Eseza
Essuula 9
Awo mu mwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali, ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byali binaatera okutuukirizibwa, ku lunaku abalabe b'Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga; naye ne kikyuka okubeevuunulira, Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa;
2 awo Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna amasaza gonna aga kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubakola obubi: so tewaali muntu eyayinza okubaziyiza; kubanga entiisa yaabwe yali egudde ku mawanga gonna.
3 Awo abalangira bonna abaamasaza n'abasigire n'abaami abaafuganga n'abo abaakolanga omulimu gwa kabaka ne bayamba Abayudaaya; kubanga entiisa ya Moluddekaayi ng'ebaguddeko.
4 Kubanga Moluddekaayi yali mukulu mu nnyumba ya kabaka, n'ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna amasaza gonna: kubanga omusajja oyo Moluddekaayi yeeyongerayongeranga obukulu.
5 Awo Abayudaaya ne batta abalabe baabwe bonna nga babakuba n'ekitala, nga babazikiriza nga babamalawo, ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa.
6 Ne mu lubiri lw'e Susani Abayudaaya ne batta ne bazikiriza abasajja ebikumi bitaano.
7 Awo Palusandasa ne Dalufoni ne Asupasa
8 ne Polasa ne Adaliya ne Alidasa
9 ne Palumasuta ne Alisayi ne Alidayi ne Vaizasa,
10 batabani ba Kamani ekkumi mutabani wa Kammedasa omulabe w'Abayudaaya ne babatta; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.
11 Ku lunaku olwo omuwendo gw'abo abattirwa mu lubiri lw'e Susani ne guleetebwa mu maaso ga kabaka.
12 Awo kabaka n'agamba Eseza kaddulubaale nti Abayudaaya basse bazikirizza abasajja ebikumi bitaano mu lubiri w’e Susani ne batabani ba Kamani ekkumi; kale kye bakoze mu masaza amalala aga kabaka kyenkana wa! Kiki nno ky'osaba? era onookiweebwa: oba kiki kye weegayirira nate? era kinaakolebwa.
13 Awo Eseza n'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, Abayudaaya abali mu Susani baweebwe okukola n'enkya ng'ekiragiro ekya leero bwe kibadde, era batabani ba Kamani ekkumi bawanikibwe ku kitindiro.
14 Awo kabaka n'alagira bakole bwe batyo: kale ne balangirira etteeka mu Susani; ne bawanika batabani ba Kamani ekkumi.
15 Awo Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ne ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali, ne batta abasajja ebikumi bisatu mu Susani; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.
16 Awo Abayudaaya abalala abaali mu masaza ga kabaka ne bakuŋŋaana ne beesibira obulamu bwabwe, ne baba n'okuwummula eri abalabe baabwe, ne batta ku bo abaabakyawa obukumi musanvu mu enkumi ttaano; naye ne batassaako mukono gwabwe ku munyago.
17 Ebyo byabaawo ku lunaku lw'ekkumi n'essatu olw'omwezi Adali; ne ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'ennya ne bawummula; ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
18 Naye Abayudaaya abaali mu Susani ne bakuŋŋaanira ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'essatu ne ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'ennya; ne ku lunaku lwagwo olw'ekkumi n'ettaano ne bawummula ne balufuula olunaku olw'okuliirako embaga n'olw'okusanyukirako.
19 Abayudaaya ab'omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali olunaku olw'okusanyukirako n'okuliirako embaga era olunaku olulungi era olw'okuweerezaganirako emigabo.
20 Awo Moluddekaayi n'awandiika ebyo, n'aweereza ebbaluwa Abayudaaya bonna abaali mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ab'okumpi n'ab'ewala,
21 okubalagira okukwatanga olunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi Adali, n'olunaku lwagwo olw'ekkumi n'ettaano, buli mwaka,
22 nga ze nnaku Abayudaaya kwe baafunira okuwummula eri abalabe baabwe, n'omwezi ogwabafuukira ogw'essanyu okuva mu buyinike, era olunaku olulungi okuva mu kunakuwala: bazifuulenga ennaku ez'okuliirangako embaga n'ez'okusanyukirangako n'ez'okuweerezaganirangako emigabo n'ez'okuweererezangako abaavu ebirabo.
23 Awo Abayudaaya ne basuubiza okukolanga nga bwe baatanula, era nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira;
24 kubanga Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi omulabe w'Abayudaaya bonna yali ateesezza eri Abayudaaya okubazikiriza, era yali akubye Puli, bwe bululu, okubamalawo n'okubazikiriza;
25 naye ekigambo bwe kyatuuka mu maaso ga kabaka n'alagiririra mu bbaluwa olukwe lwe olubi lwe yali asalidde Abayudaaya ludde ku mutwe gwe ye; era ye ne batabani be bawanikibwe ku kitindiro.
26 Ennaku ezo kyebaava baziyita Pulimu ng'erinnya lya Puli bwe liri. Awo olw'ebigambo byonna eby'omu bbaluwa eno n'olw'ebyo bye baalaba mu kigambo ekyo n'ekyo ekyababaako,
27 Abayudaaya kyebaava balagira ne basuubiza ne basuubiriza ezzadde lyabwe n'abo bonna abaneegattanga nabo, kireme okuggwaawo, okukwatanga ennaku ezo zombi ng'ekiwandiike kyazo bwe kyali era ng'ebiro byazo bwe byali ebyateekebwawo buli mwaka;
28 era okujjukiranga n'okukwatanga ennaku ezo okubuna emirembe gyonna, na buli kika, na buli ssaza na buli kibuga; era ennaku zino eza Pulimu zireme okuggwaawo mu Buyudaaya, newakubadde ekijjukizo kyazo kireme okubula eri ezzadde lyabwe.
29 Awo Eseza kaddulubaale muwala wa Abikayiri ne Moluddekaayi Omuyudaaya ne bawandiika n'obuyinza bwonna okunyweza ebbaluwa eyo ey'okubiri eya Pulimu.
30 N'aweereza Abayudaaya bonna ebbaluwa, mu masaza ekikumi mu amakumi abiri mu musanvu ag'obwakabaka bwa Akaswero, nga zirimu ebigambo eby'emirembe n'amazima,
31 okunyweza ennaku ezo eza Pulimu mu biro byazo ebyateekebwawo, nga Moluddekaayi Omuyudaaya ne Eseza kaddulubaale bwe baabalagira, era nga bwe beeteekera bo bennyini n'ezzadde lyabwe mu bigambo eby'okusiiba n'okukaaba kwabwe.
32 Awo ekiragiro kya Eseza ne kinyweza ebigambo ebyo ebya Pulimu; ne kiwandiikibwa mu kitabo.