Zekkaliya
Essuula 2
Ne nnyimusa amaaso gange ne ntunuulira; era, laba, omuntu ng'alina omugwa ogugera mu ngalo ze.
2 Ne njogera nti Ogenda wa ggwe? N'aŋŋamba nti Okugera Yerusaalemi, ndabe obugazi bwakyo bwe buli n'obuwanvu bwakyo bwe buli.
3 Era, laba, malayika eyali ayogera nange n'avaayo ne malayika omulala n'avaayo okumusisinkana
4 n'amugamba nti Ddukanako; mugambe omuvubuka oyo nti Yerusaalemi kiribaamu abantu balifikka mu bbugwe kubanga abantu bangi n'eby'omu bisibo bingi wakati mu kyo.
5 Kubanga nze ndiba ku kyo bbugwe ow'omuliro enjuyi zonna era ndiba kitiibwa wakati mu kyo, bw'ayogera Mukama.
6 Mukale, mukale, mudduke muve mu nsi ey'obukiika obwa kkono, bw'ayogera Mukama; kubanga ng'empewo ennya ez'eggulu bwe ziri, bwe mbasaasaanyizza, bw'ayogera Mukama.
7 Kale, Sayuuni, dduka owone, ggwe atuula n'omuwala wa Babulooni.
8 Kubanga bw'ati bw'ayogera Mukama w'eggye nti Oluvannyuma lw'ekitiibwa antumye eri amawanga agaabanyaga; kubanga abakomako mmwe akoma ku mmunyi y'eriiso lye.
9 Kubanga, laba, ndibakunkumulirako omukono gwange ne baba mwandu gw'abaddu baabwe; nammwe munaamanya nga Mukama w'eggye ye yantuma.
10 Yimba, sanyuka, ggwe omuwala wa Sayuuni: kubanga, laba, njija nange naabeeranga wakati mu ggwe, bw'ayogera Mukama.
11 Ku lunaku olwo amawanga mangi agalyegatta ne Mukama ne gafuuka bantu bange: nange naabeeranga wakati mu ggwe, naawe onootegeeranga nga Mukama w'eggye yantuma gy'oli.
12 Era Mukama alisikira Yuda, okuba omugabo gwe mu nsi entukuvu, era alyeroboza nate Yerusaalemi.
13 Musirike, abalina omubiri mwenna mu maaso ga Mukama; kubanga azuukuse mu kifo kye ekitukuvu mw'abeera.