Omubuulizi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12

0:00
0:00

Essuula 12

Era ojjuukiriranga Omutonzi wo mu biro eby'obuvubuka bwo, ennaku embi nga tezinnajja n'emyaka nga teginnasembera bw'olyogera nti Sigisanyukira n'akamu;
2 enjuba n'omusana n'omwezi n'emmunyeenye nga tebinnazikizibwa, ebire ne bikomawo enkuba ng'emaze okutonnya.
3 ku lunaku abakuumi b'ennyumba kwe balikankanira, abasajja ab'amaanyi ne bakutama, n'abo abasa ne balekayo kubanga batono, n'abo abalingiza mu madirisa ne bazikizibwa,
4 enzigi ne ziggalwawo mu luguudo; eddoboozi ery'okusa nga likkakkanye, ne wabaawo ayimuka olw'okukaaba kw'ennyonyi, n'abawala bonna ab'okuyimba bwe balikkakkanyizibwa;
5 weewaawo, balitya ekyo ekigulumizibwa, ebitiisa ne biba mu kkubo; n'omulozi gulimulisa, n’ejjanzi lirizitowa, ne piripiri aliggwaawo: kubanga omuntu agenda mu nnyumba ye ey'olubeerera, abakungubazi ne batambulatambula mu nguudo:
6 omugwa ogwa ffeeza nga tegunnasumulukuka, n'ekibya ekya zaabu nga tekinnamenyeka, n'ensuwa nga tennayatika ku luzzi ne nnamuziga nga tannayatika ku kidiba;
7 enfuufu n'edda mu ttaka nga bwe yali, omwoyo ne gudda eri Katonda eyagugaba.
8 Obutaliimu obusinga obutaliimu bwonna, bw'ayogera Omubuulizi; byonna butaliimu.
9 Era nate kubanga Omubuulizi yalina amagezi, ne yeeyongera okuyigiriza abantu okumanya; weewaawo, yafumiitirizanga n'anoonya n'aliraanya engero nnyingi.
10 Omubuulizi yanoonya okulaba ebigambo ebikkirizibwa, n'ebyo ebyawandiikibwa n'obugolokofu, bye bigambo eby'amazima.
11 Ebigambo eby'abagezigezi biri ng'emiwunda, era ebigambo eby'ebifunvu by'amakuŋŋaaniro biri ng'enninga ezikomererwa obulungi, ebiweebwa okuva eri omusumba omu.
12 Era nate, mwana wange, labuka: okukolanga ebitabo ebingi tekuliiko gye kukoma; n'okuyiga ennyo kukooya omubiri.
13 Ekigambo ekyo we kikoma wano; byonna biwuliddwa: otyanga Katonda, okwatanga ebiragiro bye; kubanga ekyo bye byonna ebigwanira omuntu.
14 Kubanga Katonda alisala omusango gwa buli mulimu, wamu na buli kigambo ekyakwekebwa, oba nga kirungi oba nga kibi.