Omubuulizi

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12

0:00
0:00

Essuula 11

Suulanga emmere yo ku mazzi: kubanga oligiraba ennaku nnyingi nga ziyiseewo.
2 Owenga musanvu omugabo, weewaawo, munaana; kubanga tomanyi ekibi bwe kiriba ku nsi.
3 Ebire bwe bijjula enkuba, ne biyiika ku nsi: n'omuti bwe gugwa okwolekera obukiika obwa ddyo oba obwa kkono, mu kifo omuti mwe gugwa we gulibeera.
4 Alabirira embuyaga talisiga; n'oyo atunuulira ebire talikungula.
5 Nga bw’otomanyi ekkubo ery'empewo bwe liri, newakubadde amagumba bwe gakulira mu lubuto lw'oyo ali olubuto; era bw'otyo bw'otomanyi mulimu gwa Katonda akola byonna.
6 Enkya osiganga ensigo zo, n'akawungeezi toddirizanga mukono gwo: kubanga tomanyi bwe ziri ku zo eziriraba omukisa, oba zino oba ezo, oba zonna ziryenkana okuba ennungi.
7 Mazima omusana guwooma, era kigambo kya ssanyu amaaso okulaba enjuba.
8 Weewaawo, omuntu bw'awangaala emyaka emingi, agisanyukirenga gyonna; naye ajjukirenga ennaku ez'ekizikiza, kubanga ziriba nnyingi. Byonna ebijja butaliimu.
9 Sanyukiranga obuvubuka bwo, ggwe omulenzi; omutima gwo gukusanyusenga mu nnaku ez'obuvubuka bwo, otambulirenga mu makubo ag'omutima gwo ne mu kulaba kw'amaaso go: naye tegeera nga Katonda alikusalira omusango gw'ebyo byonna.
10 Kale ggyangawo obuyinike ku mutima gwo, oggyengawo obubi ku mubiri gwo: kubanga obuto n'obuvubuka butaliimu.