Ezera
Essuula 1
Awo mu mwaka ogw'olubereberye ogwa Kuulo kabaka w'e Buperusi, ekigambo kya Mukama mu kamwa ka Yeremiya kituukirire, Mukama n'akubiriza omwoyo gwa Kuulo kabaka w'e Buperusi n'okulangirira n'alangirira okubunya obwakabaka bwe bwonna, n'okuwandiika n'abiwandiika ng'ayogera nti
2 Bw'atyo bw'ayogera Kuulo kabaka w'e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw'omu nsi Mukama Katonda w'eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda.
3 Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda we abeere naye, ayambuke mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, (ye Katonda,) ali mu Yerusaalemi.
4 Era buli asigadde mu kifo kyonna mw'abeera nga mugenyi, abasajja ab'omu kifo kye bamubeere ne ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky'ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi.
5 Awo emitwe gy'ennyumba za bakitaabwe eza Yuda ne Benyamini ne bagolokoka, ne bakabona n'Abaleevi, bonna Katonda be yakubiriza omwoyo gwabwe okwambuka okuzimba ennyumba ya Mukama eri mu Yerusaalemi.
6 Awo abo bonna ababeetoolodde ne banyweza emikono gyabwe n'ebintu ebya ffeeza ne zaabu n'ebintu n'ebisolo n'ebintu eby'omuwendo omungi obutassaako ebyo byonna bye baawaayo ku bwabwe.
7 Era Kuulo kabaka n'afulumya ebintu eby'omu nnyumba ya Mukama Nebukadduneeza bye yaggya mu Yerusaalemi n'abiteeka mu ssabo lya bakatonda be:
8 ebyo Kuulo kabaka w'e Buperusi n'abifulumya mu mukono gwa Misuledasi omuwanika, n'abibalira Sesubazzali omukulu wa Yuda.
9 Era guno gwe muwendo gwabyo: essowaani eza zaabu amakumi asatu, essowaani eza ffeeza lukumi, obwambe amakumi abiri mu mwenda;
10 ebibya ebya zaabu amakumi asatu, ebibya ebya ffeeza eby'omutindo ogw'okubiri ebikumi bina mu kkumi, n'ebintu ebirala lukumi.
11 Ebintu byonna ebya zaabu n'ebya ffeeza byali enkumi ttaano mu ebikumi bina. Ebyo byonna Sesubazzali yabiggyayo n'abireeta, abanyage bwe baggibwa e Babulooni ne baleetebwa e Yerusaalemi.