Eseza

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10

0:00
0:00

Essuula 8

Awo ku lunaku olwo kabaka Akaswero n'awa Eseza kaddulubaale ennyumba ya Kamani omulabe w'Abayudaaya. Awo Moluddekaayi n'ajja mu maaso ga kabaka; kubanga Eseza yali amubuulidde bwe yamuli.
2 Awo kabaka n'anaanuula empeta ye gy'aggye ku Kamani n'agiwa Moluddekaayi. Awo Eseza n'ateeka Moluddekaayi okuba omukulu w'ennyumba ya Kamani.
3 Awo Eseza n'ayogera nate olw'okubiri mu maaso ga kabaka, n'avuunama awali ebigere bye n'amwegayirira ng'akaaba amaziga okuggyawo obubi bwa Kamani Omwagaagi n'olukwe lwe lwe yali asalidde Abayudaaya.
4 Awo kabaka n'agololera Eseza omuggo ogwa zaabu. Awo Eseza n'agolokoka n'ayimirira mu maaso ga kabaka.
5 N'ayogera nti Kabaka bw'anaasiima, era oba nga ŋŋanze mu maaso ge, n'ekigambo ekyo bwe kinaafaanana eky'ensonga mu maaso ga kabaka, nange oba nga mmusanyusa, bawandiike okujjulula ebbaluwa Kamani mutabani wa Kammedasa Omwagaagi ze yateesa, ze yawandiika okuzikiriza Abayudaaya abali mu masaza gonna aga kabaka:
6 kubanga nnyinza ntya okugumiikiriza okutunuulira obubi obulijja ku bantu bange? oba nnyinza ntya okugumiikiriza, okutunuulira baganda bange nga babazikiriza?
7 Awo kabaka Akaswero n'agamba Eseza kaddulubaale ne Moluddekaayi Omuyudaaya nti Laba, mpadde Eseza ennyumba ya Kamani, naye bamuwanise ku kitindiro, kubanga yateeka omukono gwe ku Bayudaaya.
8 Era muwandiikire n'Abayudaaya, nga bwe musiima, mu linnya lya kabaka, mugisseeko akabonero n'empeta ya kabaka kubanga ekiwandiike ekiwandiikiddwa mu linnya lya kabaka era ekiteekeddwako akabonero n'empeta ya kabaka, tewali muntu ayinza okukijjulula.
9 Awo mu biro ebyo ne bayita abawandiisi ba kabaka mu mwezi ogw'okusatu, gwe mwezi Sivaani, ku lunaku lwagwo olw'amakumi abiri mu ssatu; era byonna ne biwandiikibwa Moluddekaayi bye yalagira eri Abayudaaya n'eri abaamasaza, n'abaami abaafuganga n'abakulu b'amasaza abaaliwo okuva e Buyindi okutuusa ku Buwesiyopya, amasaza kikumi mu abiri mu musanvu, eri buli ssaza ng'empandiika yaalyo bwe yali, n'eri buli ggwanga ng'olulimi lwabwe bwe lwali, n'eri Abayudaaya ng'empandiika yaabwe bwe yali era ng'olulimi lwabwe bwe lwali.
10 Era n'awandiika mu linnya lya kabaka Akaswero n'agissaako akabonero n'empeta ya kabaka n'aweereza ebbaluwa ezitwalibwa ababaka abeebagala embalaasi, abeebagadde ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka, ebyazaalibwa mu bisibo bya kabaka:
11 era mu ezo kabaka n'alagira Abayudaaya abaali mu buli kibuga okukuŋŋaana n'okwesibira obulamu bwabwe okuzikiriza, okutta, n'okumalawo obuyinza bwonna obw'abantu n'essaza abaagala okubalumba, abaana baabwe abato ne bakazi baabwe, n'okutwala omunyago gwabwe okuba omuyiggo,
12 ku lunaku lumu mu masaza gonna aga kabaka Akaswero, ku lunaku olw'ekkumi n'essatu olw'omwezi ogw'ekkumi n'ebiri, gwe mwezi Adali.
13 Awo ne balaalika amawanga gonna ebyaggibwa ku kiwandiike, ekiragiro kirangirirwe mu buli ssaza, era Abayudaaya babe nga beeteekeddeteekedde olunaku olwo okuwalana eggwanga ku balabe baabwe.
14 Awo ababaka abeebagala ebisolo eby'embiro ebyakolanga omulimu gwa kabaka ne bagenda, ekiragiro kya kabaka nga kibakubiriza era nga kibanguya; awo ekiragiro ne kirangirirwa mu lubiri lw’e Susani.
15 Awo Moluddekaayi n'afuluma mu maaso ga kabaka ng'ayambadde ebyambalo bya kabaka ebya kaniki n'ebyeru, era ng'atikkidde engule ennene eya zaabu, era ng'ayambadde omunagiro ogwa bafuta ennungi n'olugoye olw'effulungu: awo ekibuga Susani ne kyogerera waggulu ne kisanyuka.
16 Awo Abayudaaya ne baba n'omusana n'essanyu, n'okujaguza n’ekitiibwa.
17 Awo mu buli ssaza ne mu buli kibuga, ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye buli gye byatuukanga, Abayudaaya ne baba n'essanyu n'okujaguza, embaga n'olunaku olulungi. Kale bangi ab'omu mawanga ag'omu nsi ne bafuuka Abayudaaya; kubanga entiisa ey'Abayudaaya yali ebaguddeko.