Ezera

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10

0:00
0:00

Essuula 7

Awo oluvannyuma lw'ebyo ku mirembe gya Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi Ezera mutabani wa Seraya mutabani wa Azaliya mutabani wa Kirukiya
2 mutabani wa Sallumu mutabani wa Zadoki mutabani wa Akitubu
3 mutabani wa Amaliya mutabani wa Azaliya mutabani wa Merayoosi
4 mutabani wa Zerakiya mutabani wa Uzzi mutabani wa Bukki
5 mutabani wa Abisuwa mutabani wa Finekaasi mutabani wa Ereyazaali mutabani wa Alooni kabona asinga obukulu:
6 Ezera oyo n'ayambuka ng'ava e Babulooni; era yali muwandiisi mwangu mu mateeka ga Musa, Mukama Katonda wa Isiraeri ge yawa; kabaka n'amuwa byonna bye yasaba, olw'omukono gwa Mukama Katonda we ogwali ku ye.
7 Awo abamu ku baana ba Isiraeri ne bambuka ne ku bakabona n'Abaleevi n'abayimbi n'abaggazi ne Banesinimu ne bajja e Yerusaalemi mu mwaka ogw'omusanvu ogwa Alutagizerugizi kabaka.
8 N'ajja e Yerusaalemi mu mwezi ogw'okutaano ogw'omu mwaka ogw'omusanvu ogwa kabaka.
9 Kubanga ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye kwe yasookera okwambuka okuva e Babulooni, ne ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'okutaano kwe yatuukira e Yerusaalemi, olw'omukono omulungi ogwa Katonda we ogwali ku ye.
10 Kubanga Ezera yali akakasizza omutima gwe okunoonya amateeka ga Mukama n'okugakolanga n'okuyigirizanga mu Isiraeri amateeka n'emisango.
11 Era ebbaluwa eno yaggibwa mu bbaluwa kabaka Alutagizerugizi gye yawa Ezera kabona, omuwandiisi, omuwandiisi w'ebigambo eby'ebiragiro bya Mukama era ow'amateeka eri Isiraeri.
12 Alutagizerugizi kabaka wa bakabaka awandiikidde Ezera kabona, omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu eyatuukirira n'ebirala bwe bityo.
13 Nteeka etteeka bonna ab'oku bantu ba Isiraeri ne bakabona baabwe n'Abaleevi mu bwakabaka bwange abaagala ku bwabwe ddala okugenda e Yerusaalemi, bagende naawe.
14 Kubanga otumiddwa kabaka n'abateesa naye omusanvu okubuuza ebigambo bya Yuda ne Yerusaalemi, ng'amateeka bwe gali aga Katonda wo agali mu mukono gwo;
15 n'okutwala ffeeza ne zaabu kabaka n'abateesa naye gye bawaddeyo ku bwabwe eri Katonda wa Isiraeri, ekifo kye ky'abeeramu kiri mu Yerusaalemi,
16 ne ffeeza yonna ne zaabu gy'olisanga mu ssaza lyonna ery'e Babulooni, wamu n'ekiweebwayo ku bwabwe eky'abantu n'ekya bakabona, nga bawaayo ku bwabwe olw'ennyumba ya Katonda waabwe eri mu Yerusaalemi;
17 kyoliva onyiikira ennyo okugula ebintu bino ente, endiga ennume, abaana b'endiga, n'ebiweebwayo byako eby'obutta, n'ebiweebwayo byako ebyokunywa, era olibiweerayo ku kyoto eky'omu nnyumba ya Katonda wammwe eri mu Yerusaalemi.
18 Era kyonna kyonna kye mulisiima okukola effeeza erifikkawo ne zaabu ggwe ne baganda bo, ekyo mukikolanga nga Katonda wammwe bw'ayagala.
19 N'ebintu by'oweebwa olw'okuweereza okw'omu nnyumba ya Katonda wo obiwangayo mu maaso ga Katonda w'e Yerusaalemi.
20 Era byonna ennyumba ya Katonda wo by'eryetaaga okusukkirizaawo ebirikugwanira okuwaayo, obiwangayo ng'obiggya mu nnyumba y'eggwanika lya kabaka.
21 Nange, nze Alutagizerugizi kabaka, nteeka etteeka eri abawanika bonna abali emitala w'omugga, Ezera kabona omuwandiisi w'amateeka ga Katonda w'eggulu buli ky'alibasalira, kikolebwenga n'okunyiikira kwonna,
22 okutuusa talanta eza ffeeza kikumi, n'ebigero by'eŋŋaano kikumi, n'ebita by'omwenge kikumi, n'ebita by'amafuta kikumi, n'omunnyo obutagwogera bwe guba gwenkana.
23 Buli ekinaalagirwanga Katonda w'eggulu kikolerwenga ddala olw'ennyumba ya Katonda w'eggulu; kubanga obusungu bwandibeereddewo ki eri obwakabaka bwa kabaka ne batabani be?
24 Era tubannyonnyola ebya bakabona n'Abaleevi, abayimbi, abaggazi, Abanesinimu, oba abaddu b'ennyumba eno eya Katonda, bonna bwe benkana, tekiiyinzikenga kubasalira musolo newakubadde ebisalirwa newakubadde empooza.
25 Naawe, Ezera, ng'amagezi ga Katonda wo bwe gali agali mu mukono gwo, londa abaami n'abalamuzi balamulenga abantu bonna abali emitala w'omugga, bonna abamanyi amateeka ga Katonda wo; n'oyo atagamanyi mumuyigirizenga.
26 Era buli atakkirizenga kukwata mateeka ga Katonda wo n'amateeka ga kabaka, omusango bagukomekerezenga ku ye n'okunyiikira kwonna, oba gwa kuttibwa, oba gwa kugobebwa, oba gwa kunyagibwako ebibye, oba gwa kusibibwa.
27 Mukama yeebazibwe Katonda wa bajjajjaffe, eyateeka ekigambo ekyenkanidde awo mu mutima gwa kabaka, okuyonja ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi;
28 era eyannyongerako okusaasirwa mu maaso ga kabaka, n'abateesa naye ne mu maaso g'abakulu bonna aba kabaka ab'amaanyi. Ne mpeebwa amaanyi olw'omukono gwa Mukama Katonda wange ogwali ku nze, ne nkuŋŋaanya mu Isiraeri abakulu okwambuka nange.