereere.
3 Kubanga nnasooka okubawa mmwe era kye nnaweebwa, nga Kristo yafa olw'ebibi byaffe ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;
4 era nga yaziikibwa; era nga yazuukizibwa ku lunaku olw'okusatu ng'ebyawandiikibwa bwe byogera;
5 era nga yalabikira Keefa; n'alyoka alabikira ekkumi n'ababiri;
6 n'alyoka alabikira ab'oluganda abasingawo ebitaano omulundi gumu, ku abo bangi abakyali abalamu okutuusa kaakano, naye abamu beebaka;
7 n'alyoka alabikira Yakobo; n'alyoka alabikira abatume bonna;
8 era oluvannyuma lwa bonna n'alabikira nange ng'omwana omusowole.
9 Kubanga nze ndi muto mu batume, atasaanira kuyitibwa mutume, kubanga nnayigganyanga ekkanisa ya Katonda.
10 Naye olw'ekisa kya Katonda bwe ndi bwe ndi; n'ekisa kye ekyali gye ndi tekyali kya bwereere; naye nnakola emirimu mingi okusinga bonna: naye si nze, wabula ekisa kya Katonda ekyali nange.
11 Kale oba nze oba bo, bwe tutyo bwe tubuulira, era bwe mutyo bwe mwakkiriza.
12 Naye Kristo bw'abuulirwa nga yazuukizibwa mu bafu, abamu mu mmwe boogera batya nga tewali kuzuukira kwa bafu?
13 Naye oba nga tewali kuzuukira kwa bafu, era ne Kristo teyazuukizibwa;
14 era oba nga Kristo teyazuukizibwa, kale okubuulira kwaffe tekuliimu, so n'okukkiriza kwammwe tekuliimu.
15 Era naye tulabika ng'abajulirwa ab'obulimba aba Katonda; kubanga twategeeza Katonda nga yazuukiza Kristo: gw'ataazuukiza, oba ng'abafu tebazuukizibwa.
16 Kuba oba ng'abafu tebazuukizibwa, era ne Kristo teyazuukizibwa:
17 era oba nga Kristo teyazuukizibwa, okukkiriza kwammwe tekuliiko kye kugasa; mukyali mu bibi byammwe.
18 Kale era n'abo abeebaka mu Kristo baabula.
19 Oba nga mu bulamu buno bwokka mwe tubeeredde n’essuubi mu Kristo, tuli ba kusaasirwa okusinga abantu bonna.
20 Naye kaakano Kristo yazuukizibwa mu bafu, gwe mwaka omubereberye ogw'abo abeebaka.
21 Kuba nga okufa bwe kwabaawo ku bw'omuntu, era n’okuzuukira kw'abafu kwabaawo ku bwa muntu.
22 Kuba bonna nga bwe baafiira mu Adamu, era bwe batyo mu Kristo bonna mwe balifuukira abalamu.
23 Naye buli muntu mu kifo kye ye: Kristo gwe mwaka omubereberye; oluvannyuma aba Kristo mu kujja kwe.
24 Enkomerero n'eryoka etuuka bw'aliwaayo obwakabaka eri Katonda ye Kitaawe; bw'aliba ng'amaze okuggyawo okufuga kwonna n'amaanyi gonna n'obuyinza.
25 Kubanga kimugwanira okufuganga okutuusa lw'alissa abalabe be bonna wansi w'ebigere bye.
26 Omulabe ow'enkomerero aliggibwawo, kwe kufa.
27 Kubanga kyawandiikibwa nti Yassa byonna wansi w'ebigere bye. Naye bw'ayogera nti Byonna byassibwa wansi, kitegeerekeka ng'oyo teyassibwa wansi eyassa byonna wansi we.
28 Naye byonna bwe birimala okussibwa wansi we, era n'Omwana yennyini n'alyoka assibwa wansi w'oyo eyassa byonna wansi we, Katonda alyoke abeerenga byonna mu byonna.
