Zekkaliya

1 2 3 4 5 6 7 8 9 10 11 12 13 14

0:00
0:00

Essuula 3

N'anjolesa Yosuwa, kabona asinga obukulu, ng'ayimiridde mu maaso ga malayika wa Mukama, ne Setaani ng'ayimiridde ku mukono gwe ogwa ddyo abe omulabe we.
2 Mukama n'agamba Setaani nti Mukama akunenye, ggwe Setaani; weewaawo, Mukama eyeerobozezza Yerusaalemi akunenye: oyo si kisiriiza ekikwakkulibwa mu muliro?
3 Era Yosuwa yali ayambadde engoye ez'ekko n'ayimirira mu maaso ga malayika.
4 N'addamu n'agamba abo abaali bayimiridde mu maaso ge, n'ayogera nti Mumwambuleko engoye ez'ekko. N'agamba Yosuwa nti Laba, nkuyisizzaako obubi bwo; nange naakwambaza ebyambalo ebitenkanika.
5 Ne njogera nti Bamutikkire ku mutwe gwe ekiremba ekitukula. Awo ne bamutikkira ku mutwe gwe ekiremba ekitukula ne bamwambaza engoye malayika wa Mukama n'ayimirira awo.
6 Malayika wa Mukama n'alabula nnyo Yosuwa, ng'ayogera nti
7 Bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Bw'onootambuliranga mu makubo gange, era bye nkuutira bw'onoobinywezanga, kale naawe ennyumba yange onoogisaliranga omusango, n'empya zange onoozikuumanga, era ndikuwa ekifo eky'okusembereramu mu banno abayimiridde.
8 Kale, wulira, Yosuwa kabona asinga obukulu, ggwe ne banno abatuula mu maaso go kubanga be bantu ab'akabonero bano; kubanga, laba, ndireeta omuddu wange Ettabi.
9 Kubanga laba, ejjinja lye nteese mu maaso ga Yosuwa; ku jjinja limu kuliko amaaso musanvu; laba, ndyolako enjola zaalyo, bw'ayogera Mukama w'eggye; ndiggyamu obubi mu nsi eyo ku lunaku lumu.
10 Ku lunaku luli, bw'ayogera Mukama w'eggye munaayitanga buli muntu munne okujja wansi w'omuzabbibu ne wansi w'omutiini.