Zekkaliya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14

0:00
0:00

Essuula 8

Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
2 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi: nkikwatirwa ebuggya n'ekiruyi ekingi.
3 Bw'ati bw'ayogera Mukama nti Nkiddiddemu Sayuuni, naabeeranga wakati mu Yerusaalemi: era Yerusaalemi kinaayitibwanga nti Kibuga kya mazima; era nti Lusozi lwa Mukama w'eggye, Olusozi olutukuvu.
4 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Abakadde, abasajja n'abakazi, balituula ate mu nguudo za Yerusaalemi, buli muntu ng'akutte omuggo mu mukono gwe kubanga akaddiye nnyo.
5 N'enguudo ez'ekibuga zirijjula abalenzi n'abawala nga bazannyira mu nguudo zaakyo.
6 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Era bwe kiriba ekitalo mu maaso g'ekitundu ky'abantu abo ekirisigalawo mu nnaku ziri, kyandibadde kya kitalo ne mu maaso gange? bw'ayogera Mukama w'eggye.
7 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Laba, ndirokola abantu bange okuva mu nsi ey'ebuvanjuba n'okuva mu nsi ey'ebugwanjuba:
8 ndibaggyayo, nabo banaabeeranga wakati mu Yerusaalemi; nabo banaabanga bantu bange, nange naabeeranga Katonda waabwe mu mazima ne mu butuukirivu.
9 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Emikono gyammwe gibe n'amaanyi, mmwe abawulira mu nnaku zino ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku lwe baalasa ennyumba ya Mukama w'eggye, ye yeekaalu, ezimbibwe.
10 Kubanga ennaku ziri nga tezinnatuuka, nga tewaliiwo mpeera ey'ensolo; so nga tewali mirembe eri oyo eyafuluma n'oyo eyaddayo olw'omulabe; kubanga nnakyayaganya abantu bonna buli muntu ne munne.
11 Naye kaakano nze sirikola bwe ntyo ekitundu ky'abantu abo ekyasigalawo, nga mu nnaku ez'edda, bw'ayogera Mukama w'eggye.
12 Kubanga wanaabanga ensigo ez'emirembe; omuzabbibu gunaawanga emmere yaagwo; ettaka linaawanga ekyengera kyalyo; n'eggulu linaawanga omusulo gwalyo; nange ndisisa ekitundu eky'abantu bano ekirisigalawo ebintu ebyo byonna.
13 Awo olulituuka nga bwe mwali ekikolimo wakati w'amawanga, ggwe ennyumba ya Yuda naawe ennyumba ya Isiraeri, bwe kityo ndibalokola, nammwe mulibeera mukisa; temutya; naye emikono gyammwe gibe n'amaanyi.
14 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye, nti Nga bwe nnalowooza okubakola obubi, bajjajjammwe bwe baansunguwaza, bw'ayogera Mukama w'eggye, so sejjusa;
15 Bwe ntyo ate ndowoozezza mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n'ennyumba ya Yuda; temutya.
16 Ebigambo bye munaakolanga bye bino; mubuuliraganenga eby'amazima buli muntu ne munne; musalenga emisango egy'ensonga n'emisango egy'emirembe mu miryango gyammwe:
17 so omuntu aleme okulowooza obubi ku munne mu mitima gyammwe; so temwagalanga kirayiro kyonna eky'obulimba; kubanga ebyo byonna bye nkyawa, bw'ayogera Mukama.
18 Awo ekigambo kya Mukama w'eggye ne kijja gye ndi nga kyogera nti
19 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Okusiiba okw'omu mwezi ogw'okuna n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'okutaano n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'omusanvu n'okusiiba okw'omu mwezi ogw'ekkumi kunaabanga eri ennyumba ya Yuda okusanyuka n'okujaguza n'embaga ennungi; kale mwagalenga amazima n'emirembe.
20 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oliboolyawo amawanga ne gajja n'abo ababeera mu bibuga ebingi;
21 era ababeera mu kibuga ekimu baligenda mu kirala nga boogera nti Tugende mangu okwegayirira ekisa kya Mukama n'okunoonya Mukama w'eggye; era nange ndigenda.
22 Weewaawo, abantu bangi n'amawanga ag'amaanyi balijja okunoonya Mukama w'eggye mu Yerusaalemi n'okwegayirira ekisa kya Mukama.
23 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Mu nnaku ziri abantu kkumi balikwata, okuva mu nnimi zonna ez'amawanga balikwata ku lukugiro olw'omuntu Omuyudaaya nga boogera nti Tuligenda nammwe; kubanga tuwulidde nti Katonda ali nammwe.