2 Samwiri

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14 15 16 17 18 19 20 21 22 23 24

0:00
0:00

Essuula 13

Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Abusaalomu mutabani wa Dawudi yalina mwannyina omulungi, erinnya lye Tamali; Amunoni mutabani wa Dawudi n'amwagala.
2 Awo Amunoni ne yeeraliikirira bw'atyo n'okulwala n'alwala olwa mwannyina Tamali; kubanga yali tannamanya musajja; Amunoni n'akirowooza nga kizubu okumukola ekigambo kyonna.
3 Naye Amunoni yalina mukwano gwe, erinnya lye Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa Dawudi: era Yonadabu yali musajja mugerengetanya nnyo.
4 N'amugamba nti Ekikukozza bw'otyo bulijjo bulijjo kiki, ggwe omwana wa kabaka? tombuulire? Amunoni n'amugamba nti Njagala Tamali mwannyina muganda wange Abusaalomu.
5 Awo Yonadabu n'amugamba nti Galamira ku kitanda kyo weerwazerwaze: kale kitaawo bw'aliba ng'azze okukulaba, n'omugmaba nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, ampe emmere okulya, era afumbe emmere mu maaso gange ngirabe ngiriire mu ngalo ze.
6 Awo Amunoni n'agalamira ne yeerwazalwaza: awo kabaka bwe yajja okumulaba, Amunoni n'agamba kabaka nti Mwannyinaze Tamali ajje, nkwegayiridde, anfumbire emigaati ebiri mu maaso gange ndiire mu ngalo ze.
7 Awo Dawudi n'atuma eka eri Tamali ng'ayogera nti Genda nno eri ennyumba ya muganda we Amunoni omufumbire emmere.
8 Awo Tamali n'agenda eri ennyumba ya muganda we Amunoni; ye ng'agalamidde. N'addira obutta n'abugoya n'abumba emigaati mu maaso ge n'ayokya emigaati.
9 N'addira ekikalango n'agifuka mu maaso ge; naye n'agaana okulya. Amunoni n'agamba nti Abasajja bonna bave we ndi. Ne bava w'ali buli musajja.
10 Amunoni n'agamba Tamali nti Leeta emmere mu kisenge ndiire mu ngalo zo. Tamali n'addira emigaati gy'afumbye n'agireeta mu kisenge eri Amunoni mwannyina.
11 Awo bwe yagimusembereza okulya n'amukwata n'amugamba nti Jjangu osule nange, mwannyinaze.
12 N'amuddamu nti Nedda, mwannyinaze, tonkwata; kubanga tekigwanidde kukola kigambo ekifaanana bwe kityo mu Isiraeri: tokola busirusiru buno.
13 Nange nno naatwala wa obuwemu bwange? naawe oliba ng'omu ku basirusiru mu Isiraeri. Kale nno, nkwegayiridde, yogera ne kabaka; kubanga tajja kukunnyima.
14 Naye n'atakkiriza kuwulira ddoboozi lye: naye kubanga yamusinga amaanyi n'amukwata n'asula naye.
15 Awo Amunoni n'alyoka amukyawa ekitakyayika; kubanga okukyawa kwe yamukyawa kwasinga okwagala kwe yamwagala. Amunoni n'amugamba nti Golokoka ogende.
16 N'ayogera nti Nedda, kubanga ekyonoono kino ekinene ky'onkola ng'ongoba kisinga kiri ky'onkoze. Naye n'ataganya kumuwulira.
17 Awo n'alyoka ayita omuddu we eyamuweerezanga n'ayogera nti Fulumya nno omukazi ono ave we ndi, osibe oluggi ennyuma we.
18 Era yali ayambadde ekyambalo eky'amabala amangi: kubanga bwe baayambalanga bwe batyo abawala ba kabaka abatamanyi musajja. Awo omuddu we n'amufulumya n'asiba oluggi ennyuma we.
19 Awo Tamali n'ateeka evvu ku mutwe gwe n'ayuza ekyambalo kye eky'amabala amangi kye yali ayambadde; ne yeetikka omukono gwe n'agenda ng'akaaba.
