Ezera

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10

0:00
0:00

Essuula 6

Awo Daliyo kabaka n'alyoka ateeka etteeka, ne banoonya mu nnyumba eterekerwamu ebitabo by'obugagga gye byaterekerwa mu Babulooni.
2 Ne balabira e Yakumesa mu lubiri oluli mu ssaza ery'Obumeedi omuzingo, ogwawandiikibwamu bwe gutyo okuba ekijjukizo nti
3 Mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka, Kuulo kabaka n'ateeka etteeka olw'ennyumba ya Katonda eri e Yerusaalemi, ennyumba ezimbibwe, ekifo mwe baweerayo ssaddaaka, n'emisingi gyayo gissibwewo ginywezebwe; obugulumivu bwayo emikono nkaaga, n'obugazi bwayo emikono nkaaga;
4 n'embu ssatu ez'amayinja amanene n'olubu olw'emiti emiggya: era ebintu bye balifiirwa biggibwe mu nnyumba ya kabaka:
5 era nate ebintu eby'omu nnyumba ya Katonda ebya zaabu n'ebya ffeeza Nebukadduneeza bye yaggya mu yeekaalu eri e Yerusaalemi, n'abireeta e Babulooni, bizzibweyo bireetebwe nate mu yeekaalu eri e Yerusaalemi, kinnakimu mu kifo kyakyo, era olibiteeka mu nnyumba ya Katonda.
6 Kale nno, Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannammwe Abafalusaki abali emitala w'omugga, mwesambe wala:
7 muleke omulimu ogw'omu nnyumba eno eya Katonda; owessaza ow'omu Bayudaaya n'abakadde b'Abayudaaya bazimbe ennyumba eno eya Katonda mu kifo kyayo.
8 Era nate nteeka etteeka kye muba mukola abakadde bano ab'Abayudaaya olw'okuzimba ennyumba ya Katonda eno: baggye ku bintu bya kabaka ku musolo ogw'emitala w'omugga bawe abasajja bano bye balifiirwa n'okunyiikira kwonna, baleme okuziyizibwa.
9 N'ebyo bye baneetaaganga, ente ento era n'endiga ennume n'abaana b'endiga okuba ebiweebwayo ebyokebwa eri Katonda w'eggulu, eŋŋaano, omunnyo, omwenge, n'amafuta, ng'ekigambo bwe kinaabanga ekya bakabona abali e Yerusaalemi, baweebwenga buli lunaku obutayosa:
10 bawengayo ssaddaaka ez'evvumbe eddungi eri Katonda w'eggulu, era basabire obulamu bwa kabaka n'obwa batabani be.
11 Era nteese etteeka buli anaawaanyisanga ekigambo kino, omuti guggibwenga mu nnyumba ye, era asitulibwenga asibibwenga okwo; n'ennyumba ye efuulibwenga olubungo olw'ekyo:
12 era Katonda eyabeesaayo erinnya lye asuule bakabaka bonna n'amawanga abanaagololanga emikono gyabwe okuwaanyisa ekyo, okuzikiriza ennyumba eno eya Katonda eri e Yerusaalemi. Nze Daliyo nteese etteeka; likolebwe n'okunyiikira kwonna.
13 Awo Tattenayi owessaza ery'emitala w'omugga, Sesalubozenayi, ne bannaabwe, kubanga Daliyo antumye, ne bakola bwe batyo n'okunyiikira kwonna.
14 Awo abakadde b'Abayudaaya ne bazimba ne balaba omukisa olw'okulagula kwa Kaggayi nnabbi ne Zekkaliya mutabani wa Iddo. Ne bazimba ne bagimala ng'ekiragiro bwe kyali ekya Katonda wa Isiraeri, era n'ekiragiro kya Kuulo ne Daliyo ne Alutagizerugizi kabaka w'e Buperusi.
15 Awo ennyumba eno n'emalirwa ku lunaku olw'okusatu olw'omwezi Adali, ogw'omu mwaka ogw'omukaaga ogw'okufuga kwa Daliyo kabaka.
16 Awo abaana ba Isiraeri, bakabona n'Abaleevi, n'abaana b'obusibe abalala, ne bakwata n'essanyu embaga ey'okutukuza ennyumba eno eya Katonda.
17 Ne baweerayo mu kutukuza ennyumba eno eya Katonda ente kikumi, endiga ennume ebikumi bibiri, abaana b'endiga ebikumi bina; n'okuba ekiweebwayo olw'ekibi ekya Isiraeri yenna, embuzi ennume kkumi na bbiri ng'omuwendo bwe gwali ogw'ebika bya Isiraeri.
18 Ne bateeka bakabona nga bwe baagerekwa; n'Abaleevi mu mpalo zaabwe, olw'okuweereza Katonda ali e Yerusaalemi; nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo kya Musa.
19 Awo abaana b'obusibe ne bakwatira Okuyitako ku lunaku olw'ekkumi n'ennya olw'omwezi ogw'olubereberye.
20 Kubanga bakabona n'Abaleevi baali beerongoosezza wamu; bonna baali balongoofu: ne battira Okuyitako abaana bonna ab'obusibe ne baganda baabwe bakaboa nabo bennyini.
21 Awo abaana ba Isiraeri abaali bakomyewo okuva mu busibe n'abo bonna abaali beeyawudde gye bali okuva mu bugwagwa bwa bannaggwanga ab'omu nsi okunoonya Mukama Katonda wa Isiraeri,
22 ne balya ne bakwatira embaga ey'emigaati egitazimbulukuswa n'essanyu ennaku kkumi na musanvu: kubanga Mukama yali abasanyusizza, era yali akyusizza omutima gwa kabaka w'e Bwasuli gye bali, okunyweza emikono gyabwe mu mulimu ogw'omu nnyumba ya Katonda, Katonda wa Isiraeri.