Zeffaniya

1 2 3

0:00
0:00

Essuula 3

Zikisanze ekijeemu ekyo era ekyonoonefu, ekibuga ekijooga!
2 Tekyagondera ddoboozi; tekyakkiriza kubuulirirwa; tekyesiga Mukama; tekyasemberera Katonda waakyo.
3 Abakungu baamu wakati mu kyo mpologoma eziwuluguma; abalamuzi baamu misege gya kiro; tebafissaawo kintu okutuusa enkya.
4 Bannabbi baamu biwowongole, era ba nkwe: bakabona baakyo bayonoona ekifo ekitukuvu, bagiridde amateeka ekyejo.
5 Mukama ali wakati mu kyo mutuukirivu; talikola ebitali bya butuukirivu; buli nkya ayolesa omusango gwe, talekaayo; naye atali mutuukirivu tamanyi kukwatibwa nsonyi.
6 Mmazeewo amawanga, amakomera gaabwe galekeddwawo; nzisizza enguudo zaabwe, ne wataba ayitawo: ebibuga byabwe bizikiridde, ne watabaawo muntu so tewali atuulamu.
7 Nayogera nti Mazima onontya, onokkiriza okubuulirirwa; kale ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo, nga byonna bwe biri bye nnalagira ku lwakyo: naye ne bagolokokanga mu makya ne boonoona ebikolwa byabwe byonna.
8 Kale munnindirire, bw'ayogera Mukama, okutuusa ku lunaku lwe ndigolokoka okukwata omuyiggo: kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga, ndeete obwakabaka okubafukako okunyiiga kwange, ekiruyi kyange kyonna; kubanga ensi zonna omuliro ogw'obuggya bwange gulizirya.
9 Kubanga mu biro ebyo ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna bakaabire erinnya lya Mukama, okumuweereza n'omwoyo gumu.
10 Abo abanneegayirira, ye muwala w'abange abasaasaana, balireeta ekitone kyange nga bava emitala w'emigga egy'Obuwesiyopya.
11 Ku lunaku olwo tolikwatibwa nsonyi olw'ebikolwa byo byonna bye wansobya kubanga lwe ndiggya wakati mu ggwe ababo abeenyumiriza n'amalala, so naawe toliba na kitigi nate ku lusozi lwange olutukuvu.
12 Naye ndireka wakati mu ggwe abantu ababonyaabonyezebwa era abaavu, era balyesiga erinnya lya Mukama.
13 Ekitundu kya Isiraeri ekirifikkawo tebalikola ebitali bya butuukirivu so tebalyogera eby'obulimba so n'olulimi olukuusa terulirabika mu kamwa kaabwe kubanga balirya, baligalamira, so tewaliba alibatiisa.
14 Yimba, ai omuwala wa Sayuuni; yogerera waggulu, ai Isiraeri; sanyuka ojaguze n'omutima gwonna, ai omuwala wa Yerusaalemi.
15 Mukama aggyeewo emisango gyo, agobye omulabe wo: kabaka wa Isiraeri, Mukama, ali wakati mu ggwe: tolitya bubi nate lwa kubiri.
16 Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti Totya; ai Sayuuni, emikono gyo gireme okuddirira.
17 Mukama Katonda wo ali wakati wo, ow'amaanyi anaalokola: alikusanyukira n'essanyu, aliwummulira mu kwagala kwe, alikusanyukira ng'ayimba.
18 Ndikuŋŋaanya abo abanakuwalira okukuŋŋaana okutukuvu, abaali ababo: omugugu ogwali ku kyo kyali kivume gye bali.
19 Laba, mu biro ebyo ndibonereza abo bonna abakubonyaabonya: era ndirokola omukazi awenyera, ne nkuŋŋaanya oyo eyagobebwa; era ndibafuula ettendo n'erinnya abakwatirwa ensonyi mu nsi zonna.
20 Mu biro ebyo ndibayingiza, ne mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya: kubanga ndibafuula erinnya n'ettendo mu mawanga gonna ag'omu nsi zonna, bwe ndikomyawo obusibe bwange mmwe nga mulaba, bw'ayogera Mukama.