20 Abusaalomu mwannyina n'amugamba nti Amunoni mwannyoko abadde naawe? naye kaakano sirika, mwannyinaze: ye mwannyoko; ekigambo ekyo kireme okukunakuwaza omwoyo. Awo Tamali n'abeera mu nnyumba ya mwannyina Abusaalomu nga talina bba.
21 Awo kabaka Dawudi bwe yawulira ebyo byonna, n'asunguwala nnyo.
22 Abusaalomu n'atayogera ne Amunoni newakubadde ebirungi newakubadde ebibi: kubanga Abusaalomu n'akyawa Amunoni, kubanga yali akutte Tamali mwannyina.
23 Awo olwatuuka emyaka ebiri emirambirira bwe gyayitawo, Abusaalomu yalina abasala ebyoya by'endiga ze e Baalukazoli, ekiri ku mabbali ga Efulayimu: Abusaalomu n'ayita abaana ba kabaka bonna.
24 Abusaalomu n'ajja eri kabaka n’ayogera nti Laba nno, omuddu wo alina abasala ebyoya by'endiga; nkwegayiridde, kabaka n'abbaddu be bagende n'omuddu wo.
25 Kabaka n'agamba Abusaalomu nti Nedda, mwana wange, tuleme okugenda fenna, tuleme okukuzitoowerera. N'amutayirira: naye n'atakkiriza kugenda, naye n'amusabira mukisa.
26 Awo Abusaalomu n'ayogera nti ogaanyi, nkwegayiridde muganda wange Amunoni agende naffe. Kabaka n'amugamba nti Ekinaaba kimutwala nawe kiki?
27 Naye Abusaalomu n'amutayirira akkirize Amunoni n'abaana ba kabaka bonna okugenda naye.
28 Awo Abusaalomu n'alagira abaddu be ng'ayogera nti Mwekkaanye nno, omutima gwa Amunoni nga gusanyuse olw'omwenge; awo bwe nnaabagamba nti Mufumite Amunoni, mumutte, temutya: si nze mbalagidde? mugume emyoyo mube abazira.
29 Abaddu ba Abusaalomu ne bakola Amunoni nga Abusaalomu bw'alagidde. Awo abaana ba kabaka bonna ne balyoka bagolokoka, ne beebagala buli muntu ennyumbu ye ne badduka.
30 Awo olwatuuka bwe baali nga bakyali mu kkubo, Dawudi n'aleeterwa ebigambo nga boogera nti Abusaalomu asse abaana ba kabaka bonna, tekusigadde n'omu.
31 Awo kabaka n'agolokoka n'ayuza ebyambalo bye n'agalamira ku ttaka; abaddu be bonna ne bayimirira gy'ali nga bayuzizza engoye zaabwe.
32 Yonadabu, mutabani wa Simeya muganda wa kabaka, n'addamu n'ayogera nti Mukama wange aleme okulowooza nga basse abalenzi bonna abaana ba kabaka; kubanga Amunoni yekka ye afudde: kubanga Abusaalomu yateesa bw'atyo ng'akimalirira okuva ku lunaku lwe yakwata Tamali mwannyina.
33 Kale nno mukama wange kabaka ekigambo ekyo kireme okumunakuwaza omwoyo okulowooza ng'abaana ba kabaka bonna bafudde: kubanga Amunoni yekka ye afudde.
34 Naye Abusaalomu n'adduka. Awo omulenzi eyakuumanga n'ayimusa amaaso ge n'atunula, awo, laba, abantu bangi nga bajja nga bafuluma mu kkubo ery'oku lusozi ennyuma we.
35 Awo Yonadabu n'agamba kabaka nti Laba, abaana ba kabaka batuuse: ng'omuddu wo bw'ayogedde, bwe guli bwe gutyo.
36 Awo olwatuuka bwe yamala okwogera, awo, laba, abaana ba kabaka ne bajja ne bayimusa eddoboozi lyabwe ne bakaaba: era ne kabaka n'abaddu be bonna ne bakaaba nnyo nnyini.
37 Naye Abusaalomu n'adduka, n'agenda eri Talumayi mutabani wa Ammikuli, kabaka w'e Gesuli. Dawudi n'anaakuwaliranga mutabani we buli lunaku.
38 Awo Abusaalomu n'adduka n'agenda e Gesuli, n'amalayo emyaka esatu.
39 Dawudi ne yeegomba okuvaayo okugenda eri Abusaalomu: kubanga yakubagizibwa olwa Amunoni, okuba ng'afudde.