Zeffaniya
Essuula 1
Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, mutabani wa Gedaliya, mutabani wa Amaliya, mutabani wa Kezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, kabaka wa Yuda.
2 Ndizikiririza ddala byonna okuva ku maaso g'ensi, bw'ayogera Mukama.
3 Ndimalawo omuntu n'ensolo; ndizikiriza ennyonyi ez'omu bbanga n'ebyennyanja ebiri mu nnyanja, n'enkonge wamu n'ababi: era ndimalawo abantu okuva ku maaso g'ensi, bw'ayogera Mukama.
4 Era ndigololera ku Yuda omukono gwange ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi; era ndimalawo ekitundu kya Baali ekifisseewo okuva mu kifo kino, n'erinnya lya Bakemali wamu ne bakabona;
5 n'abo abasinziza eggye ery'omu ggulu ku nnyumba waggulu; n'abo abasinza, abalayirira Mukama nga balayira Malukamu;
6 n'abo abazze ennyuma obutagoberera Mukama; n'abo abatanoonyanga Mukama newakubadde okumubuuza.
7 Bunira awali Mukama Katonda: kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi: kubanga Mukama ategese ssaddaaka, atukuzizza abagenyi be.
8 Awo olulituuka ku lunaku Mukama kw'aliweerayo ssaddaaka ndibonereza abakungu n'abaana ba kabaka n'abo bonna abambadde ebyambalo ebinnaggwanga.
9 Awo ku lunaku olwo ndibonereza abo bonna ababuuka ku mulyango, abajjuza ennyumba ya mukama waabwe ekyejo n'obulimba.
10 Awo ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama, walibaawo eddoboozi ery'okuleekaana eriva ku mulyango ogw'ebyennyanja, n'okuwowoggana okuva mu luuyi olw'okubiri, n'okubwatuuka okunene okuva ku nsozi.
11 Muwowoggane, mmwe abali mu Makutesi, kubanga abantu bonna aba Kanani zibasanze: n'abo abeebinikanga ffeeza bazikiridde.
12 Awo olulituuka mu biro ebyo nditaganjula Yerusaalemi n'ettabaaza; era ndibonereza abasajja abatesengezze ebbonda lyabwe, aboogera mu mutima gwabwe nti Mukama talikola bulungi so talikola bubi.
13 N'obugagga bwabwe bulifuuka munyago, n'ennyumba zaabwe matongo; weewaawo, balizimba ennyumba naye tebalizituulamu; era balisimba ensuku ez'emizabbibu naye tebalinywa mwenge gwamu.
14 Olunaku olukulu olwa Mukama luli kumpi, luli kumpi era lwanguwa mangu nnyo, eddoboozi ery'olunaku lwa Mukama; omusajja ow'amaanyi alikaabira eyo ng'aliko obuyinike bungi.
15 Olunaku olwo lunaku lwa busungu, lunaku lwa buyinike n'okulaba ennaku, lunaku lwa kuziikirako n'okulekebwawo, lunaku lwa kizikiza n'ekikome, lunaku lwa bire n’ekizikiza ekikutte,
16 lunaku lwa kkondeere n'okulawa, eri ebibuga ebiriko enkomera n'eri ebigo ebigulumivu.
17 Era ndireeta obuyinike ku bantu, batambule ng'abazibe b'amaaso, kubanga bayonoonye Mukama: n'omusaayi gwabwe gulifukibwa ng'enfuufu, n'omubiri gwabwe ng'obusa.
18 Effeeza yaabwe teriyinza kubawonyeza ku lunaku olw'obusungu bwa Mukama newakubadde ezaabu yaabwe; naye ensi yonna omuliro ogw'obuggya bwe guligyokya: kubanga alimalawo, weewaawo, alimalirawo ddala n'entiisa abo bonna abali mu nsi.