2 Samwiri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 24

Awo obusungu ne bumukwata nate Mukama eri Isiraeri, n'abaweerera Dawudi ng'ayogera nti Genda obale Isiraeri ne Yuda.
2 Awo kabaka n'agamba Yowaabu omukulu w'eggye eyali naye nti Genda nno oyiteeyite mu bika bya Isiraeri byonna, okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba, mubale abantu ntegeere omuwendo gw'abantu.
3 Yowaabu n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo ayongere nno ku bantu, bwe benkana obungi, emirundi kikumi, n'amaaso ga mukama wange kabaka gakirabe: naye mukama wange kabaka lwaki okusanyukira ekigambo ekyo?
4 Naye ekigambo kya kabaka ne kisinga Yowaabu n'abakulu b'eggye. Yowaabu n'abakulu b'eggye ne bava mu maaso ga kabaka okubala abantu ba Isiraeri.
5 Ne basomoka Yoludaani ne basiisira mu Aloweri, ku luuyi olwa ddyo olw'ekibuga ekiri mu kiwonvu kya Gaadi n'okutuuka e Yazeri:
6 ne balyoka batuuka e Gireyaadi ne mu nsi ey'e Tatimukodusi; ne batuuka e Dani-yaani ne beetooloola okutuuka e Sidoni,
7 ne batuuka ku kigo eky'e Ttuulo, ne mu bibuga byonna eby'Abakiivi n'eby'Abakanani: ne bamalira ku bukiika obwa ddyo obwa Yuda e Beeruseba.
8 Awo bwe baamala okuyitaayita mu nsi yonna, ne bajja e Yerusaalemi emyezi mwenda ko ennaku abiri nga giyiseewo.
9 Yowaabu n'awa kabaka omuwendo gw'abantu gwe babaze: era waaliwo mu Isiraeri abasajja abazira obusiriivu munaana abaasowolanga ebitala; n'abasajja ba Yuda baali abasajja obusiriivu butaano.
10 Awo omwoyo ne guluma Dawudi bwe yamala okubala abantu. Dawudi n'agamba Mukama nti Nnyonoonye nnyo olw'ekyo kye nkoze: naye kaakano, ai Mukama, nkwegayiridde, ggyawo obutali butuukirivu bw'omuddu wo; kubanga nkoze eby'obusirusiru bungi nnyo.
11 Awo Dawudi bwe yagolokoka enkya, ekigambo kya Mukama ne kijjira nnabbi Gaadi, omulabi wa Dawudi, ng'ayogera nti
12 Genda ogambe Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Nkuteekeddewo bino bisatu; weerobozeeko ekimu nkukikole.
13 Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi n'amubuulira n'amugamba nti Emyaka egy'enjala musanvu girikujjira mu nsi yo? Oba oliddukira emyezi esatu mu maaso g'abalabe bo, bo nga bakuyigganya? oba walibaawo ennaku ssatu eza kawumpuli mu nsi yo? teesa nno olowooze bwe mba mmuddamu oyo antumye.
14 Awo Dawudi n'agamba Gaadi nti Nsobeddwa nnyo: tugwe nno mu mukono gwa Mukama; kubanga okusaasira kwe kungi: ne ssigwa mu mukono gwa bantu.
15 Awo Mukama n'aleeta kawumpuli ku Isiraeri okuva enkya okutuuka mu biro ebyateekebwawo: awo ku bantu ne kufaako abasajja obukumi musanvu okuva e Ddaani okutuuka e Beeruseba.
16 Awo malayika bwe yagolola omukono gwe eri Yerusaalemi okukizikiriza, Mukama ne yejjusa ekibi, n'agamba malayika eyazikiriza abantu nti Kinaamala; zzaayo kaakano omukono gwo. Era malayika wa Mukama yali ku gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
17 Awo Dawudi n'agamba Mukama bwe yalaba malayika eyalwaza abantu n'ayogera nti Laba, nze nnyonoonye, era nze nkoze eby'obubambaavu: naye endiga zino, bakoze ki bo? nkwegayiridde, omukono gwo gulwane nange n'ennyumba ya kitange.
18 Awo Gaadi n'ajja eri Dawudi ku lunaku olwo n'amugamba nti Yambuka ozimbire Mukama ekyoto mu gguuliro lya Alawuna Omuyebusi.
19 Awo Dawudi n'ayambuka nga Gaadi bwe yayogera nga Mukama bwe yalagira.
20 Awo Alawuna n'atunula n'alaba kabaka n'abaddu be nga bajja nga bamusemberera: Alawuna n'afuluma n'avuunama amaaso ge mu maaso ga kabaka.
21 Awo Alawuna n'ayogera nti Mukama wange kabaka ajjiridde ki eri omuddu we? Dawudi n'ayogera nti Okugulaana naawe egguuliro; okuzimbira Mukama ekyoto, kawumpuli aziyizibwe mu bantu.
22 Alawuna n'agamba Dawudi nti Mukama wange kabaka atwale aweeyo by'anaasiima byonna: laba, ente ez'ekiweebwayo ekyokebwa, n'ebintu ebiwuula n'amatandiiko g'ente okuba enku:
23 bino byonna, ai kabaka, Alawuna abiwa kabaka. Alawuna n'agamba kabaka nti Mukama Katonda wo akukkirize.
24 Kabaka n'agamba Alawuna nti Nedda; naye n'aligulaana naawe n'ebintu; so siiweeyo ebiweebwayo ebyokebwa eri Mukama Katonda wange ebitanzitidde byange. Awo Dawudi n'agula egguuliro n'ente ne sekeri eza ffeeza ataano.
25 Awo Dawudi n'azimbira eyo ekyoto eri Mukama, n'awaayo ebiweebwayo ebyokebwa n'ebiweebwayo olw'emirembe. Awo Mukama ne yeegayiririrwa ensi, kawumpuli n'aziyizibwa mu Isiraeri.