29 Kubanga balikola batya ababatizibwa ku lw'abafu? oba ng'abafu tebazuukizibwa ddala, kiki ekibabatizisa ku lw'abo?
30 Naffe lwaki okubeera mu kabi buli kaseera?
31 Nfa bulijjo, ndayidde okwenyumiriza okwo ku lwammwe, kwe ndi nakwo mu Kristo Yesu Mukama waffe.
32 Oba nga nnalwana n'ensolo mu Efeso ng'omuntu obuntu, ngasibwa ntya? Oba ng'abafu tebazuukizibwa, tulye tunywe, kubanga tufa enkya.
33 Temulimbwanga: Okukwana n'ababi kwonoona empisa ennungi.
34 Mutamiirukukenga mu butuukirivu, so temwonoonanga; kubanga abalala tebategeera Katonda: njogedde kubakwasa nsonyi.
35 Naye omuntu alyogera nti Abafu bazuukizibwa batya? era mubiri ki gwe bajja nagwo?
36 Musirusiru ggwe, gy'osiga teba nnamu wabula ng'efa:
37 ne gy'osiga, tosiga mubiri oguliba, wabula mpeke njereere, mpozzi ya ŋŋaano, oba ya ngeri ndala;
38 naye Katonda agiwa omubiri nga bw'ayagala, era buli nsigo agiwa omubiri gwayo yokka.
39 Ennyama yonna si nnyama emu: naye endala ya bantu, n'endala ya nsolo, n'endala ya nnyonyi, n'endala ya byannyanja.
40 Era waliwo emibiri egy'omu ggulu n'emibiri egy'omu nsi: naye ekitiibwa eky'egy'omu ggulu kirala, n'eky'egy'omu nsi kirala.
41 Ekitiibwa ky'enjuba kirala, n'ekitiibwa ky'omwezi kirala, n'ekitiibwa ky'emmunyeenye kirala: kubanga emmunyeenye teyenkana na ginnaayo kitiibwa.
42 Era n'okuzuukira kw'abafu bwe kutyo. Gusigibwa mu kuvunda; guzuukizibwa mu butavunda:
43 gusigibwa awatali kitiibwa; guzuukizibwa mu kitiibwa; gusigibwa mu bunafu; guzuukizibwa mu maanyi:
44 gusigibwa nga mubiri gwa mukka; guzuukizibwa mubiri gwa mwoyo. Oba nga waliwo omubiri gw'omukka, era waliwo n'ogw'omwoyo.
45 Era bwe kityo kyawandiikibwa nti Omuntu ow'olubereberye Adamu yafuuka mukka mulamu. Adamu ow'oluvannyuma yafuuka mwoyo oguleeta obulamu.
46 Naye eky'omwoyo tekisooka, wabula eky'omukka; oluvannyuma kya mwoyo.
47 Omuntu ow'olubereberye yava mu nsi, wa ttaka: omuntu ow'okubiri yava mu ggulu.
48 Ng'oli ow'ettaka bwe yali, era n'ab'ettaka bwe bali bwe batyo: era ng'oli ow'omu ggulu bw'ali; era n'ab'omu ggulu bwe bali batyo.
49 Era nga bwe twatwala ekifaananyi ky'oli ow'ettaka, era tulitwala n'ekifaananyi ky'oli ow'omu ggulu.
50 Naye kino kye njogera, ab'oluganda, ng'omubiri n'omusaayi tebiyinza kusikira bwakabaka bwa Katonda so okuvunda tekusikira butavunda.
51 Laba, mbabuulira ekyama: tetulyebaka fenna, naye fenna tulifuusibwa,
52 mangu ago, nga kutemya kikowe, akagombe ak'enkomerero bwe kalivuga: kubanga kalivuga, n'abafu balizuukizibwa obutavunda, naffe tulifuusibwa.
53 Kubanga oguvunda guno, kigugwanira okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa.
54 Naye oguvunda guno bwe guliba nga gumaze okwambala obutavunda, n'ogufa guno okwambala obutafa, ekigambo ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira nti Okufa kumiriddwa mu kuwangula.
55 Ggwe okufa, okuwangula kwo kuli luuyi wa? Ggwe okufa, okuluma kwo kuli luuyi wa?
56 Okuluma kw'okufa kye kibi; n'amaanyi g'ekibi ge mateeka:
57 naye Katonda yeebazibwe, atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.
58 Kale, baganda bange abaagalwa, munywerenga obutasagaasagana, nga mweyongeranga bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, kubanga mumanyi ng'okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.