2 Samwiri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 11

Awo olwatuuka omwaka bwe gwatuukirira mu kiseera bakabaka mwe batabaalira, Dawudi n'atuma Yowaabu n'abaddu be awamu naye ne Isiraeri yenna; ne bazikiriza abaana ba Amoni ne bazingiza Labba. Naye Dawudi n'asigala e Yerusaalemi.
2 Awo olwatuuka akawungeezi Dawudi n'agolokoka n'ava ku kitanda kye n'atambula waggulu ku nnyumba ya kabaka: era ng'ayima ku nnyumba n'alaba omukazi ng'anaaba; era omukazi yali mulungi nnyo okutunuulira.
3 Awo Dawudi n'atuma n'abuuza omukazi bw'ali. Ne wabaawo eyayogera nti Oyo si Basuseba muwala wa Eriyaamu, mukazi wa Uliya Omukiiti?
4 Awo Dawudi n'atuma ababaka n'amutwala; n'ayingira gy'ali n'asula naye; (kubanga yali alongoosebwa obutali bulongoofu bwe;) omukazi n'addayo mu nnyumba ye.
5 Omukazi n'aba olubuuto; n'atuma n'abuulira Dawudi n'ayogera nti Ndi lubuto.
6 Dawudi n'atumira Yowaabu nti Mpeereza Uliya Omukiiti. Yowaabu n'aweereza Uliya eri Dawudi.
7 Awo Uliya bwe yajja gy'ali, Dawudi n'amubuuza Yowaabu bwe yali n'abantu bwe baali n'olutalo bwe lwali.
8 Dawudi n'agamba Uliya nti Serengeta mu nnyumba yo onaabe ebigere. Uliya n'ava mu nnyumba ya kabaka, ne wamugoberera omuwumbo (gw'emmere) oguvudde eri kabaka.
9 Naye Uliya n'asula ku mulyango gw'ennyumba ya kabaka wamu n'abaddu bonna aba mukama we, n'ataserengeta mu nnyumba ye.
10 Awo bwe baamubuulira Dawudi nti Uliya teyaserengese mu nnyumba ye, Dawudi n'agamba Uliya nti Tovudde mu lugendo? kiki ekyakulobedde okuserengeta mu nnyumba yo?
11 Uliya n'agamba Dawudi nti Essanduuko ne Isiraeri ne Yuda basula mu nsiisira; ne mukama wange Yowaabu n'abaddu ba mukama wange basiisidde ku ttale mu bbanga; nze nno naagenda mu nnyumba yange okulya n'okunywa n'okusula ne mukazi wange? nga bw'oli omulamu n'emmeeme yo nga bw'eri ennamu sijja kukola kigambo ekyo.
12 Awo Dawudi n'agamba Uliya nti Mala wano n'olwa leero, enkya nkusindike. Awo Uliya n'amala olunaku olwo n'olw'enkya mu Yerusaalemi.
13 Awo Dawudi bwe yamuyita n'alya n'anywera mu maaso ge; n'amutamiiza: awo akawungeezi n'afuluma okusula ku kitanda kye wamu n'abaddu ba mukama we, naye n'ataserengeta mu nnyumba ye.
14 Awo olwatuuka enkya Dawudi n'awandiikira Yowaabu ebbaluwa, n'agiweerereza mu mukono gwa Uliya.
15 N'awandiika mu bbaluwa nti Muteeke Uliya mu maaso awali olutalo olw'amaanyi; mumwabulire, balyoke bamufumite afe:
16 Awo olwatuuka Yowaabu bwe yekkaanya ekibuga, n'awa Uliya ekifo we yamanya nga we wali abazira.
17 Abasajja ab'omu kibuga ne bafuluma ne balwana ne Yowaabu: awo ku bantu ne kufaako abamu, ku baddu ba Dawudi; Uliya Omukiiti naye n'afa.
18 Awo Yowaabu n'atuma n'abuulira Dawudi eby'olutalo byonna;
19 n'akuutira omubaka ng'ayogera nti Bw'oliba ng'omaze okubuulira kabaka eby'olutalo byonna,
20 awo alunaatuuka kabaka bw'anaasunguwala, n'akugamba nti Kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi: n'ekibuga okulwana? temwamanya nga baliyima ku bbugwe okulasa:
21 ani eyatta Abimereki mutabani wa Yerubbesesi? omukazi teyamukasukako enso ng'ayima ku bbugwe n'afiira e Sebezi? kiki ekyabasembeza bwe mutyo okumpi ne bbugwe? awo onooyogera nti N'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.
22 Awo omubaka n'agenda n'ajja n'ategeeza Dawudi byonna Yowaabu bye yamutuma.
23 Omubaka n'agamba Dawudi nti Abasajja baatuyiwako amaanyi ne batulumba ebweru mu bbanga, ne tufunvubira nabo okutuusa awayingirirwa mu mulyango.
24 Abalasi ne balasa abaddu bo nga bayima ku bbugwe; era ku baddu ba kabaka kufuddeko abamu, n'omuddu wo Uliya Omukiiti naye afudde.
25 Awo Dawudi n'agamba omubaka nti Bw'otyo bw'oba ogamba Yowaabu nti Ekigambo ekyo kireme okukunyiiza, kubanga ekitala kirya nga kyenkanya omuntu ne munne: weeyongere okunyweza olutalo lwo okulwana n'ekibuga okimenye: era omugumyanga omwoyo.
26 Awo muka Uliya bwe yawulira bba ng'afudde n'akungubagira bba we.
27 Awo bwe yamala okwabya olumbe, Dawudi n'atuma n'amuleeta ewuwe, n'aba mukazi we n'amuzaalira omwana ow'obulenzi. Naye ekigambo Dawudi kye yakola ne kinyiiza Mukama.