Omubuulizi
Essuula 2
Nayogera mu mutima gwange nti Kale nno, naakukema n'ebinyumu; kale beera n'essanyu: era, laba, n'ekyo nga bwe butaliimu.
2 Nayogera ku nseko nti Ziraluse: ne ku binyumu nti Bikola ki?
3 Nanoonya mu mutima gwange bwe mba nsanyusa omubiri gwange n'omwenge, omutima gwange nga gukyannuŋŋamya n'amagezi, era bwe mba nnyweza obusirusiru, ndyoke ntegeere ebisaanira abaana b'abantu okukola wansi w'eggulu ennaku zonna ez'obulamu bwabwe.
4 Neekolera emirimu eminene, neezimbira ennyumba; neesimbira ensuku ez'emizabbibu;
5 neekolera ensuku n'ennimiro, ne nsimba omwo emiti egy'ebibala eby'engeri zonna:
6 neesimira ebidiba eby'amazzi, okugafukiriza ekibira emiti mwe gyasimbibwa:
7 nagula abaddu n'abazaana, ne nzaalirwa abaddu mu nnyumba yange: era nalina obugagga bungi obw'ente n'embuzi, okukira abo bonna abansooka mu Yerusaalemi:
8 era neekuŋŋaanyiza ffeeza ne zaabu, n'obugagga obw'omu buli nsi obwa bakabaka n'obw'omu masaza: neefunira abasajja abayimbi n'abakazi abayimbi, n'ebisanyusa abaana b'abantu, abazaana bangi nnyo.
9 Kale ne mba mukulu, ne nneeyongera okusinga bonna abansooka mu Yerusaalemi: era amagezi gange ne gabeera nange.
10 Na buli kintu amaaso gange kye geegombanga saakigamma: saaziyiza mutima gwange obutalaba ssanyu lyonna, kubanga omutima gwange gwasanyuka olw'emirimu gyange gyonna; era guno gwe gwali omugabo gwange ogwava mu mirimu gyange gyonna.
11 Awo ne ndyoka ntunuulira emirimu gyonna emikono gyange gye gyali gikoze n'okutegana kwe nnategana okukola: era, laba, byonna butaliimu na kugoberera mpewo, so nga tewali kintu kigasa wansi w'enjuba.
12 Awo ne nkyuka okulaba amagezi n'eddalu n'obusirusiru: kubanga omuntu ayinza ki addirira kabaka? Ayinza ekyo ekyakolebwa edda.
13 Awo ne ndaba ng'amagezi gasinga obusirusiru obulungi ng'omusana bwe gusinga ekizikiza.
14 Omugezigezi amaaso ge gaba mu mutwe gwe, n'omusirusiru atambulira mu kizikiza: era naye ne ntegeera nga bonna ekigambo kimu kibatuukako.
15 Awo ne ŋŋamba mu mutima gwange nti Ekituuka ku musirusiru era kye kirituuka ku nze nange; kale musinga mu ki amagezi? Kale ne njogera mu mutima gwange nga n'ekyo butaliimu.
16 Kubanga n'omugezigezi era nga n'omusirusiru tajjukirwa mirembe gyonna; kubanga mu biro ebigenda okujja byonna nga byamala dda okwerabirwa. Era omugezigezi ng'afa okwenkana n'omusirusiru!
17 Awo ne nkyawa obulamu; kubanga emirimu egikolebwa wansi w'enjuba gyantama: kubanga byonna butaliimu na kugoberera mpewo.
18 Awo ne nkyawa okutegana kwange kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba: kubanga kiŋŋwanira okukulekera omusajja alinziririra.
19 Era ani amanyi oba ng'aliba mugezigezi oba musirusiru, naye alifuga okutegana kwange kwonna kwe nnategana, ere kwe nnayolesezaamu amagezi wansi w'enjuba. Era n'ekyo butaliimu.
20 Kyennava nkyuka omutima gwange ne guggwaamu essuubi ery'okutegana kwonna kwe nnategana wansi w'enjuba.
21 Kubanga wabaawo omuntu okutegana kwe kulina amagezi n'okumanya n'obukabakaba; naye omuntu atategananga mu byo gw'alikulekera okuba omugabo gwe. Era n'ekyo butaliimu na kabi kanene.
22 Kubanga omuntu afuna ki olw'okutegana kwe kwonna n'olw'okufuba kw'omutima gwe kw'ategana wansi w'enjuba?
23 Kubanga ennaku ze zonna buyinike bwereere, n'okufuba kwe kunakuwala; weewaawo, ne mu kiro omutima gwe tegubaako bwe guwummula. Era n'ekyo butaliimu.
24 Tewali kintu ekigasa omuntu okusinga okulya n'okunywa n'okuliisa emmeeme ye ebirungi mu kutegana kwe. Era n'ekyo nakiraba nga kiva eri omukono gwa Katonda.
25 Kubanga ani ayinza okulya, oba ani ayinza okuba n'essanyu okukira nze?
26 Kubanga omuntu amusanyusa Katonda gw'awa amagezi n'okumanya n'essanyu: naye alina ebibi amuwa okutegana, akuŋŋaanye atuume entuumo, awe oyo asanyusa Katonda. Era n'ekyo butaliimu na kugoberera mpewo.