Omubuulizi
Essuula 6
Waliwo ekibi kye nnalaba wansi w'enjuba, era kizitoowerera abantu:
2 omuntu Katonda gw'awa obugagga n'ebintu n'ekitiibwa, n'okubulwa n'atabulwa kintu olw'emmeeme ye ku ebyo byonna bye yeegomba, naye Katonda n'atamuwa buyinza kubiryako, naye omugenyi ye abirya; ekyo butaliimu, era ye ndwadde embi.
3 Omuntu bw'azaala abaana kikumi, n'awangaala emyaka mingi, ennaku ez'emyaka gye ne ziba nnyingi, naye emmeeme ye n'etekkuta birungi, era nate n'ataba na kuziikibwa; njogera ng'omwana omusowole amusinga oyo:
4 kubanga ajjira mu butaliimu n'agendera mu kizikiza, n'erinnya lye libikkibwako ekizikiza;
5 nate talabanga njuba so tagimanyanga; ono ye aba n'okuwummula okusinga oyo:
6 weewaawo, newakubadde ng'awangaala emyaka lukumi emirundi ebiri, naye n'atasanyukira birungi: bonna tebadde mu kifo kimu?
7 Okutegana kwonna okw'omuntu kuba kwa kamwa ke, era naye okwegomba tekukkuta.
8 Kubanga omugezigezi asinga atya omusirusiru? oba omwavu alina ki, amanyi okutambulira mu maaso g'abalamu?
9 Okulaba n'amaaso kwe kusinga okutambulatambula n'omwoyo ogwegomba: era n’ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.
10 Buli ekyabaawo, erinnya lyakyo lyatuumibwa dda, era kimanyibwa nga muntu: so tayinza kuwakanya oyo amusinga amaanyi.
11 Kubanga waliwo ebintu bingi ebyongera ku butaliimu, omuntu yeeyongera ki okugasa?
12 Kubanga ani amanyi ekisaanira omuntu mu bulamu bwe, ennaku zonna ez'obulamu bwe obutaliimu bw'amalawo ng'ekisiikirize? kubanga ani ayinza okubuulira omuntu ebinaabanga oluvannyuma lwe wansi w'enjuba?