2 Samwiri
Essuula 4
Awo Isubosesi mutabani wa Sawulo bwe yawulira Abuneeri ng'afiiridde e Kebbulooni, emikono gye ne giyongobera, Abaisiraeri bonna ne beeraliikirira.
2 Era Isubosesi mutabani wa Sawulo yalina abasajja babiri abaami b'ebibiina: omu erinnya lye Baana n'ow'okubiri erinnya lye Lekabu, batabani ba Limmoni Omubeerosi ow'oku baana ba Benyamini: (kubanga ne Beerosi kibalirwa Benyamini:
3 ab'e Beerosi ne baddukira e Gittayimu ne babeera eyo na guno gujwa.)
4 Era Yonasaani mutabani wa Sawulo yalina omwana eyalemala ebigere. Yali yaakamaze emyaka etaano ebigambo bwe byatuuka okuva mu Yezuleeri ebya Sawulo ne Yonasaani, omulezi we n'amusitula n'adduka: awo olwatuuka bwe yayanguwa okudduka n'agwa n'alemala. N'erinnya lye lyali Mefibosesi.
5 Awo batabani ba Limmoni Omubeerosi, Lekabu ne Baana, ne bagenda ne batuuka mu nnyumba ya Isubosesi omusana nga gukazizza, bwe yali ng'awummudde mu ttuntu:
6 Ne bajjayo wakati mu nnyumba ng'abaagala okukima eŋŋaano; ne bamufumita olubuto: Lekabu ne Baana muganda we ne bawona.
7 Awo bwe baatuuka mu nnyumba, ng'agalamidde ku kitanda kye mu nju ye, ne bamufumita ne bamutta, ne bamusalako omutwe, ne batwala omutwe gwe, ne batambula mu kkubo erya Alaba ne bakeesa obudde.
8 Ne bamuleetera Dawudi omutwe gwa Isubosesi e Kebbulooni, ne bagamba kabaka nti Laba omutwe gwa Isubosesi mutabani wa Sawulo omulabe wo eyanoonya obulamu bwo: era Mukama awalanye eggwanga lya mukama wange kabaka leero ku Sawulo ne ku zzadde lye.
9 Awo Dawudi n'addamu Lekabu ne Baana muganda we, batabani ba Limmoni Omubeerosi, n'abagamba nti Mukama nga bw'ali omulamu eyanunula emmeeme yange mu kulaba ennaku kwonna,
10 omuntu bwe yambuulira nti Laba, Sawulo afudde, ng'alowooza okuleeta ebigambo ebirungi, awo ne mmukwata ne mmuttira e Zikulagi, ye mpeera gye nnamuwa olw'ebigambo bye.
11 Kale, abantu ababi nga battidde omuntu omutuukirivu mu nnyumba ye ku kitanda kye, sirisinga nnyo kaakano kuvunaana musaayi gwe mu mukono gwammwe, ne mbaggya ku nsi?
12 Awo Dawudi n'alagira abalenzi be, ne babatta ne babasalako engalo n'ebigere ne babiwanika ku mabbali g'ekidiba e Kebbulooni. Naye ne batwala omutwe gwa Isubosesi ne baguziika mu ntaana ya Abuneeri e Kebbulooni.