Kaggayi

1 2

0:00
0:00

Essuula 1

Mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo kabaka, mu mwezi ogw'omukaaga, ku lunaku olw'omwezi olw'olubereberye, ekigambo kya Mukama ne kijjira mu Kaggayi nnabbi eri Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda n'eri Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abantu bano boogera nti Kaakano si kye kiseera ffe okujja, ekiseera eky'okuzimbiramu ennyumba ya Mukama.
3 Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira mu Kaggayi nnabbi nga kyogera nti
4 Kye kiseera mmwe bennyini okubeera mu nnyumba zammwe ezibikkiddwako, ennyumba eno ng'ebeerera awo ng'erekeddwawo?
5 Kale nno bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mulowooze amakubo gammwe.
6 Mwasiga bingi, ne mukungula bitono; mulya naye temukkuta; munywa naye temukkuta bye munywa; mwambala naye tewali abuguma; n'oyo afuna empeera afuna okugiteeka mu nsawo eyawummukawummuka.
7 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mulowooze amakubo gammwe.
8 Mulinnye ku lusozi, muleete emiti, muzimbe ennyumba; nange ndigisanyukira, era ndigulumizibwa, bw'ayogera Mukama.
9 Mwasuubira bingi, kale, laba, ne biba bitono; era bwe mwabireeta eka, ne mbifuumuula. Lwaki? bw'ayogera Mukama w'eggye. Ogw'ennyumba yange ebeerera awo ng'erekeddwawo, nammwe muddukira buli muntu eri ennyumba ye.
10 Kale ku lwammwe eggulu kyerivudde liziyizibwa okuleeta omusulo, n'ettaka liziyizibwa okubala ebibala byalyo.
11 Ne mpita ekyanda okujja ku nsi ne ku nsozi ne ku ŋŋaano ne ku mwenge ne ku mafuta ne ku ebyo ettaka bye libala ne ku bantu ne ku nsolo ne ku mirimu gyonna egy'engalo.
12 Awo Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri ne Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu wamu n'abantu bonna abafisseewo ne bagondera eddoboozi lya Mukama Katonda waabwe n'ebigambo bya Kaggayi nnabbi nga Mukama Katonda waabwe bwe yamutuma; abantu ne batya mu maaso ga Mukama.
13 Awo Kaggayi omubaka wa Mukama n'agamba abantu ng'ayima mu bubaka bwa Mukama nti Nze ndi wamu nammwe, bw'ayogera Mukama.
14 Awo Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri owessaza lya Yuda n'omwoyo gwa Yosuwa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu n'omwoyo gw'abantu bonna abaali bafisseewo, ne bajja ne bakola omulimu mu nnyumba ya Mukama w'eggye Katonda waabwe,
15 ku lunaku olw'omwezi olw'amakumi abiri mu nnya, mu mwezi ogw'omukaaga mu mwaka ogw'okubiri ogwa Daliyo kabaka.