Eseza
Essuula 2
Awo oluvannyuma lw'ebyo, obusungu bwa kabaka Akaswero bwe bwakkakkana, n'alyoka ajjukira Vasuti n'ekyo kye yakola n'ekyo ekyateekebwa eri ye.
2 Awo abaddu ba kabaka abaamuweerezanga ne boogera nti Banoonyeze kabaka abawala abato abalungi abatamanyi musajja:
3 era kabaka ateekewo abaami mu masaza gonna ag'omu bwakabaka bwe, bakuŋŋaanyize abawala abato abalungi bonna e Susani mu lubiri mu nnyumba y'abakazi, mu mukono gwa Kegayi omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi; era ebintu byabwe eby'okulongoosa babiweebwe:
4 awo omuwala kabaka gw'alisiima abe kaddulubaale mu kifo kya Vasuti. Ekigambo ekyo ne kisanyusa kabaka; n'akola bw'atyo.
5 Waaliwo Omuyudaaya mu Susani mu lubiri, erinnya lye Moluddekaayi mutabani wa Yayiri mutabani wa Simeeyi mutabani wa Kiisi Omubenyamini;
6 eyaggibwa mu Yerusaalemi wamu n'abasibe abaatwalirwa awamu ne Yekoniya kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w'e Babulooni gwe yatwala.
7 N'alera Kadassa, ye Eseza muwala wa kitaawe omuto: kubanga teyalina kitaawe newakubadde nnyina, era omuwala oyo yali mulungi nnyo; awo nnyina ne kitaawe bwe baafa, Moluddekaayi n'amutwala okuba omwana we ye.
8 Awo olwatuuka ekiragiro kya kabaka n'etteeka lye bwe byawulirwa, n'abawala bangi nga bakuŋŋaanidde e Susani mu lubiri mu mukono gwa Kegayi, awo Eseza n'atwalibwa mu nnyumba ya kabaka mu mukono gwa Kegayi omukuumi w'abakazi.
9 Awo omuwala oyo n'amusanyusa, n'afuna ekisa eri ye; n'ayanguwa okumuwa ebintu bye eby'okulongoosa wamu n'emigabo gye n'abawala omusanvu abaagwanira okubamuwa nga baggibwa mu nnyumba ya kabaka: n'amujjulula ye n'abawala be n'abayingiza mu kifo ekyasinga obulungi mu nnyumba ey'abakazi.
10 Eseza yali tategeezanga abantu be bwe baali newakubadde ekika kye: kubanga Moluddekaayi yali amukuutidde obutakitegeeza.
11 Era Moluddekaayi n'atambuliranga buli lunaku mu maaso g'oluggya lw'ennyumba ey'abakazi, okumanya Eseza bw'ali, era ky'alibeera.
12 Awo oluwalo olwa buli muwala bwe lwajja okuyingira eri kabaka Akaswero, ng'amaze okukolerwa ng'etteeka ery'abakazi bwe liri emyezi kkumi n'ebiri, (kubanga ennaku ez'okulongoosa kwabwe bwe zaatuukiriranga bwe zityo, emyezi mukaaga amafuta ag'omugavu, n’emyezi mukaaga eby'akaloosa n'ebintu eby'okulongoosa abakazi,)
13 kale bw'atyo omuwala n’alyoka ajja eri kabaka, kyonna kye yayagala n'akiweebwa okugenda naye ng'ava mu nnyumba ey'abakazi ng'agenda mu nnyumba ya kabaka.
14 Yagenda akawungeezi n'akomawo enkya mu nnyumba ey'abakazi ey'okubiri mu mukono gwa Saasugazi omulaawe wa kabaka eyakuumanga abazaana: teyayingira nate eri kabaka, wabula nga kabaka amusanyukidde, era ng'ayitiddwa n'erinnya.
15 Awo oluwalo lwa Eseza omuwala wa Abikayiri kitaawe wa Moluddekaayi omuto eyamutwala okuba omwana we bwe lwali lutuuse, okuyingira eri kabaka, teyaliiko kye yeetaaga wabula ebyo Kegayi, omulaawe wa kabaka, omukuumi w'abakazi, bye yalagira. Eseza n'aganja mu maaso g'abo bonna abaamutunuulira.
16 Awo Eseza n'atwalibwa eri kabaka Akaswero mu nnyumba ye eya kabaka mu mwezi ogw'ekkumi, gwe mwezi Tebesi mu mwaka ogw'omusanvu ogw'okufuga kwe.
17 Awo kabaka n'ayagala Eseza okusinga abakazi bonna, n'alaba ekisa n'okuganja mu maaso ge okusinga abawala bonna: n'okuteeka n'ateeka engule ey'obwakabaka ku mutwe gwe n'amufuula kaddulubaale mu kifo kya Vasuti.
18 Awo kabaka n'alyoka afumbira abakungu be bonna n'abaddu be embaga enkulu, embaga ya Eseza; n'awa amasaza okusonyiyibwa, n'agaba ebirabo, ng'obugabi bwa kabaka bwe bwali.
19 Awo abawala bwe baali bakuŋŋaanye omulundi ogw'okubiri, awo Moluddekaayi n'atuula mu mulyango gwa kabaka.
20 Eseza yali tategeezanga ekika kye bwe kyali newakubadde abantu be; nga Moluddekaayi bwe yamukuutira: kubanga Eseza yakola ekiragiro kya Moluddekaayi nga bwe yakolanga bwe yali ng'akyamulera.
21 Awo mu biro ebyo, Moluddekaayi ng'atudde mu mulyango gwa kabaka, babiri ku balaawe ba kabaka, Bigusani ne Teresi, ku abo abaakuumanga oluggi, ne basunguwala ne bagezaako okukwata kabaka Akaswero.
22 Awo ekigambo ekyo ne kimanyibwa Moluddekaayi n'akibuulira Eseza kaddulubaale; Eseza n'abuulira kabaka mu linnya lya Moluddekaayi.
23 Awo ekigambo ekyo bwe baakikenneenya, ne kirabika nga bwe kyali bwe kityo, bombi ne bawanikibwa ku muti: awo ne kiwandiikibwa mu kitabo eky'ebigambo ebya buli lunaku mu maaso ga kabaka.