Eseza

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10

0:00
0:00

Essuula 7

Awo kabaka ne Kamani ne bajja eri embaga wamu ne Eseza kaddulubaale.
2 Awo kabaka n'agamba nate Eseza ku lunaku olw'okubiri nga batudde ku mbaga ey'omwenge nti Kiki ky'osaba, kaddulubaale Eseza, era onookiweebwa: era kiki kye weegayirira? ne bwe kinaaba ekitundu ky'obwakabaka kinaatuukirizibwa.
3 Awo Eseza kaddulubaale n'addamu n'ayogera nti Oba nga ŋŋanze mu maaso go, ai kabaka, era kabaka bw'anaasiima, mpeebwe obulamu bwange olw'okusaba kwange, n'abantu bange olw'okwegayirira kwange:
4 kubanga tutundiddwa, nze n'abantu bange okuzikirizibwa, okuttibwa n'okubula. Naye singa tutundiddwa okuba abaddu n'abazaana, nandisirise, newakubadde ng'omulabe teyandiyinzizza kuliwa kabaka bye yandifiiriddwa.
5 Awo kabaka Akaswero n'alyoka ayogera n'agamba Eseza kaddulubaale nti Ani era ali ludda wa ayaŋŋanga okugezaako mu mutima gwe okukola bw'atyo?
6 Awo Eseza n'ayogera nti Omulabe era, atukyawa, Kamani ono omubi. Awo Kamani n'atya mu maaso ga kabaka ne kaddulubaale.
7 Awo kabaka n'agolokoka ng'aliko ekiruyi n'ava ku mbaga ey'omwenge n'ayingira mu lusuku olw'omu lubiri: Kamani n'ayimirira okusaba obulamu bwe eri Eseza kaddulubaale; kubanga yalaba obubi kabaka bw'amuteeserezza.
8 Awo kabaka n'akomawo ng'ava mu lusuku olw'omu lubiri n'ayingira mu kifo eky'embaga ey'omwenge; kale Kamani ng'agudde ku kitanda Eseza kwe yali. Awo kabaka n'ayogera nti N'okukwata anaakwatira kaddulubaale mu maaso gange mu nnyumba? Ekigambo nga kiva mu kamwa ka kabaka, ne babikka ku maaso ga Kamani.
9 Awo Kalubona, omu ku balaawe abaali mu maaso ga kabaka, n'ayogera nti Era, laba, ekitindiro, obuwanvu bwakyo emikono amakumi ataano Kamani kyakoledde Moluddekaayi, eyayogera olwa kabaka ebirungi, kiyimiridde mu nnyumba ya Kamani. Kabaka n'ayogera nti Mumuwanike okwo.
10 Awo ne bawanika Kamani ku kitindiro kye yali asimbidde Moluddekaayi. Awo obusungu bwa kabaka ne bukkakkana.