Ezera

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10

0:00
0:00

Essuula 10

Awo Ezera bwe yali ng'asaba ng'ayatula ng'akaaba amaziga ng'avuunamira mu maaso g'ennyumba ya Katonda, ne wakuŋŋaanira gy'ali okuva mu Isiraeri ekibiina ekinene ennyo eky'abasajja n'abakazi n'abaana abato: kubanga abantu baakaaba nnyo nnyini amaziga.
2 Awo Sekaniya mutabani wa Yekyeri omu ku batabani ba Eramu, n'addamu n'agamba Ezera nti Twonoonye Katonda waffe, ne tuwasa abakazi bannaggwanga ab'oku mawanga ag'omu nsi: naye kaakano essuubi weeriri eri Isiraeri olw'ekyo.
3 Kale nno tulagaane endagaano ne Katonda waffe okugoba abakazi bonna n'abo be baazaala, ng'okuteesa bwe kuli okwa mukama wange n'abo abakankanira ekiragiro kya Katonda waffe; era kikolebwe ng'amateeka bwe gali.
4 Golokoka; kubanga ekigambo kikyo, naffe tuli naawe: guma omwoyo okikole.
5 Awo Ezera n'alyoka agolokoka, n'alayiza abakulu ba bakabona, Abaleevi ne Isiraeri yenna, nga banaakolanga ng'ekigambo kino bwe kiri. Awo ne balayira.
6 Awo Ezera n'alyoka agolokoka okuva mu maaso g'ennyumba ya Katonda, n'ayingira mu kisenge kya Yekokanani mutabani wa Eriyasibu: awo bwe yatuukayo, n'atalya mmere so teyanywa mazzi: kubanga yanakuwala olw'okusobya ku abo ab'obusibe.
7 Ne balangira okubunya Yuda ne Yerusaalemi abaana bonna ab'obusibe bakuŋŋaanire e Yerusaalemi;
8 era buli atalijja mu bbanga ery'ennaku ssatu, ng'okuteesa kw'abakulu n'abakadde bwe kwali, afiirwe ebintu bye byonna, naye yennyini ayawulibwe mu kibiina eky'obusibe.
9 Awo abasajja bonna aba Yuda ne Benyamini ne bakuŋŋaanira e Yerusaalemi mu bbanga ery'ennaku essatu; gwali mwezi gwa mwenda, ku lunaku olw'amakumi abiri olw'omwezi: abantu bonna ne batuula mu kifo ekigazi mu maaso g'ennyumba ya Katonda, nga bakankana olw'ekigambo ekyo n'olw'enkuba ennyingi.
10 Awo Ezera kabona n'ayimirira n'abagamba nti Mwasobya ne muwasa abakazi bannaggwanga okwongera ku Isiraeri omusango.
11 Kale nno mwatule eri Mukama Katonda wa bajjajjammwe mukole ebyo by'asiima: mweyawule n'amawanga ag'omu nsi n'abakazi bannaggwanga.
12 Awo ekibiina kyonna ne baddamu ne boogera n'eddoboozi ddene nti Nga bw'oyogedde ebigambo byaffe, bwe kityo bwe kitugwanidde okukola.
13 Naye abantu tuli bangi, era, bye biro eby'enkuba ennyingi, so tetuyinza kuyimirira bweru, so guno mulimu gwa lunaku lumu oba bbiri: kubanga twasobya nnyo mu kigambo ekyo.
14 Kale abakulu baffe balonderwe ekibiina kyonna, n'abo bonna abali mu bibuga byaffe abaawasizza abakazi bannaggwanga bajjire mu biseera ebiteekebwawo, era wamu nabo abakadde ba buli kibuga, n'abalamuzi baakyo, okutuusa Katonda waffe lw'alikyusa ekiruyi kye ekikambwe ne kituvaako, okutuusa ekigambo kino lwe kinaamalibwa.
