Zeffaniya

1 2 3

0:00
0:00

Essuula 2

Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane, ai eggwanga eritalina kukwatibwa nsonyi;
2 etteeka nga terinnaba kuzaala, olunaku nga terunnayita ng'ebisusunku, ekiruyi kya Mukama nga tekinnabatuukako, olunaku olw'obusungu bwa Mukama, nga terunnabatuukako.
3 Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab'omu nsi, abakola emisango gye; munoonye obutuukirivu, munoonye obuwombeefu: mpozzi mulikwekebwa ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama.
4 Kubanga Gaza kirirekebwawo, ne Asukulooni kiriba matongo: Asudodi balikigoba mu ttuntu, ne Ekuloni kirisimbulibwa.
5 Zibasanze abo abali ku lubalama lw'ennyanja, amawanga ag'Abakeresi! Ekigambo kya Mukama kiboolekedde, ai Kanani, ensi ey'Abafirisuuti; ndikuzikiriza so tewaliba atuula omwo.
6 N'olubalama lw'ennyanja luliba malundiro, nga mulimu ensiisira ez'abasumba n'ebisibo eby'embuzi.
7 Era olubalama lw'ennyanja luliba lwa kitundu ky'ennyumba ya Yuda ekifisseewo; banaalundiranga eyo: mu nnyumba za Asukulooni mwe banaagalamiranga akawungeezi; kubanga Mukama Katonda waabwe alibajjira n'akomyawo obusibe bwabwe.
8 Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu n'okuyomba kw'abaana ba Amoni kwe bavumye abantu bange ne beegulumiriza ku nsalo yaabwe.
9 Kale, nga bwe ndi omulamu, bw'ayogera Mukama w'eggye, Katonda wa Isiraeri, mazima Mowaabu aliba nga Sodomu, n'abaana ba Amoni nga Ggomola, ekifo emyennyango kye gyemala, n'obunnya obw'omunnyo, n'amatongo agatalivaawo: abantu bange abaliba basigaddewo balibanyaga, n'ekitundu ky'eggwanga lyange ekifisseewo kiribasikira.
10 Olw'amalala gaabwe kyebaliva babeera n'ekyo, kubanga bavumye abantu ba Mukama w'eggye ne babeegulumirizaako.
11 Mukama aliba wa ntiisa gye bali: kubanga alikozza bakatonda bonna ab'ensi zonna; kale abantu balimusinza, buli muntu ng'ayima mu kifo kye, ebizinga byonna eby'amawanga.
12 Nammwe Abaesiyopya, mulittibwa n'ekitala kyange.
13 Era aligololera omukono gwe ku bukiika obwa kkono n'azikiriza Obwasuli; n'afuula Nineeve okuba amatongo era ekikalu ng'eddungu.
14 Era ente zinaagalamiranga wakati mu kyo, ensolo zonna ez'amawanga: kimbala era ne nnamunungu banaasulanga ku mitwe gy'empagi zaakyo: eddoboozi lyabwe linaayimbiranga mu madirisa; okuzikirira kunaabanga mu miryango: kubanga ayerudde enjola ez'emivule.
15 Kino kye kibuga eky'essanyu ekyegololanga, ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti Nze wendi so tewali mulala wabula nze: nga kifuuse matongo, ekifo ensolo we zigalamira! buli muntu akiyitako anaasoozanga n'anyeenya omukono gwe.