15 Yonasaani mutabani wa Asakeri ne Yazeya mutabani wa Tikuva bokka ne bayimirira okugaana ekigambo kino: Mesullamu ne Sabbesayi Omuleevi ne babayamba.
16 Awo abaana b'obusibe ne bakola bwe batyo. Awo Ezera kabona n'abamu ku mitwe gy'ennyumba za bakitaabwe ng'ennyumba za bakitaabwe bwe zaali, era bonna ng'amannya gaabwe bwe gaali, ne bayawulibwa; ne batuula ku lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'ekkumi okukebera ekigambo ekyo.
17 Ne bamala ebigambo by'abasajja bonna abaali bawasizza abakazi bannaggwanga nga tewannayitawo lunaku olw'olubereberye olw'omwezi ogw'olubereberye.
18 Ne mu batabani ba bakabona ne mulabika abaali bawasizza abakazi bannaggwanga: ku batabani ba Yesuwa, mutabani wa Yozadaki ne baganda be, Maaseya ne Eryeza ne Yalibu ne Gedaliya.
19 Ne bawaayo emikono gyabwe nga banaagoba bakazi baabwe; era kubanga omusango gubasinze ne bawaayo endiga ennume ey'omu kisibo olw'omusango gwabwe.
20 Ne ku batabani ba Immeri; Kanani ne Zebadiya.
21 Ne ku batabani ba Kalimu; Maaseya, ne Eriya, ne Semaaya, ne Yekyeri, ne Uzziya.
22 Ne ku batabani ba Pasukuli; Eriwenayi, Maaseya, Isimaeri, Nesaneri, Yozabadi, ne Erasa.
23 Ne ku Baleevi; Yozabadi, ne Simeeyi, ne Keraya (oyo ye Kerita), Pesakiya, Yuda, ne Eryeza.
24 Ne ku bayimbi; Eriyasibu: ne ku baggazi; Sallumu, ne Teremu ne Uli.
25 Ne ku Isiraeri: ku batabani ba Palosi; Lamiya, ne Izziya, ne Malukiya ne Miyamini, ne Ereyazaali, ne Malukiya, ne Benaya.
26 Ne ku batabani ba Eramu; Mattaniya, Zekkaliya, ne Yekyeri, ne Abudi, ne Yeremoosi, ne Eriya.
27 Ne ku batabani ba Zattu; Eriwenayi, Eriyasibu, Mattaniya, ne Yeremoosi, ne Zabadi ne Aziza.
28 Ne ku batabani ba Bebayi; Yekokanani, Kananiya, Zabbayi, Asulaayi.
29 Ne ku batabani ba Bani; Mesullamu, Malluki, ne Adaya, Yasubu, ne Seyaali, Yeremoosi.
30 Ne ku batabani ba Pakasumowaabu; Aduna, ne Kerali, Benaya, Maaseya, Mattaniya, Bezaleeri, ne Binnuyi, ne Manase.
31 Ne ku batabani ba Kalimu; Eryeza, Isusiya, Malukiya, Semaaya, Simyoni;
32 Benyamini, Malluki, Semaliya.
33 Ku batabani ba Kasumu; Mattenayi, Mattata, Zabadi, Erifereti, Yeremayi, Manase, Simeeyi.
34 Ku batabani ba Baani; Maadayi, Amulaamu, ne Uweri;
35 Benaya; Bedeya, Keruki;
36 Vaniya, Meremoosi, Eriyasibu;
37 Mattaniya, Mattenayi, ne Yaasu;
38 ne Baani, ne Binnuyi, Simeeyi;
39 ne Seremiya, ne Nasani, ne Adaya;
40 Makunadebayi, Sasayi, Salaayi;
41 Azaleri, ne Seremiya, Semaliya;
42 Sallumu, Amaliya, Yusufu.
43 Ku batabani ba Nebo; Yeyeri, Mattisiya, Zabadi, Zebina, Iddo, ne Yoweeri, Benaya.
44 Abo bonna baali bawasizza abakazi bannaggwanga: era abamu ku bo baali balina abakazi be baali bazademu abaana.